TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Omubaka wa Lugazi naye bamugobye mu Palamenti lwa biwandiiko

Omubaka wa Lugazi naye bamugobye mu Palamenti lwa biwandiiko

By Musasi wa Bukedde

Added 13th June 2016

OMUBAKA wa Palamenti omulala bamugobye mu Palamenti lwa biwandiiko bya buyigirize ebitakwatagana.

Deal1 703x422

Ssozi gwe baggye mu Palamenti. Mu katono ye Nabatanzi eyamuloopye.

OMUBAKA wa Palamenti omulala bamugobye mu Palamenti lwa biwandiiko bya buyigirize ebitakwatagana.

Isaac Mulindwa Ssozi owa Lugazi Municipality yeegasse ku Peter Sematimba eyasoose okugobwa mu Palamenti empya olw’ensonga z’obuyigirize.

Eggulo, Omulamuzi wa Kkooti Enkulu e Jinja yasazizzaamu okulondebwa kwa Ssozi oluvannyuma lw’okwetegereza empapula z’obuyigirize ze yawaayo nga yeewandiisa n’akizuula nti ziriko amannya ga njawulo.

Empapula ezimu ziriko Hassan Mulindwa Ssozi ate endala ziriko Isaac Mulindwa Ssozi.

Mu kwewandiisa mu kamyufu ka NRM yawaayo ziriko Hassan ate mu kakiiko k’eby’okulonda n’awaayo ziriko Isaac.

Omusango guno gwatwalibwayo Elizabeth Nabatanzi Katwe era y’abadde agwewoleza nga bwe yakikola ng’attunka ne Rebecca Nalwanga eyali akiikirira Luweero era naye yamumegga mu ngeri yeemu.

Nabatanzi yannyonnyola kkooti nti Ssozi yakozesa ebiwandiiko bya muntu mulala amanyiddwa nga Hassan Mulindwa era okukyusakyusa amannya akikozesa mu bugenderevu okubuzaabuza.

Kino Ssozi yakiwakanya nnyo wabula ensala y’omulamuzi Margaret Mutonyi yalaze nti ebiwandiiko bye yawaayo ng’asunsulwa byali tebimusobozesa kwesimbawo ku bubaka bwa Palamenti era n’akakiiko k’eby’okulonda kaakola nsobi okumussa ku lukalala lw’abaavuganya.

Nabatanzi yayisizza ebivvulu mu Lugazi era n’agamba nti ayagala aba NRM bamuwe buwi kaadi ya kibiina mu kujjuza ekifo kino kubanga y’alwanye olutalo olwaggyeeyo Ssozi.

Ssozi yavuganya ne Baker Ssali eyali akiikirira ekitundu ekyo era bwe yamuwangula mu kamyufu, yamuddamu ne mu ka bonna.

Wadde Ssozi yagambye nti yakuba ebirayiro ebikyusa amannya okuva ku Hassan okudda ku Isaac, kyokka Nabatanzi yalemeddeko nti amanyi ne Hassan Mulindwa abeera e Namungoona, ng’ono y’eyawa Ssozi ebiwandiiko by’akozesa.

Ssozi yagambye nti agenda kujulira. Sematimba eyasoose okugobwa mu kifo kya Busiro South naye yagambye agenda kujulira.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Namatambaga1 220x290

Muwala wa Katikkiro Mayiga agattiddwa...

Muwala wa Katikkiro Mayiga agattiddwa ne kabiite we mu kitiibwa

Kiru10 220x290

Abavubuka mwagale nnyo ensi yammwe...

Abavubuka mwagale nnyo ensi yammwe nga Kirumira bwe yakola - Bobi Wine

Twa 220x290

Museveni agguddewo olutalo oluggya...

PULEZIDENTI Museveni atongozza kaweefube ow’enjawulo agenderera okumalirawo ddala Siriimu omwaka 2030 we gunaatuukira....

Many 220x290

Eyazadde abaana 5 omulundi gumu...

Honoranta Nakato, 44, abaana yabazaalira mu ddwaliro lya Women’s Hospital ,International and Fertility Centre e...

Dpn6kdew0aa2dy 220x290

Putin asuubizza okuyamba Uganda...

PULEZIDENTI wa Russia, Vladimir Putin, akubagizza Uganda olw’okufiirwa abantu abasoba mu 46 abaabuutikiddwa ettaka...