TOP
  • Home
  • Ageggwanga
  • Omukazi awolerezza bba eyamuttidde muwala we: 'Baze temumuyita mutemu yabadde akangavvula mwana ng’omuzadde'

Omukazi awolerezza bba eyamuttidde muwala we: 'Baze temumuyita mutemu yabadde akangavvula mwana ng’omuzadde'

By Musasi wa Bukedde

Added 14th June 2016

OMUZADDE amaaso gaamumyukidde ku poliisi gye yeetutte okweroopa olw’okubonereza omwana we obubi bwe bamuleetedde amawulire nti afudde.

Yabadde 703x422

Ba Kiggundu nga baakagattibwa. Ku ddyo ye Nicole eyafudde.

BYA JOHN BOSCO SSERUWU

..................................................................................

OMUZADDE amaaso gaamumyukidde ku poliisi gye yeetutte okweroopa olw’okubonereza omwana we obubi bwe bamuleetedde amawulire nti afudde.

Wabula mukyala we akaliza abantu ebigambo ku matama ababadde baagala okugajambula omusajja bw’amuwolerezza nga bw’atagenderedde kutta muwala waabwe kubanga abadde amwagala nnyo era okumukuba yabadde amubonereza ng’omuzadde.

“Omwana nze muzaala, naye omwami wange temumuyita mutemu kuba omwana yabadde amukangavvula ng’omuzadde kyokka omuggo ne gumukuba awabi. Abaana abaagala era tayinza kubatta njagala mu musonyiwe ate nange musonyiye”, Happy Kanyesigye, maama w’omugenzi Nicole Kiggundu bwe yawanjagidde abatuuze.

Nicholas Kiggundu 48, omutuuze mu Juma Cell, mu Lukaya Town Council e Kalungu ye yabadde abonereza muwala we Nicole Fulah ow’emyaka 12, n’amukuba ekiti ku mutwe ekyavuddeko okugwa wansi era olwamutuusizza mu ddwaaliro ekkulu e Masaka n’afa.

Kiggundu amagezi gaamwesibye nga nnyina w’omwana n’abatuuze batwala omwana mu ddwaaliro era yadduse n’agenda ku poliisi gye yabategeereza ebyabaddewo era yabadde akyabannyonnyola n’afuna essimu nti omwana afudde.

John Mukasa, ssentebe wa LCI, Agip Cell awaabadde ensasagge eno, yagambye nti Kiggundu yagenze ku wooteeri ya mukyala we Kanyesigye n’amuloopera muwala we nga bw’amutenguwa nga tayagala kukola mulimu gwonna naye kwe kukwata omuggo amubonereze wabula ebyembi omugo gwamukwasizza ku mutwe ne gumuyisa bubi.

Maama w’omwana ono eyasangiddwa ku ddwaaliro e Masaka nga muwala we amaze okufa ng’ali mu maziga yagambye nti Nicole y’abadde omwana waabwe omukulu nga bamwagala nnyo era babadde mu nteekateeka za kumuzzaayo ku ssomero lya Waggwa Memorial Primary School e Lukaya, gy’abadde asoma mu P7.

Kanyesigye yagambye nti abadde atera okugenda ne muwala we ku wooteeri, ng’amuyambako ku mirimu era okumuloopa ewa kitaawe yabadde ayagala amubonereze ayige okukola emirimu.

Alipoota y’omusawo e Masaka yalaze nti omwana ono omuggo ogwamukubiddwa mu mutwe gwaleese omusaayi okwegatta mu bwongo ne mu nkizi ng’era baagenze okumutuusa mu ddwaaliro ng’amaze okufa.

Oluvannyuma omulambo gwaggyiddwa mu ggwanika e Masaka ne gutwalibwa okuziikibwa e Kinoni mu Lwengo.

Aduumira poliisi mu disitulikiti y’e Kalungu, Latif Zaake yategeezezza nti Kiggundu yagguddwaako omusango gw’okutta omwana we ku fayiro nnamba CRB 242/2016, nga balindiridde kumutwala mu kkooti.

Abafumbo bano baabadde baakamala okwanjula n’embaga mu December wa 2015 nga n’omwana ono yali omu ku mperekeze.

Omutabaganya wa poliisi n’omuntu waabulijjo e Kalungu, John Francis Asiimwe yasabye abazadde okwewala okubonereza abaana nga balina obusungu obungi kubanga kye kivaako okubakuba awabi n’okubatta.

N’agamba nti okubonereza omwana si kikyamu naye olina okulaba nga tokuba bifo bya mutawaana kubanga kati omuzadde yeesudde mu buzibu obw’okufiirwa omwana n’okusibibwa mu kkomera olw’obutemu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Wab1 220x290

Obukodyo bw’okozesa okulwanyisa...

Obukodyo bw’okozesa okulwanyisa obuggya mu baana

Mal1 220x290

Malokweza ayogedde ebimuwangaazizza...

Malokweza ayogedde ebimuwangaazizza emyaka 90

Kad1 220x290

Maama wa Patrick Kaddu musanyufu...

Maama wa Patrick Kaddu musanyufu olw'omwana we okuteeba ggoolo eyatutte Cranes mu AFCON

Ken1 220x290

Ssentebe w'ekinnawattaka agobeddwa...

Ssentebe w'ekinnawattaka agobeddwa ku bukulembeze mu bunnambiro!

Seb2 220x290

Ababaka bakomezzaawo eby'enfa ya...

Ababaka bakomezzaawo eby'enfa ya Nebanda