TOP

UPDF etebuse abajaasi abaagala okuwamba Gavumenti

By Ronald Mubiru

Added 14th June 2016

EGGYE lya UPDF nga likolaganira wamu ne poliisi bagudde mu lukwe lwa bannamagye ababadde bagezaako okwenyigira mu buyeekera n’okuwamba gavumenti.

Temu0 703x422

Emmotoka abaalumbye e Gulu mwe bajjidde n’ebasuuzibwa.

EGGYE lya UPDF nga likolaganira wamu ne poliisi bagudde mu lukwe lwa bannamagye ababadde bagezaako okwenyigira mu buyeekera n’okuwamba gavumenti.

Mu kunafuya olukwe luno mwe bakwatidde n’akulira etterekero ly’ebyokulwanyisa mu ankambi y’amagye e Bombo Cpt. Dan Ojala nga kigambibwa nti abadde agezaako okukozesa ekifo ekyo okugabira abasekeeterezi emmundu n’eby’okulwanyisa ebirala.

BAASOOSE KUKWATA AKULIRA EKISAAWE KY’AMAGYE E NTEBE

Capt. Ojala kati agattiddwa Col. Dan Opita, akulira ekisaawe ky’ennyonyi z’amagye e Ntebe n’abajaasi abalala abasukka mu 30.

Omubaka wa Nakawa Michael Kabaziguruka agambibwa okuba nga naye alina ky’amanyi ku lukwe lw’abajaasi bano kyokka yabyesammudde ng’agamba bamuyingizaamu lwa ndowooza ye ey’ebyobufuzi.

Kabaziguruka eggulo yazziddwa ku kitebe kya bambega ba poliisi abanoonyereza ku misango eminene ekya SIU e Kireka gye yamaze eddakiika nga 20 zokka n’azzibwa mu makaage e Luzira era wano Dr. Kizza Besigye we yabeeranga nga tannagenda Kasangati.

mmundu ze baasuuzizza abaalumbye Emmundu ze baasuuzizza abaalumbye.

 

Gen. Kale Kayihura mu lukung’aana lwa Bannamawulire lwe yatuuzizza ku kitebe kya Poliisi e Naggulu, yayonyodde ku by’okukwatibwa kw’abantu bano n’agamba nti bano beefuula abawandiika abantu okubafunira emirimu e Somalia nga basinziira e Kyengera nga baali basinze kuwandiika abaazirwanako wabula amagye ne gakitegeerako era kwe baasinzidde okulumba ekifo ky’e Kyengera we baakwatidde abamu ku bajaasi ababadde mu mupango.

“Twafuna amawulire nga bwe waliwo abaali bagala okulumba poliisi n’enkambi y’amagye mu Kampala wiiki ewedde ne tusitukiramu okukwata abo abanokoddwaayo.”Kayihura bwe yagambye.

Yagambye nti Col. Dan Opita ne Capt. Ojala wamu ne bannaabwe bakuumirwa mu mikono gy’abakuumaddembe nga bwe babuuzibwa akana n’akataano.

Omwogezi w’amagye yagambye nti omujaasi yenna gwe banaanokolayo ng’alina akwatwe ku bazze bakwatibwa naye waakukwatibwa ayambe mu kunoonyereza.

Col Opita yakwatibwa amaggye ku wiikendi okusobola okuyamba mu kunoonyereza ku bigambibwa nti y’omu ku babadde baluka okulumba enkambi z’amagye bawambe eby’okulwanyisa n’okuzinda ebitebe bya poliisi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

3f74e568a3684a1eac5d6d555644365318 220x290

Magufuli alagidde abaddukanya ekidyeri...

OMUWENDO gw’abantu abaafiiridde mu kidyeri mu nnyanja Nnalubaale gwongedde okulinnya! Pulezidenti wa Tanzania John...

Sevo 220x290

Ab'e Rubirizi basabye Museveni...

ABAKULEMBEZE b’omu disitulikiti y’e Rubiriizi basabye Pulezidenti Museveni okukoma ku bajaasi ba UPDF okukendeeza...

Budgetkasaijaweb 220x290

Bawera kusimbira kkuuli enteekateeka...

ABABAKA ku kakiiko ka palamenti akavunaanyizibwa ku byobulimi bawera kusimbira kkuuli enteekateeka z’okuyisa embalirira...

Kola 220x290

Mukolerere obukadde bwammwe - Minisita...

MINISITA omubeezi ow’ebyenguudo Gen. Edward Katumba Wamala akubirizza abantu okukolerera obukadde bwabwe nga bakyalina...

42312484102150760182472974931861717081653248n 220x290

Bobi Wine eby’okutulugunya abantu...

BOBI Wine ne banne eby’okubatulugunya babitutte mu kibiina ky’amawanga amagatte (UN ), era boongedde okukungaanya...