TOP
  • Home
  • Ageggwanga
  • Engeri abazigu gye baalumbye Poliisi y'e Gulu ne batta omujaasi n'okulumya abapoliisi 4

Engeri abazigu gye baalumbye Poliisi y'e Gulu ne batta omujaasi n'okulumya abapoliisi 4

By Eria Luyimbazi

Added 14th June 2016

Omuduumizi wa Poliisi, Gen Kayihura yagambye nti ku ssaawa 2:30 ez’ekiro ku Ssande wabaddewo abazigu abaalumbye ekitebe kya poliisi y’e Gulu n’ekigendererwa eky’okutolosa omusibe Dan Oola Odiya balemese enteekateeka z’okumutwala mu kkooti ku Mmande ku musango gw’okutta omuntu n’obutujju.

Pala 703x422

Gen. Kale Kayihura ng’ayogera eri abaamawulire ku kitebe kya Poliisi e Naggulu eggulo ku Mmande. Amudiridde ye Haruna Isabirye akulira ebikwekweto mu Poliisi n’omwogezi w’eggye lya UPDF, Lt. Col. Paddy Ankunda (ku ddyo).

Omuduumizi wa Poliisi, Gen Kayihura yagambye nti ku ssaawa 2:30 ez’ekiro ku Ssande wabaddewo abazigu abaalumbye ekitebe kya poliisi y’e Gulu n’ekigendererwa eky’okutolosa omusibe Dan Oola Odiya balemese enteekateeka z’okumutwala mu kkooti ku Mmande ku musango gw’okutta omuntu n’obutujju.

Yagambye nti abazigu bano baabadde batambulira ku mmotoka UAF 350Q wabula poliisi ng’eri wamu n’amagye ne balwanagana n’abazigu bano mu kuwanyisiganya amasasi okwatutte eddakiika ezisukka mu 30.

Kayihura yagambye nti baasuuzizza abazigu emmundu 6 z’ekika kya AK 47, emmundu y’ekika kya PK emu, emmundu ey’ekika kya SAR, amasasi 270, magazine enkalu 12, ebyambalo omubeera amasasi bisatu, obusaale obw’omulembe n’empiima munaana.

Mu bulumbaganyi buno Kayihura yagambye nti omujaasi omu Cpl. Moses Edema yattiddwa era abazigu ne balumya n’abapoliisi abalala bana ssaako omuntu waabulijjo eyabadde ayitawo era bonna bajjanjabwa.

Eggulo poliisi n’amagye baakutte abantu abalala basatu e Gulu ku by’obulumbaganyi obwabaddewo era waabaddewo okuwaanyisiganya amasasi nga babakwata.

Yagambye nti obulumbaganyi buno obwakoleddwa bweyolese nti ababukoze balina akakwate n’abali emabega w’okulumba enkambi y’aba LDU mu disitulikiti yeemu nga May 27, 2016.

Ng’obulumbaganyi buno bukoleddwa waliwo akabinja akeeyise aka National Democratic Alliance akaasasanyizza obubaka ku mikutu gya yintaneti nga keewaana nga bwe kabadde emabega w’obulumbaganyi buno era poliisi enoonyereza ku bagamba nti be bali mu kabinja kano.

Emmundu zizze zibula ku poliisi nga n’ezaasembyeyo baazibbye ku poliisi y’e Namayingo era kiteeberezebwa nti ababadde bazibba balina akakwate ku buyeekera obwogerwako.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bad1 220x290

King Michael akaayidde Balaam

King Michael akaayidde Balaam

Dot1 220x290

Ebyokutambula bino byetaagamu kasooda...

Ebyokutambula bino byetaagamu kasooda

Hot1 220x290

Minisita amazzi gatutabukidde

Minisita amazzi gatutabukidde

Lit1 220x290

Omukazi atulugunya abaana bange...

Omukazi atulugunya abaana bange

Tap15 220x290

Engeri Corona gy’ayigirizza abakozi...

Engeri Corona gy’ayigirizza abakozi okuvuga eggaali