TOP

Omuyizi aggyiiridde ku ssomero

By Musasi wa Bukedde

Added 16th June 2016

POLIISI etandise okubuuliriza ku muliro ogwakutte essomero lya St. Francis Namiryango P/S.

Kuba 703x422

Awe Yubu ku kitanda e Nsambya

POLIISI etandise okubuuliriza ku muliro ogwakutte essomero lya St. Francis Namiryango P/S.

Akulira okunoonyereza ku buzzi bw'emisango ku poliisi e Mukono, Henry Ayebare, agamba omuliro gwakutte ekisulo ky’abayizi ku Lwomukaaga ekiro ku ssaawa 3:00 omuyizi omu, Awe Yubu 10, owa P.3 n’afuna ebisago.

Yubu mu kiseera kino ali Nsambya kyokka nga yasookera mu ddwaaliro lya Mukono International Medical Centre.

Yayidde ku mutwe, ekifuba, emikono n'engalo. Ayebare yategeezezza nti, abazimyamoto baazikizza omuliro nga tegunnabuna bisulo birala.

Dayirekita w'essomero lino eyagaanyi okwogera amannya ge, yagambye nti omuliro guno baagulabuukiridde nga bukyali.

Ayebare yagambye nti, baakwataganye n'ekitongole ky'ebyenjigiriza mu Mukono Munisipaali okulaba oba essomero lino lyawandiisibwa mu mateeka.

Yagasseeko nti okunoonyereza kulaga nti omuliro guno gwavudde ku masannyalaze.

Harriet Alum maama w’omwana ono agamba nti abasomesa baasoose kumulimba nti, teyafunye buzibu okutuusa mwannyina Geoffrey Odong bwe yamubuulidde ekituufu.

Omwana tayogera ng’omukka abaka mubake. Omwana yayongeddwaayo mu ddwaaliro e Nsambya era we bwazibidde eggulo nga bamutadde ku mukka gwa oxygen.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ret2 220x290

Proline esuze bulindaala

Proline esuze bulindaala

Yes3 220x290

Uganda esubiddwa eza Afrika

Uganda esubiddwa eza Afrika

Bok1 220x290

Abeebikonde bayiiseemu kavvu wa...

Abeebikonde bayiiseemu kavvu wa bukadde 60

Mis1 220x290

Ez'amaato bazongeddemu ebirungo...

Ez'amaato bazongeddemu ebirungo

Kip2 220x290

Sheikh Dr. Rashid Semuddu Edduwa...

Sheikh Dr. Rashid Semuddu Edduwa y’okusiibulukuka Allah agyanukulirawo