TOP
  • Home
  • Ageggwanga
  • ‘Mulamuzi nawonedde watono obutwa mu kkomera...’

‘Mulamuzi nawonedde watono obutwa mu kkomera...’

By Joseph Mutebi

Added 16th June 2016

DR. Kizza Besigye asinzidde mu kaguli ka kkooti y’e Nakawa n’addamu okutendera omulamuzi embeera enzibu gy’ayisibwamu mu kkomera.

Buna 703x422

Besigye

DR. Kizza Besigye asinzidde mu kaguli ka kkooti y’e Nakawa n’addamu okutendera omulamuzi embeera enzibu gy’ayisibwamu mu kkomera.

Agambye nti okumanya obulamu bwe buli mu matigga, lwe yasibirwa ku poliisi e Moroto waaliwo olukwe lw’okumuwa obutwa.

Besigye, eyakwatibwa omwezi oguwedde n’aggulwako omusango gw’okulya mu nsi ye olukwe, eggulo yazziddwa mu kkooti ento e Nakawa wakati mu kwerinda okw’amaanyi okuwulira okusaba kwa Gavumenti ku ky’okukkiriza Besigye awozesebwe mu kkooti y’e Luzira olw’ensonga y’ebyokwerinda.

“Kituufu kkooti esobola okutuula awantu wonna singa amateeka gakkirizaawo naye kyokka ddembe lya muwaawabirwa (Besigye) okusigala ng’asomerwa omusango mu kkooti eno e Nakawa,” omulamuzi James Mawanda Eremye bwe yawunzikidde ku ludda lwa Besigye abantu abangi abaabadde mu kkooti ne bacacanca.

 

esigye ngali mu kkooti e akawa Besigye ng'ali mu kkooti e Nakawa

 

Nga bino biwedde, Besigye yaluvudde ku ntono nti; “Ssebo omulamuzi, olunaku lwe nasembayo okulabikako mu kkooti eno nayagala okutuusa okwemulugunya kwange ku ngeri gye ntulugunyizibwamu poliisi wamu n’ekitongole kya Gavumenti ekiwaabi nga banteekako emisango naye ne bannyima omukisa.

Okumanya poliisi erina ekkobaane okuntulugunya, bwe bankwata nga May 11, bansibira ku poliisi e Moroto ne baggyawo abaserikale bonna ku poliisi eno ne baleeta abapya abambala yunifoomu enzirugavu.

N’abasibe bonna be nasangamu baabaggyawo ne nsigalamu nzekka. Ku lunaku olwokubiri, amasannyalaze gaavaako ne nsaba DPC akkirize abehhanda zange bandeetere ttooci emulise ku kitangaala.

Bwe bwaziba, nneewuunya ggeeti emu ku poliisi okuba enzigule ng’okuva bwe natwalibwayo yali nzigale.

Nabuuza abaali bankuuma lwaki yali nzigule bah− hamba nti bo bakolera ku biragiro bya mukama waabwe (DPC) ne mbasaba bamumpitire n’agaana. Yansindikira omulala eyalagira ggeeti eggalwe ne kikolebwa.

Ku ssaawa nga 8:00 mu ttumbi, nawulira enswagiro y’omuntu ali mu gagatto aganene ng’ajja mu kaduukulu mwe nali ne mmumulisaamu ttooci.

 esigye ngatuuka ku kkooti e akawa

                                               Besigye ng'atuuka ku kkooti e Nakawa

Yali mu biddugavu ng’ataddeko akakookolo naye bwe yalaba ekimyanso kya ttooci n’adduka.

Ssebo omulamuzi, nkakasiza ddala nti omuntu ono yali ajjiridde kunzita nga kirabika yali ayagala kumpa butwa kubanga abantu bangi abali ku ludda oluvuganya gavumenti nga nze abafa mu ngeri etategeerekeeka.

Okumanya bannyigirizza, poliisi eremesa abeng'anda, abeemikwano n’abawagizi bange okujja mu kkooti okuwulira ekigenda mu maaso...”

Wano omuwaabi wa Gavumenti, Doreen Elima, we yawanikidde omukono n’agamba omulamuzi nti okwemulugunya kwonna Besigye kw’akola mu kkooti kumenya mateeka kubanga omusango gwe ogw’okulya mu nsi ye olukwe munene nnyo ng’alina kwogerera mu Kkooti Enkulu.

...............................................................................................................

EBIRALA.....

Omulamuzi awakanyizza ekya Besigye okuwozesebwa e Luzira- Waakudda mu kkooti nga 29-6-2016

Ekibadde e Nakawa nga Besigye aleetebwa mu kkooti

................................................................................................................

 

Omulamuzi yabigaanyi n’agamba Besigye alina eddembe okuwa kkooti okwemulugunya kwe kuba gwe mukisa gwokka gw’alina okugitegeeza ebigenda mu maaso mu kkomera.

Wano Besigye kwe kwongera okulaajana nti; “Mu nsi ezikuze, omuntu bagenda okumukwata ng’obujulizi bamaze okubufuna, ekitali mu musango gwange.

Ssebo omulamuzi, nsaba oludda oluwaabi bwe luba lulina obujulizi obunnumika lubuleete mu kkooti eno esobole okunsindika mu Kkooti Enkulu ntandike okuwoza.” Omulamuzi yagambye nti okwemulugunya kwa Besigye kulimu eggumba n’alabula poliisi n’ebitongole byokwerinda okwekomako.

Yalabudde n’abawagizi ba Besigye okukomya obutassa kitiibwa mu kkooti. Besigye agenda kudda mu kkooti nga June 29, 2016. Bo abawagizi ba Besigye abaasibiddwa ebweru wa kkooti baakoze effujjo, abamu omuli n’omukungu wa FDC, Ingrid Turinawe ne bakwatibwa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

B1 220x290

Bebe Cool oluwummula lw'abaddeko...

Bebe Cool oluyingiddewo n'awaga "nkomyewo zaabike emipiira.."

Pass 220x290

EBIKULU MU BUKEDDE W'OLWOKUBIRI...

Bawambye omwana omulala ne basaba obukadde mukaaga; bamusse omulambo ne bagusiba mu kadeeya.

Owakccangayogeramulukiiko 220x290

Ab'e Bwaise batabukidde aba KCCA...

“Twagala Pulezidenti Museveni y’aba atulagira okusasula kuba n’amazzi gakyatuyingirira mwe mulabika temuvudde na...

Kizito 220x290

Basajjabalaba alaalise okulwanyisa...

NNAGGAGGA Hassan Basajjabalaba asinzidde mu kuziika Charles Muhangi n’alabula abaggagga abaagala okutwala ebintu...

Rite6 220x290

Poliisi ekubaganye n'aba takisi...

Mu kanyoolagana akaabaddewo omuserikale eyategeerekeseeko erya Kasirye yakubiddwa ejjinja era ono yatwaliddwa...