TOP
  • Home
  • Ageggwanga
  • Poliisi eyigga ababbye omulambo gwa maama wa Can. Kibuuka

Poliisi eyigga ababbye omulambo gwa maama wa Can. Kibuuka

By Kizito Musoke

Added 16th June 2016

CAN. Ernest Kibuuka asobeddwa eka ne mu kibira! Ng’ali mu kaweefube w’okuzuula ababbye omulambo gwa nnyina mu ntaana ate alumbiddwa ekibinja okuva ku bukkojja abamutaddeko akazito nga bagamba nti alina okubakwasa omuntu waabwe kubanga yakola kinene mu kusalawo gy’aba aziikibwa.

Kuba 703x422

CAN. Ernest Kibuuka asobeddwa eka ne mu kibira! Ng’ali mu kaweefube w’okuzuula ababbye omulambo gwa nnyina mu ntaana ate alumbiddwa ekibinja okuva ku bukkojja abamutaddeko akazito nga bagamba nti alina okubakwasa omuntu waabwe kubanga yakola kinene mu kusalawo gy’aba aziikibwa.

Ekibinja ekitadde Can. Kibuuka ku nninga ku by’omulambo gwa nnamukadde Manjeeri Nalubwama kyatudde mu lukiiko eggulo ku kyalo Bulamba - Makulubita mu disitulikiti y’e Luweero.

Eno gye bazaala Nalubwama eyafudde ng’abuzaayo ennaku mukaaga zokka okuweza emyaka 100.

Ab’ekika kya Nalubwama naddala ababadde bamuyita Ssenga obwedda boogera basunguwavu ku ngeri Can. Kibuuka ne batabani be okuli Rev. Samuel Katabula ow’Obusumba bw’e Bunnamwaya ne Rev. Moses Kayimba ow’Obusumba bw’e Namasuba gye bababbyeeko omulambo gwa Nalubwama mu kiro kyennyini eky’olunaku lwe baaziise.

Omu ku baabadde mu lukiiko yagambye nti kyabadde kikyamu Can. Kibuuka eyali Ssaabadinkoni w’e Kazo kyokka nga kati yawummula ne banne okumala okuziika ne badda e Kampala ekyawadde ababbye omulambo omwagaanya okugutwala nga tewali muntu mukulu alondoola.

Beesammudde ebigambibwa nti balina kye bamanyi ku mayitire g’omulambo ne bategeeza nti ng’abeekika ky’Effumbe bagenda kussa ku nninga Can. Kibuuka n’abantu be bazuule omulambo guno kubanga Nalubwama abadde muntu mukulu mu kika era tebayinza kuzinga mikono nga tebalina kiggya kye balaga we yaziikibwa.

Baawunzise bagamba nti: Can. Kibuuka alina okutuwa omulambo gw’omuntu waffe. Nalubwama baamuziise ku Mmande ku kyalo Mifunya mu Nakaseke ku kiggya we baaziika bba Bulasio Muwanga wabula mu kiro ekyo kyennyini abantu abatannamanyika ne basima entaana ne baggyamu omulambo olwo ssanduuko n’embugo ne babireka nga byasamye.

Ku kkubo waabaddewo emikululo gy’emmotoka n’ebisosonkole by’amagi nga kirowoozebwa nti abaatutte omulambo baakozesezza mmotoka era yamaze kulinnya magi okutuukiriza akalombolombo k’abatambuza emirambo.

 ba famire nabamu ku batuuze nga bagumbye ku biggya we baaziikudde omulambo gwa aama wa an ibuuka Aba famire n’abamu ku batuuze nga bagumbye ku biggya we baaziikudde omulambo gwa Maama wa Can. Kibuuka.

 

POLIISI ERI KU MUYIGGO

Abanoonya omulambo gwa Nalubwama bateebereza ebintu bingi omuli ab’ekika kya Nalubwama abaawuliddwa nga bawakanya eky’okuziika omuntu waabwe gye yafumbirwa nga bwe beewera ku Can. Kibuuka nti: “Tojja kumuziika wammwe kutukubya muzimu…”!

Kyokka ababadde bateebereza kino baafunyemu ekyekango bwe baatuuse ku biggya by’e Bulamba nga tewali kiggya kipya kyonna era ne bawotoka.

Baasigadde bateebereza Lwengo ng’eno nayo Nalubwama alinayo akakwate ate abamu nga bagamba nti bwe kiba ng’abeekika be baagusimuddeyo bayinza okusooka okuguwummulizaako mu kifo ekimu balinde embeera ekkakkane balyoke bamuziike ku kiggya kyabwe ng’ebyokulondoola biweddewo.

Nalubwama yali yalaama kumuziika ku kiggya ky’e Mifunya okuliraana ekiggya kya bba era kino Can. Kibuuka ne banne kye baatadde mu nkola.

Abalala bateebereza nti omulambo guyinza okuba nga gwatwaliddwa basamize abakkiririza mu kweraguza nga waliwo omusawo w’ekinnansi eyabatuma omulambo gw’omukadde ow’emyaka 100; ate abalala bateebereza basezi.

................................................................................................................

EBIRALA...

Can. Kibuuka bamubbyeeko omulambo gwa nnyina

.....................................................................................................................

Ababadde bateebereza nti babbi baakendedde oluvannyuma lw’okuzuula nti buli eky’ebbeeyi ekyateekeddwa mu ssanduuko kyalekeddwa ne batwala mulambo gwokka.

Poliisi enyiinyiitizza omuyiggo gw’okuzuula omulambo gwa Nalubwama era Francis Tumwesigye, agiduumira mu disitulikiti y’e Nakaseke yagambye nti okuva omulambo lwe gwabuze, bakola butaweera okulaba nga baguzuula era wadde nga tegunnafunibwa waliwo amawulire ge bazze bafuna agayinza okubayamba okuguzuula.

Yagambye nti tewali muntu yaakwatiddwa nga baagala kusooka kwekenneenya bulungi amawulire gonna ge bafuna era n’asaba buli muntu alina amawulire akolagane ne poliisi.

Yagasseeko nti ababbye omulambo guno batwalibwa ng’ababbi era nga bwe baanakwatibwako bajja kuvunaanibwa ogw’obubbi n’okutaataaganya eddembe ly’omufu.

Samuel Kato, ssentebe wa L.C 1 owa Mafunye awaasimuddwa omulambo yagambye nti abatuuze baakedde ku muyiggo kyokka ne batabeerako kye bazuula.

Yagambye nti baasambye ensiko ku byalo ebiriranyeewo, kyokka nga tewali kabonero kalaga nti omulambo guli mu kitundu, ekyayongedde okubakakasa nti gwandiba nga gwatwaliddwa wala ng’abaagututte bakozesa emmotoka eyalese n’emikululo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

B1 220x290

Bebe Cool oluwummula lw'abaddeko...

Bebe Cool oluyingiddewo n'awaga "nkomyewo zaabike emipiira.."

Pass 220x290

EBIKULU MU BUKEDDE W'OLWOKUBIRI...

Bawambye omwana omulala ne basaba obukadde mukaaga; bamusse omulambo ne bagusiba mu kadeeya.

Owakccangayogeramulukiiko 220x290

Ab'e Bwaise batabukidde aba KCCA...

“Twagala Pulezidenti Museveni y’aba atulagira okusasula kuba n’amazzi gakyatuyingirira mwe mulabika temuvudde na...

Kizito 220x290

Basajjabalaba alaalise okulwanyisa...

NNAGGAGGA Hassan Basajjabalaba asinzidde mu kuziika Charles Muhangi n’alabula abaggagga abaagala okutwala ebintu...

Rite6 220x290

Poliisi ekubaganye n'aba takisi...

Mu kanyoolagana akaabaddewo omuserikale eyategeerekeseeko erya Kasirye yakubiddwa ejjinja era ono yatwaliddwa...