BYA SHAMIM NALUMU
BULI Musiraamu anaasaala Idd asaana okumanya obulombolombo obugobererwa ku lunaku luno obutafi irwa mpeera za lunaku luno.
Idd lunaku lwa kusinza Allah era lunaku lwa ssanyu, lwa mbaga era ffenna tuba bagenyi ba Allah.
Sheikh Hassan Kawesi alaga obulombolombo obulina okugobererwa ku lwa Idd.
1 Abasaala Idd bateekwa okubeera Abasiraamu n'abasaaza nga Imaam oba Sheikh.
2 Abasiraamu basaanidde okwambala olugoye olusinga obulungi n'abasajja okwekuba akaloosa.
3 Nga tonnagenda kusaala sooka obeereko ne ky'olya.
4 Ng'ogenda okusaala tambula ng'oleeta 'Takibiira' ezitendereza Allah.
5 Weereza baliraanwa ku byokulya era tewabaawo bya bagenyi bayite, buli omu abeera mugenyi wa Allah kye tuva tuliira awamu.
6 Kirungi Idd okugisaalira mu kibangirizi wabweru ssinga tewabaawo mbeera esobola kubaleetera buzibu ng'enkuba. Era bwe mugisaalira mu kibangirizi nga si Masgid tokkirizibwa kusooka kusaala yo Sunna yonna.
7 Omusiraamu yenna alina obusobozi obuwa 'zzakat-fi tri' ateekeddwa okugiwaayo nga Idd tennayimirirawo, bw'ogiwa oluvannyuma lwa Idd ebeera efuuse saddaaka.
8 Tolina kuyita mu kkubo limu ng'ogenda okusaala ate n'okudda. Okyusa amakubo osobole okwolesa Obusiraamu n'okulaga abantu nti wasadde. 9 Tambula ko ogende mu muzikiti omulala gy'otosaalira bulijjo.