TOP

Kaliisoliiso wa Gavumenti bamwongedde ekisanja

By Ahmed Mukiibi

Added 13th July 2016

KALIISOLIISO wa Gavumenti, Irene Mulyagonja agambye nti olutalo olw’okulwanyisa enguzi mu bitongole bya Gavumenti olulwana bwezizingire wakati mu kuyingirirwa bannabyabufuzi abagezaako okumuwa ebiragiro.

Irene703422 703x422

IGG Irene Mulyagonja

KALIISOLIISO wa Gavumenti, Irene Mulyagonja agambye nti olutalo olw’okulwanyisa enguzi mu bitongole bya Gavumenti olulwana bwezizingire wakati mu kuyingirirwa bannabyabufuzi abagezaako okumuwa ebiragiro.

Mulyagonja bino abyogeredde ku Palamenti bw’abadde yaakava mu kakiiko okukakasibwa ku kisanja ekyokubiri Pulezidenti Museveni kye yamwongedde.

Pulezidenti yazzeemu okulonda Mulyangonja nga Kaliisoliiso wa Gavumenti oluvannyuma lw’ekisanja kye eky’emyaka ena (4) okuggwaako.

Mulyangonja eyali omulamuzi wa Kkooti Enkulu yalondebwa ku kisanja ekisooka nga April 12, 2012, okudda mu bigere bya Faith Mwondha n’alayizibwa mu kifo kino nga July 5, 2012.

Ensonda mu kakiiko ka Palamenti akakakasa abantu Pulezidenti b’alonda ku bifo eby’enjawulo, zaategeezezza nti ababaka tebasanze buzibu mu kukakasa Mulyagonja olw’engeri ey’obuvumu gy’alwanyisaamu enguzi.

Akakiiko era kaakakasizza omuwandiisi ow’enkalakkalirira owa minisitule y’ebyensimbi, Keith Muhakanizi oluvannyuma lwa Pulezidenti okumwogera kontalakita endala.

Muhakanizi yategeezezza bannamawulire ku Palamenti nti asobodde okulwanyisa abakozi ab’empewo abaabeeranga ku lukalala olw’emisaala gy’abakozi ba Gavumenti era kino kiyambye Gavumenti okuwonya obukadde obusoba mu 300 ezabbibwanga buli mwezi

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Pp 220x290

Abayimbi Bannayuganda battunse...

Abajamaica;Christopher Martin ne D-Major bakubye Bannayuganda emiziki egibaccamudde

Hse1 220x290

By’olina okumanya ng’ogula ennyumba...

Kya makulu omuntu akuguza ennyumba okukuwa ppulaani yaayo n’ogiwa omukugu nagyetegereza okukakasa nti ebiriko byagobererwa...

Ssenyonjo 220x290

Poliisi ezudde ebipya ku yatema...

POLIISI ezudde ebipya ku musajja Hamidu Ssennyonjo amanyiddwa nga Munomuno omu ku bagambibwa okuyingirira omugagga...

Mayiga 220x290

Katikkiro alaze engeri ebbula ly’amazzi...

KATIKKIRO wa Buganda, Charles Peter Mayiga ayongedde okukkaatiriza obukulu bw’amazzi mu bulamu bw’abantu n’agamba...

Bazigu1 220x290

Abazigu balumbye amaka e Munyonyo...

ABAZIGU balumbye amaka e Munyonyo ne batemaatema omukozi w’awaka Isa Birimusho n’okumusiba akandooya ne bamuleka...