TOP
  • Home
  • Ageggwanga
  • Bannayuganda ababeera mu Amerika beebugira lukung'aana lwa UNAA

Bannayuganda ababeera mu Amerika beebugira lukung'aana lwa UNAA

By Teddy Nakanjakko

Added 26th July 2016

BANNAYUGANDA ababeera mu Amerika abeegattira mu mukago gwa UNAA bategese olukung’aana lwabwe olwa buli mwaka ng’olwomwaka guno lwakubeerawo nga September atandika mu kibuga Boston ekya Amerika.

Mondayatigo1 703x422

BANNAYUGANDA ababeera mu Amerika abeegattira mu mukago gwa UNAA bategese olukung’aana lwabwe olwa buli mwaka ng’olwomwaka guno lwakubeerawo nga  September atandika mu kibuga Boston ekya Amerika.

Akulira omukago guno Monday Atigo yategeezezza nti omwaka guno bagenda kutambulira ku mulamwa “ Tukolerere wamu okutumbula abakyala” era baakuyozaayoza abakyala abalina kye bakoze okutumbula ebitundu mwe bava n’abantu baamwo.

Olukung’aana luno omwogezi omukulu ye Cap. Lukiah Mulumba omukyala eyatandika ekibiina kya Uganda- American Sickle cell ekirwanyisa ekirwadde kya Sickle cell. 

Olukung’aana lwa Sep. 2- 4 e Boston Amerika. Atigo agamba nti baakukozesa olukung’aana luno okukunga abakyala naddala Bannayuganda okwetoloola ensi okulaba nga  beenyigira mu kukulaakulanya Uganda.

Luno lwe batongoza enteekateeka gye batuumye nti “tewali kuleka mwana muwala mabega” buli mwana omuwala aweebwe omukisa okufuna eby’enjigiriza nga bwekiri ku baana abalenzi.

Baakuwa emisomo gya Ssenga ne Kojja, okwolesa tekinologiya, okutumbula abavubuka, eby’obufuzi bya Uganda, ensonga z’obukiikakkono bwa Uganda, obusuubuzi n’okusiga ensimbi.

Ebitongole eby’enjawulo bitaddemu ensimbi okuyimirizaawo olukung’aana luno okuli gavumenti ya Uganda, Equity Bank, Housing Finance Bank, Centenary Bank, Kasper Foods, , Uganda Tourism Board, Post Bank Uganda Ltd, ne Ethiopian Airlines.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Isco 220x290

Isco agenda ku 'kiso'

Abakungu ba Real Madrid baategeezezza nti abasawo beekebezze Isco, ne basanga ng'alina okulongoosebwa mu bwangu...

Mic3webuse1 220x290

Bayiiyizza sigiri eneetaasa obutonde...

Obutonde bw'ensi busaanyiziddwaawo abantu mu kwokya amanda, okutema enku n'ebirala ng'obwetaavu bw'okuyiiya ebintu...

Butwa2 220x290

Babateze obutwa mu busera, omu...

EKIKANGABWA kigudde ku kyalo Katuulo mu ggombolola y'e Kyazanga mu disitulikiti y'e Lwengo omuntu atanamanyika...

Nakiwala 220x290

Nakiwala avuddeyo ku mwana omubaka...

Minisita Nakiwala Kiyingi waakukaka omubaka Onyango okulabirira omwana gwe yasuulawo.

Kambale1 220x290

KCCA etandika ne Soana, Villa ne...

Okusinziira ku nsengeka ya liigi eno eyafulumiziddwa Bernard Bainamani agikulira eggulo, bakyamipiyoni ba sizoni...