TOP

Balooya ba nnamwandu wa Kasiwukira bakubye ebituli mu bujulizi

By Musasi wa Bukedde

Added 31st July 2016

Balooya ba nnamwandu wa Kasiwukira bakubye ebituli mu bujulizi

Ti1 703x422

OLUDDA oluwaabi mu musango gw’okutta omugagga Eria Ssebunya Bugembe ‘Kasiwukira’ lwafundikidde okuleeta obujulizi n’abajulizi 23 abalumirizza nnamwandu Sarah Nabikolo, Sandra Nakkungu n’owa poliisi Jaden Ashiraf okubeera emabega w’ettemu lino.

Wabula bannamateeka baabwe abaakulembeddwa MacDusman Kabega bakubye ebituli mu bujulizi bwonna ne basaba omulamuzi Musalu Musene abejjeereze awatali kusooka kwewozaako.

MacDusman Kabega yagambye nti abajulizi bonna abajja mu kkooti tewali yeesimba mu Nabikolo n’amulumiriza nti ye yali nnannyini mmotoka Prado egambibwa okutta Kasiwukira. Era nti oludda oluwaabi olw’okulemererwa okuleeta obujulizi, lwasalawo kujweteka kiboozi nti omugenzi yalina ebyawongo ebyali byagala okusaddaaka abaana nga kino kye kyamussa. Kabega yalaze kkooti nti n’owapoliisi eyakulira okunoonyereza Mark Odong, yawa obujulizi n’agamba nti mu nnyumba teyazuulamu byawongo ssaako n’akasenge akoogerwako nti mwe biterekebwa ekitegeeza nti emboozi eno yali njweteke.

Obujulizi obulala Kabega bwe yeesigamyeko bwali bwa muganda wa Kasiwukira, Bugembe eyategeeza nti omugenzi yali takkiririza mu byawongo era obutakkaanya bwe baalina oluvannyuma lw’omugenzi okuwasa omukazi omulala, Kasiwukira yamala ne yeetonda Nabikolo n’amusonyiwa.

Kabega yasambazze n’akatambi akaakwatibwa abapoliisi omwali omuvubuka Alex Adwenywa ng’alumiriza nnamwandu Nabikolo okumulambuza ennyumba ya bba n’amuwa n’akafo akalungi w’asobola okwekweka n’atta Kasiwukira ng’akomyewo awaka.

Kabega yagambye omulamuzi nti engeri oludda oluwaabi gye lwalemererwa okuleeta Andwenywa mu kkooti, akatambi ke tekasobola kwesigamibwako nga bujulizi era n’asaba omulamuzi aleme kukeesigamako ng’asalawo oba Nabikolo asaana okwewozaako ku by’okutta bba Kasiwukira.

Ate ye Nsubuga Mubiru awolereza Sandra Nakkungu yagambye nti obujulizi bwokka obumugatta ku ttemu lino bwa mmotoka ye egambibwa okuba nga ye yatta mulamu we Kasiwukira.

Nsubuga yagambye nti Nakkungu emmotoka yagiguza Kwetegetsi nga October 16, 2014 kyokka ettemu ne libaawo nga October 17, 2014 ekitegeeza nti emmotoka teyali mu mikono gye.

Nsubuga yannyonnyodde nti Nakkungu talina musango era oludda oluwaabi lulemeddwa okuleeta obujulizi obumulumika mu ttemu lino n’asaba omulamuzi Musene amwejjeereze nga teyeewozezzaako.

Lwo oludda oluwaabi lugenda kuwa ensonga lwaki abavunaanibwa balina okwewozaako ku Lwokusatu lwa wiiki ejja. Wano omulamuzi w’ajja okusinziira okusalawo oba ng’abalagira okwewozaako oba abayimbula.

Nnamwandu Sarah Nabikolo, muganda we Sandra Nakkungu ne Jadeni Ashiraf bavunaanibwa okutta Kasiwukira.

Kigambibwa nti ettemu lino lyaliwo oluvannyuma lwa Nabikolo okufuna okutya nti amayembe Kasiwukira ge yali aleese gaali gaagala kusaddaaka omu ku baana be.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Wab1 220x290

Obukodyo bw’okozesa okulwanyisa...

Obukodyo bw’okozesa okulwanyisa obuggya mu baana

Mal1 220x290

Malokweza ayogedde ebimuwangaazizza...

Malokweza ayogedde ebimuwangaazizza emyaka 90

Kad1 220x290

Maama wa Patrick Kaddu musanyufu...

Maama wa Patrick Kaddu musanyufu olw'omwana we okuteeba ggoolo eyatutte Cranes mu AFCON

Ken1 220x290

Ssentebe w'ekinnawattaka agobeddwa...

Ssentebe w'ekinnawattaka agobeddwa ku bukulembeze mu bunnambiro!

Seb2 220x290

Ababaka bakomezzaawo eby'enfa ya...

Ababaka bakomezzaawo eby'enfa ya Nebanda