TOP
  • Home
  • Ageggwanga
  • Kino ekisanja kya kugogola byanjigiriza - Dr. Muyingo

Kino ekisanja kya kugogola byanjigiriza - Dr. Muyingo

By Dickson Kulumba

Added 5th August 2016

MINISITA omubeezi ow’ebyenjigiriza ebya waggulu, Dr. JC Muyingo agambye nti mu kisanja ky’omulundi guno beetegefu okuggoggola ekitongole ky’ebyenjigiriza okuggyamu abo ababadde bakiweesa erinnya ebbi.

Byanjigiriza3 703x422

Dr. JC Muyingo ng'ayogerera ku mpewo leediyo ya Bukedde Fa Ma Embuutikizi. EKIF: DICKSON KULUMBA

MINISITA omubeezi ow’ebyenjigiriza ebya waggulu, Dr. JC Muyingo agambye nti mu kisanja ky’omulundi guno beetegefu okuggoggola ekitongole ky’ebyenjigiriza okuggyamu abo ababadde bakiweesa erinnya ebbi.

Bino Dr. Muyingo yabyogeredde ku mpeewo za Bukedde Fa Ma ku Pulogulamu Mugobansonga eyakubiriziddwa Ronald Ssebutiko akawungeezi k'Olwokuna n'asaba abazadde okukwatira awamu ne gavumenti okutereeza eby’enjigiriza nga bamalawo emize egibiviiriddeko okusereba.

“ Mu kitongole ky’ebyenjigiriza mubaddemu okwolesa ekyejo; abasomesa okwebulankanya, abakulira amasomero obutabeerayo obudde bwe balina okubeerayo, abaana okutuuka ekikerreezi, n'abalala okuteebwa ng’obudde bugendedde ddala n’ebirala ebiraga obugayavu bingi,” Muyingo bwe yattaanyizza.

Muyingo yategeezezza nti mu kaweefube okutumbula eby’enjigiriza, gavumenti eteekateeka okuzimba ku buli muluka essomero lya Pulayimale ate ku ggombolola kubeereko erya ssiniya.

Ku kya looni abayizi kwe basomera mu matendekero agawaggulu, Dr. Muyingo yategeezezza nti zino zifunibwa abo abanaku nga yenna ayagala okufuna alina okugenda ku kitebe kya Minisitule eno mu Kampala, ku Centenary bank oba okukozesa yintaneti okufuna empapula z'ajjuzza.

Muyingo era nga ye mubaka w’e Bamunanika mu Palamenti, yakubirizza abantu b’ekitundu kye okwettanira okusomesa abaana kubanga kyokka kye kigenda okukyusa ekitundu n’okukyusa embeera z'abantu mu maka.

Mu ngeri y’emu yakakasizza nga gavumenti bw'egenda okukola ku nsonga z’abakozi ku Yunivasite abatasomesa ng’era ensimbi zaabwe gavumenti yaakuzisasula mu mwezi gwa September.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Wab1 220x290

Obukodyo bw’okozesa okulwanyisa...

Obukodyo bw’okozesa okulwanyisa obuggya mu baana

Mal1 220x290

Malokweza ayogedde ebimuwangaazizza...

Malokweza ayogedde ebimuwangaazizza emyaka 90

Kad1 220x290

Maama wa Patrick Kaddu musanyufu...

Maama wa Patrick Kaddu musanyufu olw'omwana we okuteeba ggoolo eyatutte Cranes mu AFCON

Ken1 220x290

Ssentebe w'ekinnawattaka agobeddwa...

Ssentebe w'ekinnawattaka agobeddwa ku bukulembeze mu bunnambiro!

Seb2 220x290

Ababaka bakomezzaawo eby'enfa ya...

Ababaka bakomezzaawo eby'enfa ya Nebanda