TOP
  • Home
  • Ageggwanga
  • Kaweesi alondeddwa ku bwogezi bwa Poliisi mu ggwanga

Kaweesi alondeddwa ku bwogezi bwa Poliisi mu ggwanga

By Eria Luyimbazi

Added 22nd August 2016

OMUDUUMIZI wa poliisi, Gen. Kale Kayihura awadde Andrew Felix Kaweesi obuvunaanyizibwa obwenjawulo okubeera omwogezi omukulu owa poliisi mu ggwanga.

Kaweesi2 703x422

Kaweesi ng'ayogera eri abamawulire e Naguru. Ku ddyo ye Fortunate Habyara akulira PSU. EKIF; ERIA LUYIMBAZI

OMUDUUMIZI wa poliisi, Gen. Kale Kayihura awadde Andrew Felix Kaweesi obuvunaanyizibwa obwenjawulo okubeera omwogezi  omukulu owa poliisi mu ggwanga.

Kaweesi era nga yakulira ekitongole ekivunaanyizibwa okutendeka abasirikale yagambye nti Gen. Kayihura yamuwadde obuvunaanyizibwa buno nga bwatandise ku Ssande nga yatumiddwa mu ngeri ey’enjawulo.  

Yagambye nti abadde omwogezi wa poliisi, Fred Enanga yagenze kutendekebwa mu ggwanga lya China n’omumyuka we, Polly Namaye. Wabula bano ebifo byabwe bisigaddewo wadde nga kati bagenda kukolera wansi we saako n’aboogezi ba poliisi mu bitundu by’eggwanga ebyenjawulo nga bonna Kaweesi y’alina okulondoola byonna bye bakola.

Kaweesi era nga yaliko omuduumuzi wa poliisi mu Kampala n’emirirwano yagambye nti alina okufuba okulaba nga poliisi efuna ekifaananyi ekipya saako n’okulaba ng’emirimu gyonna egikolebwa mu ofiisi wamu n’amawulire agabikwatako biyita mu ofiisi ye.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lab12 220x290

Okulonda kwa Ssentebe wa NRM e...

Okulonda kwa Ssentebe wa NRM e Mityna kuzzeemu kigoye wezinge

Gwe1 220x290

Taata bamuwadde emitwalo 30 n'awaayo...

Taata bamuwadde emitwalo 30 n'awaayo omwana we ew'omusamize bamusadaake

Nkumba2jpgweb 220x290

Abadde ayingira mu ofiisi z'ebizimba...

Allan Nkumba omutuuze w'e Kabowa mu Sserwadda zooni ye yakwatiddwa poliisi ya CPS ku Lwokusatu oluvannyuma lw’okugenda...

Sjpgweb 220x290

Eyanfunira omulimu mufiirako

Nze Innocent Katusiime 29, mbeera Nakawa. Buli lwe ndowooza ku ngeri gye nnasisinkanamu maama w’omwana wange essuubi...

Nsamba22pulaaniusewebuse 220x290

Mukuume obumu musobole okwekulaakulanya...

Ab'ekika ky'Engabi beetaaga obukadde 13o okuzimba ekiggwa kyabwe