TOP

Engeri gy'oyinza okukola ssente mu nju yo nga togitunze

Added 10th September 2016

ETTAKA kyabugagga ggwe alirina ky’oyinza okukozesa okugaggawala n’obeera mu bulamu obweyagaza.

 Gano maka g’eyaii minisita, Nyombi Thembo agasangibwa e Ntinda. Ennyumba ng’eno oyinza okugiteekamu wooteeri.

Gano maka g’eyaii minisita, Nyombi Thembo agasangibwa e Ntinda. Ennyumba ng’eno oyinza okugiteekamu wooteeri.

Bya Musasi wa Bukedde

ETTAKA kyabugagga ggwe alirina ky’oyinza okukozesa okugaggawala n’obeera mu bulamu obweyagaza.

Kyokka bw’olizannyisa oba okulikozesa obubi liyinza okukuttisa n’okufuna ebizibu. Edda ng’abantu bakyabeera n’ettaka eddene, ng’omuntu azimba amaka amanene n’ateekako oluggya olunene kumpi kwenkana kisaawe kya mupiira. Wabula ennaku zino ebintu bikyuse.

Buli kintu kye bakola bamala kubala we bakifuniramu n’engeri gye kigenda okumugattako. Ebintu bigenda bikyuka ng’ennyumba bazizimba ku poloti ate abaasooka okuzimba oba abazimba kati ennyumba ennene batandise okuzikyusa okulaba nga baziryamu ssente mu kifo ky’okuzisaasaanyako ssente mu kuzirabirira nga tebalina kye bazifunamu.

Kati osobola okukozesa ettaka lyo n’enju mu bintu eby’enjawulo ebivaamu ssente kyokka n’osigala ng’okuumye ekitiibwa ky’enju yo nga Ying. Fred Jjuuko bw’akunnyonnyola.

EBINTU BY’OYINZA OKUKOLERA MU NNYUMBA YO N’AWAKA

l Ng’oggyeeko okulimirako ebirime ebikula amangu ng’ebijanjaalo, nnakati, ebbugga, ebibala n’ebitooke oyinza okuteekako ekifo we booleza n’okukuumira mmotoka n’osoloozanga ssente eza buli lunaku ng’oluusi oyinza n’okusinga omuntu akeera mu ofiisi buli lunaku. Kino kikola kubanga abantu bangi abaguze mmotoka ne pikipiki kyokka nga basula mu mizigo.

l Bw’oba wafuna omukugu n’akuteekerateekera ekifo kyo nga tonnaba kuzimba nnyumba, oluggya oba emmanju oyinza okuzimbawo ennyumba z’abapangisa n’ogaziya ku nnyingiza yo nga bwe weetegekera obukadde oleme kubonaabona n’ebyetaago.

l Alina oluggya olugazi obulungi, osobola okusimbamu ebimuli n’otandika okutegekerawo emikolo ng’embaga n’okwanjula. Oyinza okwesanga nga buli wiiki ofunayo omukolo gumu n’oyingiza omudidi.

Ekikulu olina okukikuuma nga kiyonjo bulungi, n’okuteekawo obukuumi obumala ng’abayaaye n’abatuuze b’oku kyalo tebajja kubayingirira.

l Ennyumba yo bw’eba nga nnene nnyo ng’erina n’ebisenge bingi oyinza okugikyusa n’okolamu loogi oba wooteeri. Famire yo bw’eba si nnene muyinza okuzimbawo ennyumba entonotono oba okusenguka ne weekolera ssente.

BY’OLINA OKUTUNUULIRA

l Ng’ofunye ekirowoozo ky’okukola ssente mu maka go, waliwo ebintu by’olina okutunuulira. Okugeza olina okuteekawo amazzi kubanga geeyambisibwa abantu ababa bakipangisizza, mu kaabuyonjo n’okulongoosa ekifo nga basiimuula ennyumba.

l Oteekwa okuba n’amasannyalaze oba genereeta. Gano gayamba okuwa abantu ekitangaala ng’obudde buzibye wamu n’okunyweza ebyokwerinda.

l Olina okufaayo okusaawa omuddo okugoba emisota n’ebiwuka ebiyinza okuba eby’obulabe eri abakikozesa. Kyandibadde kya buvunaanyizibwa okukifuuyirako omulundi gumu buli mwezi.

l Ennyumba yo bw’eba eri kumpi n’ekkubo, mu kifo ky’okusiba ekikomera n’okuteekako oluggya olunene, osobola okuzimbako obuzigo abantu ne babupangisa n’ofunamu ssente. Wabula abantu bano olina okubaawula ku maka go ng’obawa kaabuyonjo n’ebinaabiro ebyabwe ng’era tebayingira mu kikomera kyo.

l Abantu abamu naddala abagagga bwe baba bazimba ennyumba, balina ebintu bye bakozesa. Emyaka bwe giyitawo ne balaba nga biwedde ku mulembe, baleeta ebipya. Kati osobola okweggyako ebintu bino by’oteetaaga ng’obitunda n’obifunamu ssente.

l Kino kikola ne ku bintu by’osimba awaka ng’emiti. Bwe gikula ennyo, kyandibadde kirungi n’ogitemawo, enku n’ozitunda oba okuzikozesa mu kufumba n’osimba emirala.

l Oyinza okuteekawo ekifo abaana we bazannyira. Wabula kino kikwetaagisa okwongeramu akasente ng’ogula eby’okuzannyisa. Ky’olina okumanya nti bw’oba okitegese bulungi, ssente zo zijja kuvaayo mu kaseera katono.

EBIZIBU BY’OKUKOLERA BIZINENSI

AWAKA l Waliwo abantu abapangisa ekifo ne basukka mu ssaawa ze mwategeeragana. Kino kituteeka ku bunkenke kubanga obukuumi bw’obeera wateeseteese buba buweddeko. l Ate bw’oba osula awo n’abantu bayinza okubataataaganya nga temusobola kwebaka ng’abantu tebannaba kugenda,

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Matia Lubega eyabula ku bakadde be

Eyabula kati emyezi ebiri y...

Omwana eyabula kati emyezi ebiri nga n'okutuusa kati tannamanyikako mayitire yeeraliikirizza bazadde be nga bagamba...

Omuwala atuuyanidde mu ofii...

OMUWALA agambibwa okubba ensimbi emitwalo 290,000/= ku muvubuka yakiguddeko omuvubuka bwe yamuguddeko mu Kampala...

Ensi kuyiiya: Wuuno nnamuka...

ABAVUBUKA bangi banyooma emirimu olwo ne badda mu kwekubagiza nga bwebatalina mirimu n’obwavu obubalemesa okubaako...

Ensi ekalubye omukazi ow'em...

Nansubuga agamba ku myaka 75 asoboola okwetuusaako buli kimu.

Dr. Diana Atwine n'abakulu abalala nga balambula eddwaaliro

Dr. Atwine alagidde eddwali...

MINISITULE y'ebyobulamu ekkirizza eddwaliro ly'e Kayunga erimaze emyaka ebiri nga liddaabirizibwa litandike okujjanjaba...