TOP

Ebigezo bya S4 bitandika wiiki eno

By Olive Lwanga

Added 10th October 2016

Ebibuuzo bya UNEB ebya S4 bitandika wiiki eno n’okubuulirira abayizi kunaabaawo ku Lwokutaano nga 14, October.

Baine 703x422

Ebibuuzo bya UNEB ebya S4 bitandika wiiki eno n’okubuulirira abayizi kunaabaawo ku Lwokutaano nga 14, October.

Bulijjo kino kikolebwa basomesa n’abakulu b’amasomero naye ku mulundi guno Minisitule y’ebyenjigiriza yasazeewo abazadde babeegatteko mu kusibirira abayizi.

Ekyebuuzibwa abazadde bamanyi kye balina okukola ne kye batalina kukola? Ebirungi mu kusibirira abayizi Hamis Kaheru, omwogezi w’ekitongole ky’ebigezo agamba nti kirungi okwogera n’abayizi nga tebannatandika bigezo kuba;

l Kibayamba okuvaamu ekiwuggwe n’okutya ebigezo,

l Omuyizi amanya amateeka g’alina okugoberera mu biseera nga baddamu ebibuuzo oba nga bali okumpi ne we bakolera ebigezo.

l Balabula ku buzibu bwe bayinza okufuna ssinga babakwata nga bakoppa.

l okwekebera oba buli kyetaagisa akirina.

l Okumanya w’agenda okukolera ebigezo. By’olina okusibirira omuyizi

l Omumyuka wa kamisona mu masomero ga pulayimale, Tonny Lusambu agamba nti basazeewo okwongerako abazadde kubanga abayizi aawulirira nnyo mu bazadde baabwe. Kiba kirungi buli mwana lw’abaako eddaala ly’atuukako n’omuzadde abeera wamu n’omwana we.

l Omuzadde bw’osabirako omwana kiba kirungi ne yeekwasa Katonda.

l abazadde balina kwagaliza baana buwanguzi,

l balina okugumya abaana, okubalaga nti bajja kusobola okuyita

l okuwa abaana buli kyetagisa mu budde, okubakubiriza okuwulira amateeka abasomesa ge babagambye By’olina okwewala

l Wabula abazadde bw’oba oyogera n’omwana waliwo ebintu by’olina okwewala ebiyinza okumuggya ku mulamwa. Tolina kukozesa bukambwe otiisa omwana ne ky’amanyi n’akyerabira.

l Mwewale okubatwalira ebyokulya basigale ku ndya gye babaddeko. labazadde balina okwewala okugulira abaana ebintu ebipya ng’obutabo kubanga obudde buba buweddeyo nga bijja kubataataaganya.

l tebateekeddwa kutiisa baana bigezo nti bizibu.

l tebalina kwogera na baana kumala bbanga ddene kubanga bayinza okubagamba ebigambo ebibajja ku mulamwa.

l Weewale okumunenya ku bubonero bye yasembye okufuna.

l Okubabuuza ennyo ebibuuzo Bayamba Buzale omulambuzi w’amasomero mu disitulikiti y’e Wakiso agamba nti bagezezzaako okukendeeza okukoppa mu bigezo nga bassaawo amateeka amakakali n’ebibonerezo eby’enjawulo Okuteekawo abakuumi b’ebibuuzo okuva mu bitundu eby’enjawulo.

Godfrey Kalyango akulira ebyenjigiriza mu disitulikiti y’e Gomba agamba nti ekitongole ky’ebigezo kibawa omuwendo gw’abakuumi gwe balina okuba nabo olwo bo ne balondamu mu bataddeyo okusaba kwabwe.

Batera okugamba nti buli bayizi 25 bakuumibwe omusomesa omu. Hamis Kaheru, omwogezi wa Uneb agamba nti tebannasalawo ku banaakuuma bigezo era bwe banaaba bamaze enteekateeka zonna bajja kutegeeza amasomero.

Mulimu abagamba nti ebibuuzo bibbibwa mu kiseera kyokubitambuza. Mw. Kalyango agamba nti UNEB etwala obuvunaanyizibwa n’etuusa ebigezo ku poliisi mu disitulikiti ez’enjawulo.

Eno amasomero gye gakeera buli lunaku okubikima ate abayizi bwe bamaliriza ne babizzaayo.

Abakulira ebyenjigiriza balina okugenda mu masomero ago okulambula okulaba engeri gye bikolebwamu n’okukakasa nti buli kimu kiri bulungi tewali kukoppa, biki bye beetaaga n’ebirala.

Enkuba oba etonnye oba tetonnye ebibuuzo biba birina okutuuka we bigenda okukolebwa ate mu budde wadde ng’abamu basuulamu eddakiika ekitatera kwewalika olw’embeera y’obudde.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Annotation20190722173519 220x290

Banjoman muto wa Bobi Wine alina...

Banjoman muto wa Bobi Wine alina ke yeekoleddewo

Annotation20190722170617 220x290

Omwana eyattibwa aziikuddwa: Eyamutta...

Omwana eyattibwa aziikuddwa: Eyamutta abadde yamuziika mu nju

Annotation20190722170129 220x290

Ssentebe asobezza ku bazukulu be...

Ssentebe asobezza ku bazukulu be 2: Poliisi eyazizza amakaage ng'adduse

Dem2 220x290

Omukazi atuludde abasajja entuuyo...

Omukazi atuludde abasajja entuuyo

Hit2 220x290

Champion bagenze bakolima

Champion bagenze bakolima