TOP

Obusinga bwa Rwenzururu buwezezza emyaka 50

By Musasi wa Bukedde

Added 22nd October 2016

Abanyarwenzururu mu e Kasese, babugaanye essanyu olw'Obusinga okuweza emyaka 50 ate n'Omusinga Charles Weasley Mumbere Iramangoma okujaguza amatikkira ge ag'emyaka omusanvu.

Rwenzururu 703x422

Minisita Kamuntu (ku ddyo) ng'abuuza ku Musinga. Wakati ye mukyala we ate ku kkono Bp. Nzerebende .

Abanyarwenzururu mu e Kasese, babugaanye essanyu olw'Obusinga okuweza emyaka 50 ate n'Omusinga Charles Weasley Mumbere Iramangoma okujaguza amatikkira ge ag'emyaka omusanvu.

Omusinga Mumbere Iremangoma ne mukyala we Agnes Ithungu Asimawe, baayaniriziddwa nnamungi w'omuntu mu kisaawe kya Kasese Booma Grounds.

Geoffrey Sibendere, ssentebe wa disitulikiti y'e Kasese, ategeezezza Omusinga nti, tebakkirizanga kusala mu disitulikiti y'e Kasese kubanga mu kiseera kino, abantu b'e Kasese si kye beetaaga oluvannyuma lw'okuva mu butabanguko.

Yategeezezza nti, waliwo bakansala, abaagenda ewa Pulezidenti Museveni ne bamulimba nti ab'e Kasese baagala disitulikiti okusalibwamu, ekitali kituufu n'agamba nti, bano tebaagala mirembe e Rwenzori.

Ye Bp. Jackson Nzerebende ow'Obulabilizi bwa South Rwenzori n'abalala baakulisizza Omusinga n'Obusinga okuweza emyaka 50 ne bamusaba okubunyweza mu mirembe.

Omusinga Mumbere yennyamidde olw'obutabanguko obubadde e Rwenzori ekyawaliriza poliisi okukuba abaserikale be n'agamba nti wadde ebyo byaliwo akyalina enkolagana ne Gavumenti era n'agisaba okussaawo akakiiko okunoonyereza ku butabanguko buno.

Minisita w'ebyobulambuzi era nga ye yakiikiridde Gavumenti, Ephraim Kamuntu yasomye obubaka bwa Pulezidenti n'asaba Omusinga okutwala emirembe ng'ekintu ekisookerwako mu buli kimu.

Omusinga Charles Weasley Mumbere Iremangoma, ye Omusinga owookubiri mu Businga bwa Rwenzururu okuva mu 1966 nga eyasooka ye Isia Mukirania eyabutandikawo mu 1950 nga yeekutula ku Bukama bwa Toro.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ket1 220x290

Leero mu mboozi z'omukenkufu tukulaze...

Leero mu mboozi z'omukenkufu tukulaze butto wa ovakkeddo gy'ayinza okutasaamu asiriiza entamu ssaako okufuukuuka...

Gwa 220x290

Anoonya omuvubuka ali siriyaasi...

OMWAKA nga gutandika abaana abawala bangi basazeewo okukkakkana era bangi bayigga bavubuka batuufu. Ku bawala 10...

Noonya 220x290

Nnoonya omwami ananjagala n’omwana...

Njagala omwami alina empisa, eyazimba nga mwetegefu okunfunira omulimu n’okugenda ewaffe n’okunjagala n’omwana...

Teba 220x290

Esther weebale kumponya laavu y’abayaaye...

NZE Henry Ssekabo, 26 nkola gwa busuubuzi nga mbeera Kawempe mu muluka gwa Bwaise II, Tebuyoleka Zooni.

Spice 220x290

Maneja Roger ye yamponya okudda...

NG’EBULA ennaku mbale okutuuka ku konsati ya Spice Diana etuumiddwa ‘Spice Diana live concert’ egenda okubeera...