TOP

Omwavu yeetaaga kufa - George Mutabaazi

By Kizito Musoke

Added 26th October 2016

SSENTEBE wa disitulikiti y’e Lwengo, George Mutabaazi awuniikirizza abantu, bw’agambye nti omuntu omwavu yeetaaga kufa. “Sikimenyawo era nkiddamu nti omwavu yeetaaga kufa.

Maamule 703x422

Sssentebe wa disitulikiti y'e Lwengo, George Mutabaazi

SSENTEBE wa disitulikiti y’e Lwengo, George Mutabaazi awuniikirizza abantu, bw’agambye nti omuntu omwavu yeetaaga kufa. “Sikimenyawo era nkiddamu nti omwavu yeetaaga kufa.

Oba baagala bankyawe, kuba natamwa abaavu era abantu bonna balina okukola bagaggawale.” Mutabaazi bwe yategeezezza.

Yategeezezza nti tewali muntu azaalibwa nga mwavu, era buli muntu yenna asobola okukola n’agaggawala. Kyokka abamu okuba abaavu tebakiraba ng’ekizibu nga batuuka n’okubwenyumirizaamu.

Yawadde ekyokulabirako ky’omuntu eyasalawo okweyita ssentebe w’abaavu mu ggwanga, nga ke kaboneero akalaga nti obwavu abwenyumirizaamu.

Mutabaazi yeekokkodde bannabyabufuzi abatabuulira bantu kituufu kuba babeeguyaako obululu.

Yategeezezza nti omwavu gw’ayogerako ye muntu atasobola kulya mirundi ebiri olunaku nga bwe kinnyonnyolwa mu mateeka agafuga ekibiina ky’ensi yonna aga United Nations.

Ekimu ku kisinga okunyiiza Mutabaazi kwe kuba ng’abaavu abamu batuuka n’okulowooza nti obwavu bwa nsikirano ng’anoonya abantu abamulimira mu nnimiro b’asasula 5,000/- buli lwe bakoze.

Mutabaazi yagambye nti erimu ku kkubo ly’okulwanyisa obwavu, ayagala buli mukulembeze abeere n’endagaano kw’aweerereza era ng’aliko amulondoola okukakasa nti agituukirizza.

Okugeza ye nga ssentebe wa disitulikiti taliiko amuvunaanyizibwako nga naye talina buvunaanyizibwa bujjuvu eri bakansala.

Mutabaazi, y’akulira bassentebe ba disitulikiti mu Uganda abeegattira mu kibiina kya Uganda Local Government Association (ULGA).

BANNADDIINI BAANUKUDDE OBUSIRAAMU TEBUKKIRIRIZA

Sheikh Sulaiman Guggwa, yagambye nti Obusiraamu buvumirira obwavu, nga mu kusaba Abasiraamu bakubirizibwa okusaba Katonda okubawa obulungi obuli ku nsi (nga ze ssente) awamu n’obulungi ku nkomerero.

Nabbi Muhammad (SAW) yasomesa nti kaabulako katono omwavu okufuuka omukaafiiri. Waliwo omumanyi omu eyagamba nti yakomba ku Subhiri (eddagala ly’Ekiwarabu erikaawa ennyo) era n’akomba ku Katanga, kyokka talina kye yalaba kyenkana bwavu kukaawa.

Sheikh Guggwa yayawukanye ne Mutabaazi n’ategeeza nti eky’okwagaliza omwavu okufa kiba kisusse.

Yasabye abantu okukola ennyo, kuba ly’eddagala ly’okufuna ssente.

REV. MUWONGE AYOGEDDE:

Rev. Samuel Muwonge, akulira eby’okubuulira mu Bulabirizi bw’e Namirembe yagambye Katonda awa emikisa omulimu ogukolebwa emikono gy’abantu.

Yagambye nti mu bulamu bwabulijjo omwavu amenya era akaluubiriza abalala ng’abasabiriza, era obwavu buzaala n’emize emirala mingi.

Yakikkaatirizza nti Bayibbuli ekubiriza abantu okukola basobole okuva mu bwavu, kyokka nga tulina okukulembeza amazima.

Engero 13:20, egamba nti otambulanga n’abagezi naawe osobole okufuuka omugezi, era n’atambula n’abasiru naye bwalibeera.

Kino kituyigiriza okukoppa abakozeewo, tusobole okubafaanana. Ku ky’okuba omwesigwa nga tukola, Bayibbuli eyigiriza nti minzaani y’obulimba ya muzizo eri Mukama, naye ekipimo ekituufu Mukama akyongera amazima.

Mu kitabo ky’Engero kiyigiriza nti ayavuwala y’oyo akozesa omukono oguddirira ate akozesa omukono ogunyiikirira talema kufuna bugagga.

Bayibuli era eyongerako nti akozesa omukono omugayaavu balimukozesa omulimu gw’obuddu.

Engero 19:15 wagamba nti obugayaavu buleeta otulo otungi, era n’atakola mulimu n’amaanyi alirumwa enjala.

Rev. Muwonge yagambye nti okwagaliza omwavu okufa si kituufu, kyokka buli muntu nga kw’otwalidde n’abaweereza b’e kkanisa balina okukola ennyo bafune ssente, baleme kufuukira be baweereza kizibu.

EKLEZIA EYAGALA ABALINA BAYAMBE

Msgr. Gerald Kalumba owa Klezia ya Yezu Kabaka mu Kampala yategeezezza nti Katonda yatonda omuntu n’amuwa obuvunaanyizibwa bw’okulabirira ebintu byonna ebiri mu nsi nga y’abifuga.

Yamuwa obuyinza okwesalirawo ku bintu by’ayagala okukola, ng’abamu bakola okusalawo okwekigayaavu ate abalala ne basalawo bulungi kyokka ebintu ne bigaana.

Yagambye nti abamu basalawo okutunda ettaka ne bagula bodaboda. Takkiriziganya na kya kuvumirira baavu, kuba abamu ekituufu bakola kyokka ebintu ne bigaana.

Yawadde ekyokulabirako ky’abantu abayinza okuzindibwa amataba, oba okukosebwa enkyukakyuka z’obudde ebintu byonna bye baalima ne bifa.

Msgr. Kalumba yagambye nti omuntu okuba omwavu tulina okusooka okunoonya ekivaako obuzibu.

Yawabudde nti enjigiriza ya Klezia egamba nti bwe musanga abantu abatasobola kwerabirira nga basobeddwa, kikakata ku balala okubayamba.

OMUTUME SERWADDA AGAMBA

Omutume Dr. Joseph Serwadda, akulira Abalokole yategeezezza nti Bayibuli eyogera ku bwavu ng’ekikolimo.

“Ngero 22:2, abagagga n’abaavu Katonda ye yabakola nga benkana. Teyatonda muntu mwavu oba mugagga.

Omugagga asobola okwavuwala bw’anafuwa era omwavu asobola okugaggawala bw’anyiikira okukola. Obugagga Katonda yekka y’agaba obuyinza okubufuna. Obwavu bwa Sitaani era kikolimo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bug1 220x290

Paasita Bugembe naye endiga ze...

Paasita Bugembe naye endiga ze tazisuuliridde

Kag1 220x290

Ekizibu kya corona kisaza abantu...

Ekizibu kya corona kisaza abantu entotto

Kit1 220x290

Embeera ya Kenzo mu Ivory Coast...

Embeera ya Kenzo mu Ivory Coast ekanze abawagizi be

Acfc67552a0b422590ccdbe84492c45a 220x290

Minisita Ssempijja akubirizza Bannayuganda...

Minisita Ssempijja akubirizza Bannayuganda okulima

Kat18 220x290

Engeri Ssennyiga omukambwe gy’awadde...

Engeri Ssennyiga omukambwe gy’awadde abamu ‘essanyu’