TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abasawo b'ekinnansi abawaba abalwadde eddagala effu balabuddwa

Abasawo b'ekinnansi abawaba abalwadde eddagala effu balabuddwa

By Musasi wa Bukedde

Added 4th November 2016

Abasawo b'ekinnansi abawaba abalwadde eddagala effu balabuddwa

At1 703x422

Dr Atwine ng'ayogerera mu lukiiko lw'abasawo b'ekinnansi

DR ATWINE atabukidde abasawo b’ekinnansi abawa abalwadde eddagala eritali ku mutindo ne bamulaajaanira abayambe ku bbago ly’etteeka lyabwe libayambeko okugoba abasawo b'ebiccupuli abasadaaka abaana.

Abatabuzi be ddagala ly'ekinnansi okwetooloola eggwanga basisinkanye e Buyijja mu Mpigi okukubaganya ebirowooza ku bbago ly'eteeka lyabwe eribalungamya ku nzijanjaba yaabwe ne balaajanira Dr Dianah Atwine abayambe ku bafere abasusse okubatulugunya nga bagamba nti baatumiddwa maka g’obwa pulezidenti bawandiike abasawo b'ekinnansi bonna ng'ate
tebalina bukugu bwonna.


Basabye Gavumenti eyongere ku bibonerezo ebiweebwa abasawo bekinnansi abafera abantu ne bababbako obutitimbe bw'ensimbi nga tebalina kye babakoledde gattako abasadaaka abaana kikendeezeko ku bikolwa bino.

Omukugu w’ekitongole ky'ebyobulamu mu nsi yonna (WHO) Dr Joseph Mwoga asuubizza nti ekitongole kino kyakukwatagana n'abasawo b'eddagala ly'ekinnansi bakolere wamu okusobola okutumbula ebyobulamu n'okuzuula eddagala lyobutonde bwensi kyokka n'abasaba okwongera okukuuma obutonde mwe bagya eddagala lyabwe.

Dr Atwine atabukidde abasawo b'ekinnansi abawa abalwadde eddagala eritatuukana na mutindo n’abacaafu nabawa amagezi okwongera ku mutindo gweddagala lyabwe nokulongoosa ebifo mwebakolera era nabasaba n’okwongera okunonyereza ku ddagala lyebaba bazudde oba nga teririna bulabe bulala (Side effects) ku muntu gwebaba baliwadde ekiyinza okuviirako okufuna endwadde endala

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

She1 220x290

Abaafunye akabenje mu Ambulance...

Abaafunye akabenje mu Ambulance baziikiddwa

Rak1 220x290

Ssentebe w'ekyalo Laddu emukubye...

Ssentebe w'ekyalo Laddu emukubye n'afiirawo e Rakai

Gat2 220x290

Asangiddwa ng'agenda okukwata abaana...

Asangiddwa ng'agenda okukwata abaana akkiriza omusango n'asaba ekisonyiwo

Mut1 220x290

Ssaabasajja aggaddewo ekisaakaate...

Ssaabasajja aggaddewo ekisaakaate kya Maama Nnabagereka

Mala1 220x290

BUKEDDE W’OLWOMUKAAGA AFULUMYE...

Mulimu abayizi 5 abasinze mu buli ssomero mu disitulikiti ez’enjawulo. Tukugattiddeko n’ebifaananyi byabwe nga...