TOP

Abakadde e Kayunga bayiiseemu obukadde 20

By Saul Wokulira

Added 8th December 2016

ABAKADDE abasukka 350 mu disitulikiti y’e Kayunga bagudde mu bintu, gavumenti ebongedde ssente obukadde 20 kw’ezo zeegabira abakadde buli mwezi.

Omukaddengaazzeokufunassentezeekayungaekifsaulwokulira1 703x422

Omukadde ng'aggyibwako ebyetaagisa okufuna ssente ze e Kayunga. Ekif: SAUL WOKULIRA

ABAKADDE abasukka 350 mu disitulikiti y’e Kayunga bagudde mu bintu, gavumenti ebongedde ssente obukadde 20 kw’ezo zeegabira abakadde buli mwezi.

Akulira enteekateeka eno e Kayunga, Collins Kafeero yagambye nti ku mulundi guno buli mukadde bamuwadde 50,000/- nga za myezi ebiri okuli ogwa July ne August.

Kafeero yagambye nti omulundi ogwasooka baagaba ssente obukadde obusukka mu 40 eri abakadde 418 era nga baasooka kubagabira 100,000/- buli muntu nga za myezi ena nga kati babanja emyezi mukaaga ku mwaka guno.

 bamu ku balindiridde okufuna ssente zaabwe e ayunga Abamu ku balindiridde okufuna ssente zaabwe e Kayunga

 

Kafeero yagambye nti n’okuwandiika abo abaafikkira abatali ku lukalala kukyagenda mu maaso era nga abakadde abafuna ssente zino beebo abatandikira ku myaka 65 egy’obukulu.

Yagambye nti ssente zino zibaweebwa okubayamba okugula sukaali, sabuuni, amafuta g’ettaala ate abasobola bafuneyo ku bapakasi ababalimira ku mmere.

Mu nteekateeka eno buli mukadde Gavumenti yamubalirira okumuwa 25,000/- buli mwezi kubanga bangi babonaabonero eyo mu byalo nga tebaliiko ayamba.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Dav1 220x290

Museveni beyakuzizza bambaziddwa...

Museveni beyakuzizza bambaziddwa ennyota zaabwe

Mum2 220x290

Herbert Muhangi oluyimbuddwa ku...

Herbert Muhangi oluyimbuddwa ku kakalu ka kkooti tewayise n'addakiika n'addamu okukwatibwa

Lab2 220x290

Eyakubwa amasasi mu kwekalakaasa...

Eyakubwa amasasi mu kwekalakaasa alaajanye

Kab2 220x290

Ssewungu akubirizza bannaddiini...

Ssewungu akubirizza bannaddiini okuvumirira empaka

Lwa2 220x290

Ogwa Lwakataka gwongezeddwayo

Ogwa Lwakataka gwongezeddwayo