TOP
  • Home
  • Essomero
  • Ssesimba yaakawandiika ebitabo 5 ku myaka 20!

Ssesimba yaakawandiika ebitabo 5 ku myaka 20!

By Silvano Kibuuka

Added 12th December 2016

Agamba nti yatandika okuwandiika ebitabo ku myaka 12 ng’ali mu P6.

Leta1 703x422

Ssesimba ng’alaga ekitabo kye ekyasooka.

MAHAD Ssesimba ayinza okuba omuwandiisi asinga obuto mu Uganda. Ku myaka 20 gy’alina yaakawandiika ebitabo by’Oluganda bitaano!

Agamba nti yatandika okuwandiika ebitabo ku myaka 12 ng’ali mu P6. Ssesimba alina ekitone ky’okuwandiika era mu mwoleso gw'ebitabo ku lunaku lw'ennimi ennansi mu nsi yonna ogwabadde ku National Theatre gye buvuddeko yagambye nti ekitabo kye ekisooka kye yatuuma, Eddoboozi Lya Buganda eky’emiko 40 yakiwandiikira mu P6.

“ Bwe nnali omuto, nnawuliranga abavubuka nga bakyamya Oluganda mu njogera, kwe kwagala okubaako bye ngolola n'okubawabula waakiri bwe baba baliko bye baagala okwogera nga tebabimanyi basooke beebuuze. Okugeza mpulira bangi abagamba nti, ‘Sijja Lya’, ng'ategeeza nti ‘sijja kulya’.

Enkoko tezaala wabula ebiika oba okwalula; embwa teba na mulambo wabula omutulumbi n’ebirala.

Bino byonna bye nassa mu kitabo ekisooka nga nange awamu nneebuuza. Ekitabo kino era kirimu okusiima Ssekabaka Sir Edward Muteesa II eyalwanirira ennyo Obuganda mu biseera ebizibu.

Muka kitange Lumbe ky’ekitabo kyange ekyokubiri kye nnakiwandiikira mu S 2 mu London College e Nansana.

Kibuulirira baka bakitaffe okwagala abaana be basanze awaka kubanga bwe babayisa obulungi bayinza okubayamba nga bakuze. Bangi abagwa mu kiti kino abaawula abaana ku bakitaabwe nga kiggya bangi mu ssomero.

Kyongerako okubuulira abazadde okuleka abaana baabwe okusoma emisomo n'okukola emirimu gye baagala mu bulamu bwabwe so si kubasibako bo abazadde bye baagala kubanga bangi bibalemerera.”

Ebitabo ebirala Ssesimba by’awandiise mulimu Nsimattuka Amagombe ekiteebereza obulamu omuntu bw'ayinza okuyitamu ng'ali emagombe era ekibuulirira okukolerera obulamu obuddako. Kino kya miko 160.

Waliwo Obutamanya bwe Buyiggisa Embwa Effumbe. Kino kirambika embeera eya bulijjo gye tuyitamu ng'abantu abandibadde abooluganda bagugulana mu butamanya.

Ekikyasembyeyo akituumye Empologoma ku Nnamulondo ky’awandiise ng’ali mu S4. Kikwata mu bukyayi abantu bwe balaga Obwakabaka naddala obwa Buganda ne kibuuza n’ekibuuzo ekisoomooza: Ggwe kiki ky'okoze okuyimirizaawo n'okukuuma ekitiibwa kya Buganda?

“Kati mpandiikayo ekitabo ekirala, Obuddu mu Nsi Yange n’eky’Olungereza kye mpise, I Wish, ekiraga engeri abantu gye bayita mu nsi ey’okwekubagiza n’okwejjusa.

Ekirala, Yields Of My Seeds kiyigiriza abavubuka okukozesa obudde bwabwe mu ngeri gye basobola okuganyulwamu nga bakaddiye. Kisomesa omuvubuka okwagala eddiini ye, okwegerera nga bagenda mu beetiingi oba okwekatankira amagengere,” bw’agamba.

Ssesimba agamba nti by’awandiika abiggya mw’ebyo by’alaga ne by’awulira eyo gy’aba atambulidde. “Okugeza bwe ndaba owa bodaboda ng'avuga endiima nfuna ekirowoozo nti ayolekedde akabenje, okufiirwa obulamu n'ebintu.

Olwo bwe ntegereza nga nnyinza okuwandiikako ekitabo ekiyamba omuntu ng’ono nga nkikola,” bw’agamba.

Agamba nti talyerabira jjajjaawe Saidat Nabukenya eyamukuza era eyatunda ente ye ku 300,000/= ze yamuwa okukubisa ekitabo kye ekyasooka ng'abantu bangi baali bagaanyi okumuyamba.

Kitaawe ye Isma Kiyemba Birungi, makanina wa mmotoka mu Nyendo e Masaka ate nnyina ye mugenzi Mariam Kizza eyafa mu 2002.

Yasomera mu Kimanji P.S e Kalangala; Victory Town School e Kyazanga mu Lwengo; London College Nansana omwaka oguwedde nga kati ali mu S5 ku Kololo High School gy’asoma History, Luganda ne Divinity.

Yeebaza Ssentebe wa disitulikiti y’e Lwengo, George Mutabaazi, kansala Mark Turyejuka owa Lwengo ne Moses Musasizi owa MK Publishers b’agamba n ti bamuyambye okukuza talanta ye ey’okuwandiika.

“Nsoma nnyo obutabo, ate kati njiga n'okuzannya katemba n'okuwandiika emizannyo mu kibiina kya Tendo Sisters ne mu Honest Film Productions.’, bw’agamba.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Hab2 220x290

Omuwendo gw'abatalina kabuyonjo...

Omuwendo gw'abatalina kabuyonjo gwelarikirizza abakulembeze mu Lwengo

Kib2 220x290

Akulira ensonga z'amaka e Matugga...

Akulira ensonga z'amaka e Matugga yennyamidde olw'obutabanguko mu maka

Kas1 220x290

Omutaka Kasirye Kyaddondo alabudde...

Omutaka Kasirye Kyaddondo alabudde abalwanira obukulembeze mu bika

Ko1 220x290

Leero kkooti lw'esalawo oba abali...

Leero kkooti lw'esalawo oba abali ku gw'okutta Suzan Magara basindikibwa mu kkooti enkulu

Lev1 220x290

Omuyimbi Abel Chungu Musuka mutaka...

Omuyimbi Abel Chungu Musuka okuva e Zambia ali mu ggwanga.