TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abadde yeeyita omukozi wa Gavt. n'aggya ku b'e Nansana ssente akwatiddwa

Abadde yeeyita omukozi wa Gavt. n'aggya ku b'e Nansana ssente akwatiddwa

By Rogers Kibirige

Added 16th December 2016

POLIISI ekutte n’eggalira omusajja abadde yeeyita omukozi wa Munisipaali y’e Nansana n’anyaga ku batuuze abazimba ensimbi.

Ssonko1 703x422

Omupoliisi ng'akunguzza Ssonko oluvannyuma lw'okukwatibwa. EKIF; ROGERS KIBIRIGE

POLIISI ekutte n’eggalira omusajja abadde yeeyita omukozi wa Munisipaali y’e Nansana n’anyaga ku batuuze abazimba ensimbi.

Mohammad Ssonko (32) nga mutuuze w’e Katooke mu Divizoni y’e Nabweru mu Munisipaali y’e Nansana ye yakwatiddwa oluvannyuma lw’abatuuze mu Nansana abazimba ennyumba zaabwe okwemulugunya nga bwe waliwo omusajja eyeeyita omukozi waabwe asussizza okubasoloozaako ensimbi ng’abagaana okuzimuwa ng’abatiisatiisa okubakwata kyokka nga bwe bamukubira essimu bantu balala be bazikwata. 

Akulira abakwasisa amateeka ku kitebe kya Munisipaali, Jackson Tumushabe yasitukiddemu ne basajja be ne bakola omuyiggo ku Ssonko ne bamukwata n’oluvannyuma ne bamukwasa poliisi y’e Nansana n’emuggalira.

Tumushabe yategeezezza nti bakyagenda mu maaso n’omuyiggo gw’abafere abeerimbika okuba abakozi ba Munisipaali y’e Nansana ne basolooza ku batuuze ensimbi ezitali mu mateeka nti kuba kye bakola kitattana erinnya ly’abakozi ba Gavumenti.

Ssonko yagguddwaako omusango gw’okweyita omukozi wa Gavumenti n’aggya ku batuuze ensimbi oguli ku fayiro nnamba SD REF: 79/23/11/2016.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

131736705311775037218421032422864993791094n 220x290

Omusajja gwe baakwatidde ewa Kirumira...

Francis Mayengo omusuubuzi wa sipeeya e Lubowa ku lw’e Ntebe okumpi ne Roofings yakwatiddwa bambega ba poliisi...

Unai 220x290

Emery asonze ku muzannyi gw'agenda...

Banega, muwuwuttanyi era Arsenal yeetaagayo omuzannyi anaaggumiza amakkati.

Supremenew 220x290

Ndirangwa asabye poliisi esookenga...

Ndirangwa agambye nti singa poliisi ekwata omuntu ng’emaze okumunoonyerezaako obulungi ku musango gwe babeera...

Ntebe18 220x290

Ekibaddewo ku kudda kwa Bobi Wine...

Ekibaddewo ku kudda kwa Bobi Wine okuva ku kisaawe e Ntebe okutuuka e Magere mu makaage

Mick 220x290

Mutabani wa Michael Schumacher...

Mick mu kiseera kino avugira mu Formula Three nga yaakawangula empaka za mirundi 6 ku 10