TOP
  • Home
  • Ageggwanga
  • 'Dokita' eyakubye omuyizi eddagala effu bamututte talinnya

'Dokita' eyakubye omuyizi eddagala effu bamututte talinnya

By Samuel Balagadde

Added 18th December 2016

Bakadde be nga batuuze b’e Bweyogerere –Bbuto mu Kira baamututte ku ddwaaliro lya KT Medical Centre eribaliraanye okufuna obujjanjabi obusookerwako kyokka eddagala eryamukubiddwa lyamufuutudde omubiri gwonna n’abeera bubi ng’ebitundu by’omubiri ebimu biringa ebiyidde omuliro.

Uba 703x422

Baluka (ku ddyo) bwe yabadde alabika nga yaakakubwa eddagala. Ku kkono bw’alabika kati ng’afunye ku bujjanjabi.

OMUYIZI mu ssomero lya St. Jonan SSS Kauga Mukono owa S2, Faith Baluka yavudde mu bigezo n’asindikibwa awaka ng’alumizibwa mu kamwa.

Bakadde be nga batuuze b’e Bweyogerere –Bbuto mu Kira baamututte ku ddwaaliro lya KT Medical Centre eribaliraanye okufuna obujjanjabi obusookerwako kyokka eddagala eryamukubiddwa lyamufuutudde omubiri gwonna n’abeera bubi ng’ebitundu by’omubiri ebimu biringa ebiyidde omuliro.

Kitaawe w’omwana, Mathias Wasswa omukozi mu kitongole kya URA yatandise okwekengera obukugu bw’abasawo mu ddwaaliro lino embeera bwe yeeyongedde okutabuka kyokka nga bbo bagenda mu maaso na kumugumya.

Oluvannyuma ng’embeera etabuse ekisusse omwana yatwaliddwa mu ddwaaliro e Nsambya gye baabategeerezza nti obuzibu bwonna bwavudde ku ddagala eryamuweereddwa nga batandika okumujjanjaba.

Taata w’omwana bwe yazzeeyo mu ddwaaliro e Bweyogerere gye yasoose okufuna obujjanjabi obwavuddeko obuzibu n’abiyitiramu gwe baabadde bamanyi nga “Dokita” Elias Tugume, yamuwaddeyo 500,000/- okumuyambako ku bujjanjabi e Nsambya obwabaddde bwetaaga ssente ennyingi.

Wasswa bwe yazzeeyo wiiki ewedde okumubuulira ebigenda mu maaso , Tugume yatutte musango ku poliisi ng’aloopa Wasswa okuba nga yabadde asaalimbira ku ddwaaliro lye wabula poliisi n’ebatabaganya.

 ayizzi ubiru ku ddyo ngayambula ugume Kayizzi Mubiru (ku ddyo) ng’ayambula Tugume.

 

Wasswa yeekubidde enduulu mu kibiina ekigatta abajjanjabi mu ggwanga ekya Allied Health Professionals Council ku byatuuse ku mwana we mu ddwaaliro lya KT Medical Centre era nabo ne basitukiramu.

Ku Lwokutaano, Micheal Mubiru Kayizzi okuva mu Allied Professionals Council eri wansi wa minisitule y’ebyobulamu nga y’avunaanyizibwa okulondoola enzirukanya y’amalwaliro mu masekkati ga Uganda yagambye nti baakoze okunoonyereza ne bakizuula nti Tugume tabeerangako musawo ng’alina satifi keeti ya kukebera musaayi gwa balwadde.

“Tusazeewo eddwaaliro lino tuliggale okutuusa nga lifunye omusawo omutuufu nga n’okunoonyereza ku Tugume bwe kugenda mu maaso.

Dokita eyawandiisibwa mu ddwaaliro nga ligenda okuweebwa layisinsi naye agenda kunoonyerezebwako,” Kayizzi bwe yagambye.

Omumyuka wa ssentebe wa Bbuto mu Divizoni ya Bweyogerere mu Munisipaali ya Kira, yagambye nti beewuunyizza eddwaaliro lino okubeera nga terituukiridde ate nga libadde likola ku balwadde bangi ddala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Tteeka1 220x290

Ebintu 10 ebivaako abakazi okwetamwa...

Omukazi ayinza okukyawa akaboozi oba obutabeera mu mbeera za kwegatta olw’ensonga ezitali zimu.

Genda 220x290

Sheikh Muzaata: Kuva dda nga musajja...

SHEIKH NUHU MUZAATA Batte yazaalibwa mu myaka gya 1950 e Bwayise mu Lufula Zooni okumpi ne Kimombasa mu maka g'omugenzi...

Tteeka2 220x290

Baleese etteeka ku kunyumya akaboozi...

GGWE ssebo abadde alowooleza mu bya, ‘omusajja tammwa kantu’, bukukeeredde! Palamenti ereese etteeka mw’osobola...

20128largeimg210aug2012144442107703422 220x290

Ab'e Kibuli boogedde ku bya Kenzo...

Sheikh Abdul Salaam Mutyaba Imaam w’omuzikiti gw’e Kibuli yagambye bakyetegereza ebya Kenzo era bagenda kutuuza...

Kulanna 220x290

Eyali bba wa Kulannama awadde Kenzo...

Eyali bba wa Senga Kulannama n’amugoba, Abdul Lubega, awadde Kenzo amagezi nti byonna by’ayitamu ye (Lubega) bifaanana...