ABANTU 39 abaabadde balya obulamu nga beekulisa omwaka n’okwaniriza 2017 battiddwa omutujju, bw’ayingidde ebbaala ng’ayambadde nga ‘Father Christmas’ ng’akwese emmundu mu gganduula n’abasasira amasasi!
Ebbaala eno mwe babadde beekulisiza mu kibuga Istanbul ekya Butuluuki (Turkey), yabadde ekubyeko nga ne w’oyisa ekigere tewali.
Butuluuki esingamu Basiraamu, ate eddiini ebagaana okujaguza ku Ssekukkulu oba okwetaba mu bikujjuko by’omwaka omuggya. Nnakulalala ono yavudde mu bbaala eno n’adda ewuwe n’ayambala nga ‘Father Christmas’, munda mu gganduula n’akwekamu emmundu olwo n’adda mu bbaala n’abasasira amasasi.
Ku mulyango oguyingira bbaala wadde waabaddewo abaaza, kyokka ono yayiseewo nga mukungu! Abamu baafudde masasi ate abalala beenyize nga badduka ekibabu, abamu ne bagwa wansi ne babalinnyirawo ne bafa.
Yasse 39 nga ku abo, abantu 16 baabadde balambuzi abajja okulya ennaku enkulu. Abalala 69 baalumiziddwa kyokka okusinziira ku minisita w’ensonga z’ebweru mu Butuluuki, Süleyman Soylu, omutemu ono yadduse na kati akyanoonyezebwa kyokka kino kikontana ne Gavumenti bye yasoose okugamba nti omutujju ono yabadde attiddwa.
Gavana w’ekibuga ekyo, Vasip Sahin yategeezezza nti, omutemu bwe yatuuse ku bbaala eno eyitibwa Reina Club, yasoose n’akkirizibwa nga yeefudde omucakaze.
Wabula bwe yeeyongedde munda mu bbaala, omuserikale yamukugidde, kwe kusikayo emmundu n’amukuba essasi.
Olwo zaabadde ssaawa nga 7:45 ng’abantu baakayingira omwaka omuggya. Ebbaala yabaddemu abadigize abasoba mu 600. Gye buvuddeko, Amerika yalabula ng’akafo ako bwe kayinza okulumbibwa era nnyiniko yategeezezza nti baayongera ebyokwerinda mu kifo ekyo ekibeeramu abalambuzi abangi.
Pulezidenti wa Butuluuki, Recep Tayyip Erdogan yasaasidde abeηηanda z’abaafi iriddwa n’awera okulwanyisa bannalukalala.
Ne Pulezidenti wa Russia, Vladimir Putin naye yaweze okufaafaagana n’abatemu, naddala ng’omubaka wa Russia mu Butuluuki yabadde yaakamala okukubibwa amasasi n’afa.
Bino biteeberezebwa okuba nga bikolebwa olw’amawanga ago gombi okwetaba mu lutalo lw’e Syria gye balemeserezzaako Pulezidenti waayo, Bashir al Assad.