TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Bannakibiina kya NRM banjulidde Kigongo enteekateeka zaabwe mu 2017

Bannakibiina kya NRM banjulidde Kigongo enteekateeka zaabwe mu 2017

By Musasi wa Bukedde

Added 2nd January 2017

Bannakibiina kya NRM banjulidde Kigongo enteekateeka zaabwe mu 2017

Mu1 703x422

Bannakibiina kya NRM ebweru w'eggwanga nga basisinkanye Hajji Kigongo ku Mosa Courts

PATRICK ASIIMWE  akulira bannakibiina kya NRM ebweru w'eggwanga yabakyazizza mu makaage e Ntebe gye yabagabulidde ekijjulo eky'okumalako omwaka ssaako n'okubayozaayoza emirimu gye bakoledde NRM mu mwaka oguwedde.

Oluvannyuma lw'ekijjulo Patrick yakulembeddemu banne ne bagenda okusisinkana omuyima wa NRM mu ggwanga El-Hajji Moses Kigongo ku Mosa Courts mu Kampala era nga munsisinkano eno baamwanjulidde ezimu ku nteekateeka zaabwe omuli okulonda abakulembeze baabwe n'okuwandiisa ba mmemba baabwe bonna babeere wamu.

 

Bweyabadde ayogerako gyebali Hajji Kigongo yategeezezza nti NRM kibiina ate ekikkiriza mu bumu era n'abakubiriza okugenda mumaaso ga bakolera wamu okusobola okutuukiriza ebigendererwa byabwe.

Mungeri yeemu yasanyukidde n'enkola eya tekinologiya ow'okukung'aanya ba mmemba bonna ssaako n'okubamanya (Data base) kino kijja kubayamba okumanya ssaako n'okusisinkananga okwogera ku miramwa gy'ekibiina.

Bwebaabadde bafundikira obugenyi bwabwe baalonze ttiimu y'abantu bataano ng'abakulembeddwamu Godius Yesigye okutambuza enkola ya Data Base okulaba nga temuyingiramu bantu bonna batali ba mmemba baabwe era ng'ono ajja kuyambibwako bannamateeka b'ekibiina ekigatta banna-NRM e bweru w'eggwanga.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mpolo9webusebig 220x290

Bakatikkiro b'ebika bafunye essuubi...

Ssaabawolereza wa Mmengo, Christopher Bwanika yasabye ebika okuwandiisa enkiiko z'abayima era balambike bulungi...

Renah1 220x290

Renah Nalumansi azaalidde maneja...

Omuyimbi Renah Nalumansi azaalidde Justin Bas omusika ne yeewaana "sikyali mu kiraasi ya ba laavu nigga"

Tegula 220x290

Mutabani, buno bwe butaka bwaffe...

MUTABANI wa Bobi Wine akuze. Era nga taata ow’obuvunaanyizibwa, Bobi Wine takyaleka mutabani we waka.

Fun 220x290

Nakakande yeeriisa nkuuli mu Miss...

NNALULUNGI wa Uganda, Oliver Nakakande (owookubiri ku ddyo) ayongedde okutangaaza emikisa gye okuvuganya mu mpaka...

Kubayo 220x290

Eddy Kenzo Guma newange bibuuza...

ABAYIMBI Jose Chameleone ne Eddy Kenzo baabaddeko mu kivvulu kya Wizkid e Lugogo. Baalabiddwaako nga beesika mu...