TOP
  • Home
  • Essomero
  • Abalenzi basinze abawala mu bya PLE ebigenda okufuluma

Abalenzi basinze abawala mu bya PLE ebigenda okufuluma

By Ahmed Mukiibi

Added 5th January 2017

ABAYIZI 640,860 abaatudde ebigezo bya PLE ne bazadde baabwe beesunga ebyava mu bigezo byabwe, ebisuubirwa okufulumizibwa obutasukka January 17, 2017.

Mbwe1 703x422

Abayizi abaatudde P7 omwaka oguwedde nga babakebera.

ABAYIZI 640,860 abaatudde ebigezo bya PLE ne bazadde baabwe beesunga ebyava mu bigezo byabwe, ebisuubirwa okufulumizibwa obutasukka January 17, 2017.

Bino by’ebigezo bya PLE, Minisita w’ebyenjigiriza, Janet Kataha Museveni n’akulira UNEB omupya Daniel Nokrach Odongo bye bagenda okusooka okufulumya bukya balondebwa mu bifo byabwe.

Janet Museveni yalondeddwa okudda mu bigere bya Maj. Jessica Rose Epel Alupo mu nkyukakyuka Pulezidenti Museveni ze yakoze mu Gavumenti mu June wa 2016 ate Odongo yasikidde Matthew Bukenya eyawummudde mu April wa 2016.

Omwogezi wa UNEB, Hamis Kaheru yategeezezza Bukedde eggulo nti ekiruubirirwa kyabwe, kwe kufulumya ebyava mu PLE nga wiiki eyookubiri eya January tennaggwaako.

Kaheru yawakanyizza ebigambibwa nti ebyava mu PLE bigenda kufulumizibwa ku Lwokubiri olujja nga January 10 n’ategeeza nti UNEB tennasalawo ku lunaku kubanga olunaku olw’okufulumya ebigezo lusalibwawo ng’abakulira UNEB basoose kusisinkana Minisita w’ebyenjigiriza.

Wabula ensonda mu UNEB zaategeezezza nti ebigezo bya PLE byakufulumizibwa obutasukka January 17 kisobozese amasomero aga siniya okusunsulamu abayizi abagenda mu SI basobole okutandikira wamu n’ab’ebibiina ebirala nga February 6, 2017.

Kaheru yategeezezza nti mu kiseera kino, abakugu ba UNEB bali mu kusengeka n’okuteekateeka ebyava mu bigezo mu kompyuta za UNEB okusinziira ng’abayizi bwe baayise ebigezo.

Abayizi 640,860 abeesunga ebyava mu bigezo byabwe, baatudde PLE nga November 2 ne 3, 2016 ng’ebigezo baabituulidde mu masomero 12,391 okwetooloola Uganda yonna. Bano basinze obungi ku abayizi 621,401 abaatuula PLE mu November 2015.

Abayizi 488,323 ku bayizi 640,860 abaatudde PLE b’amasomero aga UPE gavumenti b’esasulira fiizi ate abayizi 152,537 b’amasomero ag’obwannannyini.

Ku bayizi 640,860 abaatuula PLE, abasinga baabadde bawala nga baabadde 329,349 ate abasigadde 311,511 balenzi, wabula ensonda mu baagolodde ebigezo bya UNEB zaategeezezza nti abalenzi baasinze abawala okuyitira waggulu mu ddaala erisooka n’eryokubiri.

Ensonda mu UNEB zaategeezezza nti abayizi baasinze kuyita ssomo erya SST ne baddako Olungereza ne Ssaayansi. Okufaananako ng’emyaka egiyise, Okubala bangi tebaakuyise.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Pak2 220x290

Mike Mutebi ne Misagga bandibonerezebwa...

Mike Mutebi ne Misagga bandibonerezebwa

Web2 220x290

Ne mu kusoomoozebwa tewava ku Katonda...

Ne mu kusoomoozebwa tewava ku Katonda

Kap1 220x290

Wawanirira Klezia ya St. Agnes...

Wawanirira Klezia ya St. Agnes Makindye

Lap2 220x290

Otuzimbye mu mulimu gw'ebifaananyi...

Otuzimbye mu mulimu gw'ebifaananyi

Mpa2 220x290

Abavuganyizza mu z'okukyusa embeera...

Abavuganyizza mu z'okukyusa embeera beebugira buwanguzi