TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abasiraamu abagambibwa okusuulira ab'ebyokwerinda ebibaluwa e Masaka bakwatiddwa

Abasiraamu abagambibwa okusuulira ab'ebyokwerinda ebibaluwa e Masaka bakwatiddwa

By Musasi wa Bukedde

Added 5th January 2017

Abasiraamu abagambibwa okusuulira ab'ebyokwerinda ebibaluwa e Masaka bakwatiddwa

Li1 703x422

Abamu ku basiraamu abagambibwa okutiisatiisa ab'ebyokwerinda e Masaka nga bali ku poliiis

OLUVANNYUMA lw'Abasiraamu okusulira abakulira eby’okwerinda e masaka ekibaluwa ekibalaalika okubattemako emitwe kyaddaki abamu ku basiraamu abateberezebwa okuba nga bebamu ku baludde nga batiisatiisa ab’eby’okwerinda bakwatiddwa nebaggalira ku kitebe kya poliisi e masaka.

Okusinziira ku RDC Joy Walusimbi nga ono yomu ku bali ku lukalala lw’okuttibwa ategeezezza Bukedde nti oluvanyuma lw’okukwata abamu ku basiraamu abaludde nga babatiisatiisa okubatta bbo nga abakulira eby’okwerinda mu masaka bakizudde nga bwe wakyaliyo akabondo k'Abasiraamu abatiisatiisa okubatta era bakyagenda mu maaso n’okukwata buli musiraamu yena alina kyamanyi ku nsonga z’okutisatisa okumutta ne basajjabe bakola nabo omulimu gw’okukuuma bannamasaka n’ebintu byabwe.

Kubakwatiddwa kuliko Haj  Zedi Kanakulya Lubega  ,Sheik Hassan Lubega ne Musa K nga bano bona batuuze ku kyalo Bwala muggombolola ya katwe-Butego mu munisipali ye masaka era nga bona gy ebabakukunudde.

Walusimbi agambye nti bbo nga ab’eby’okwerinda sibakussa mukono okutuusa nga bamaze okufufugazza abo bonna aberimbika mu ddiini y’obusiraamu ne bakola ebikolobero omuli n’okutta bannaabwe.

Ono era annyonnyodde nga bano bwebagenda okutwalibwa mu kkooti bavunaanibwe era nga n'abalala bebasuubira okukwata mu bbanga eritali lyewala nabo baakukolwako nga amateeka bwegalagira.

Walusimbi era ayongedde n'atangaaza nga ezimu ku nsonga ezibaviirako okutiisibwatiisibwa zeekusa ku ttaka era nga bakizudde nga akabondo kabasiraamu abamu bwebagaala okweddizza ettaka lino kyokka nga liriko bannanyini lyo mu butongole era nga bakulondoola ensonga eno okutuusa nga bagigusiza.

Gyebuvuddeko abasiramu bawandiikira ofiisi ya RDC ekibaluwa nga bamulaalika nga bwagenda okuttibwa ne basajjabe singa tebesonyiwa nsonga z’abasiraamu e masaka.

Ekibaluwa kino kyali kiraga nga kkooti ya katonda bwekuli kuffa era nga n’okutta abantu abatali basiraamu bwekirina empeera eva eri katonda.

Abamu ku bantu abaatekebwa mu kibaluwa kino nga balina okuttibwa mwemwali RDC JoyWalusimbi,Omumyukawe Joseph Ssekasamba,DISO Amos Yiga,DPCwe masaka John Mwaule, bannamateeka ba Buregyeya & co-advocates n'abantu sikinnoomu omuli ne basiraamu bannaabwe.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Davidssekandingalagaengeriamatookegegyegayonooneddwaenkubawebuse 220x290

Ab'e Mukono beeraliikiridde enjala...

Abatuuze b'e Nassaka mu Mukono beeraliikiridde olw'enkuba eboonoonedde ebirime

Whatsappimage20191021at1439041 220x290

Zani Lady C awera kudda mu nsiike...

Zani Lady C omuyimbi ate nga muzannyi wa ffirimu akomyewo n'akayimba okuddamu okuvugannya mu nsiike y'okuyimba....

Kkobewebuse 220x290

Mwewale okufiira ku mirimu gy’okukozesebwa...

Abamalirizza emisomo bakubiriziddwa obuteesiba ku mirimu gya misaala emigereke bwe baba baagala okwewala ekkomera...

Joseph8webuse 220x290

Bwe mukoledde ebibuuzo mu kizimbe...

Fr. Joseph Ssebayigga asabidde abayizi ba St. Joseph Girls Primary School e Nsambya aba P7 ng'aggulawo ekizimbe...

Vipers 220x290

Vipers yeeweredde BUL

Mu nsisinkana etaano ezisembyeyo,Vipers ewanguddemu emipiira ena (4) so nga BUL gumu.