TOP
  • Home
  • Ageggwanga
  • Ebya Kanyamunyu okweyimirirwa bigudde butaka: Ababaka, Anywa ne Otto batiisizza okwabulira FDC lwa Byanyima kumweyimirira

Ebya Kanyamunyu okweyimirirwa bigudde butaka: Ababaka, Anywa ne Otto batiisizza okwabulira FDC lwa Byanyima kumweyimirira

By Alice Namutebi

Added 10th January 2017

Ababaka; Beatrice Anywa ne Odongo Otto batiisizza okuva mu FDC lwa Winnie Byanyima kwesowolayo okweyimirira Kanyamunyu

Saba0 703x422

Winnie Byanyima ng'ali mu kkooti okweyimirira Kanyamunyu. EBIFAANANYI BYONNA BYA JOSEPH MAKUMBI

AKAVUYO kabaluseewo ku kkooti enkulu ababaka ba Palamenti okuli Beatrice Anywa ne Odongo Otto nga bali n'abeηηanda z'omugenzi Kenneth Akena bwe bawakkanyizza ekya Winnie Byanyima okuvaayo okweyimirira Kanyamunyu gwe balumiriza okutta omuntu waabwe.

Byanyima, muka Dr. Kizza Besigye azze ku kkooti Enkulu okweyimirira omwana wa mwannyina, Andrew Kanyamunyu ali ku musango gw’okutta Akena era wano abeηηanda z’omugenzi we bamulumbidde (Byanyima) nga bamuwogganira nti teyandibadde ye kuvaayo kweyimirira Kanyamunyu nga Abacholi bangi basibiddwa n’okuttibwa nga balwanirira bba Besigye n'atavaayo!

Bano bakaabye amaziga nga bagamba nti Besigye yabasaba obutaddamu kwogera ku musango gwa Kanyamunyu ne bamugondera kyokka mukyala we Byanyima okuvaayo ne yeeyimirira omuntu eyatta Mucholi munnaabwe kabonero akalaga nti tebakyetaagibwa mu FDC.

Ababaka; Odonga Otto, Beatrice Anywar, Achiro Lucy, n'abalala babiri batiisizza okwabulira FDC nga bagamba nti ssi bamativu n'ekya Byanyima okweyimirira Kanyamunyu.

Omulamuzi agobye okusaba kwa Kanyamunyu okweyimirwa

Ye omulamuzi Eva Kabanda mu nsala ye agaanye okusaba kwa ba Kanyamunyu okweyimirirwa era n’abalagira baddeyo e Luzira baddemu okweyanjula mu kkooti y’e Nakawa ng’omusango bwe gubadde gutambula.

Kanyamunyu agambibwa okuba Akena amasasi e Lugogo ng'amubonereza olw’okukolobola emmotoka ye.

Ono avunaanibwa ne mukazi we Cynthia Munwangari.

 

 

 

 

 

 

 

 


More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sit114 220x290

Gavumenti etandikidde Bwaise okugaba...

Gavumenti etandikidde Bwaise okugaba emmere

Fud1 220x290

Omugagga Ham awaddeyo obukadde...

Omugagga Ham awaddeyo obukadde 100 okudduukirira abali obubi olw'embeera ya Corona Virus

Denisonyango1703422 220x290

Coronavirus atta - Onyango

KAPITEENI wa Cranes, Denis Onyango, akubirizza Bannayuganda okwongera okwegendereza ssennyiga omukambwe 'COVID-19',...

Nakanwagigwebaalumyekoomumwa1 220x290

Emmere etabudde omukozi wa KCCA...

OMUKOZI wa KCCA alumyeko muliraanwa we omumwa ng’amulanga okutuma omwana okubba emmere ye, naye abatuuze bamukkakkanyeko...

Hell 220x290

Gav't etaddewo kampeyini ya ‘TONSEMBERERA’...

Gavumenti etaddewo kampeyini etuumiddwa “TONSEMBERERA” mw’eneeyita okutangira okusaasaana kwa ssennyiga wa coronavirus....