TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Bannamwandu b'omuyimbi Denis Rackla abalala bazuuse

Bannamwandu b'omuyimbi Denis Rackla abalala bazuuse

By peter ssaava

Added 16th January 2017

BANNAMWANDU abalala ab’omuyimbi Denis Rackla Mpiima, eyayimba “Tugenda kusula mu ngatto” eyafiiridde mu kabenje ku Lwokutaano baazuuse mu kuziika okwaabadde e Namulonge mu disitulikiti ye Wakiso.

Kuziika4 703x422

BANNAMWANDU abalala ab’omuyimbi Denis Rackla Mpiima, eyayimba “Tugenda kusula mu ngatto” eyafiiridde mu kabenje ku Lwokutaano baazuuse mu kuziika okwaabadde e Namulonge mu disitulikiti ye Wakiso.

Bano baamazeeko okuziika nga bebuzabuza nga kwe batadde n’okuyita abaana babwe abaabadde batudde wansi w’omulambo mu bubba.

Mu kuziika e Namulonge ku Ssande, kitaawe w’omugenzi (Dick Kitamirike) yalaze Bukedde abaana omugenzi b'alese wabula nga bano baabadde balina abakyala be batudde nabo era wano Kitamirike yasabye Bukedde essira okulissa ku baana bokka abalala babeesonyiwe.

Mu kwogera ne bamulekwa, omu ku bo (Swityn Mpiima) yayise omukazi gwe yabadde naye nti “Maama ennyonta ennuma” era wano kwe kukutama wansi ne yeebikka akatambala mu maaso n'ataddamu kwogera kigambo kyonna.

 annamwandu ba achla abazuuse Bannamwandu ba Rackla abazuuse

Wano ne munne gwe yabadde naye bwe yalabye ono yeebisse naye n'asituka n'avaawo nga naye atidde kkamera mutusubwa.

Omusasi waffe kwe yalabye guli gutyo kwe kubuuza omu ku mikwano gy’omugenzi (amannya gasirikiddwa) oba abakyala bano abaabadde beebuzaabuza nga batya ne kamera balina oluganda ku mugenzi, n'amutegeeza nti bano be bamaama b’abaana omugenzi be yalese.

Bwe yabuuziddwa oba Nnamwandu Mutoni taleseewo mwana yategeezezza nti omwana gw’abadde naye mu maka yafumbilwa naye ewa Mpiima era tamulinamu wadde n’omwana.

Bannamwandu bano abataategeerekese mannya okuziika baakumazeeko nga batuula obufoofofo era nga buli we balaga batambula babiri ssaako okwekweka kamera za Bukedde.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Nsamba22pulaaniusewebuse 220x290

Mukuume obumu musobole okwekulaakulanya...

Ab'ekika ky'Engabi beetaaga obukadde 13o okuzimba ekiggwa kyabwe

Omwala2webuse 220x290

Ab'e Kansanga beeraliikirivu olw'omwala...

Abatuuze e Kansanga mu Makindye beeraliikirivu olw'omwala ogwasalamu ekkubo gwe bagamba nti gwandigwaamu abaana...

Babaka1 220x290

Sipiika tuyambe naffe baagala kututta...

ABABAKA ba Palamenti musanvu baddukidde ewa Sipiika nga balaajana nti waliwo ababalondoola abaagala okubatta nga...

Kasasiro11webuse 220x290

Ab’obuyinza batadde amateeka amakakali...

Kasasiro mu kibuga Mukono yeeraliikirizza abakulembeze n'abatuuze ne basaba Gavumenti ebayambe

Besigye1 220x290

Poliisi e Jinja ezzeemu okulemesa...

POLIISI e Jinja ezzeemu okukwata eyaliko pulezidenti w’ekibiina kya FD, Dr. Kizza Besigye n’emuggalira ku poliisi...