TOP
  • Home
  • Ageggwanga
  • Eyatoloka ku kabangali ya Poliisi bazzeemu okumukwatira mu bubbi ne yeewaana

Eyatoloka ku kabangali ya Poliisi bazzeemu okumukwatira mu bubbi ne yeewaana

By Joseph Makumbi

Added 17th January 2017

OMUSAJJA eyatoloka ku kabangali ya poliisi nga bamutwala ku poliisi ya CPS mu Kampala okumuggalira poliisi ezzeemu n’emukwata ng’abba eggaali ku dduuka.

Kyana 703x422

Kyana kya Ttimba ng'ali ku Poliisi. ekif: Joseph Makumbi

OMUSAJJA eyatoloka ku kabangali ya poliisi nga bamutwala ku poliisi ya CPS mu Kampala okumuggalira poliisi ezzeemu n’emukwata ng’abba eggaali ku dduuka.

Omusajja ono eyeeyita Kyana kya Ttimba, amanyiddwa mu Kampala olw’okutigomya abasuubuzi, abayise n’abantu abalala abagwa mu ngalo ze, yakwatiddwa poliisi ya Kikuubo ng’aliko akagaali ke yabadde abba ku dduuka mu kibuga wakati.

Kyokka ono bakira yeewana nti ku CPS baamuta era ne bwe banaamutwalayo ku mulundi guno, n’era ajja kuvaayo addemu alye butaala.

Kyana Kya Ttimba y’omu ku babbi poliisi b’erudde ng’enoonya naddala ku misango gy’okubba abantu mu Kampala era akwatiddwa enfunda nnyingi n’asindikibwa e Luzira wabula kkooti n’emuyimbula ku kakalu kaayo.

Ono, akuumirwa ku poliisi ya Kikuubo kyokka omuduumizi wa poliisi ya CPS, Joseph Bakareke yamutumizza ne fayiro ye annyonnyole engeri gye yatolokamu ku kabangali.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Annotation20190718192802 220x290

Okwogera kwa Pulezidenti Museveni...

Okwogera kwa Pulezidenti Musevebni eri eggwanga. Tuli mu maka g'Obwapulezidenti e Nakasero

Massagebeingdonewebuse 220x290

By'olina okutunuulira nga tonnakola...

Nakola masaagi ne ntemwako okugulu era ntambulira mu kagaali - Dr. Karuhanga

Omukubayizingalikobyanyonyolawebuse 220x290

Abawala abazaddeko mubazze mu masomero...

Abawala abazaddeko okudda mu masomero kyakuyigiriza abalala obutakola nsobi n'okubudaabuda abafunye obuzibu bwe...

Teekawo1 220x290

Akakiiko ka bannamateeka kasazizzaamu...

OLUKIIKO olufuzi olwa bannamateeka ba Uganda Law Society olukwasisa empisa lusazizzaamu ekibonerezo ky'emyaka ebiri...

Club 220x290

Vipers bagitutte mu kkooti lwa...

KIRAABU ya Vipers bagitutte mu kkooti lwa kukozesa akabonero kaayo (logo) nga tebasasudde yakakola. Era eyabawawaabidde...