TOP
  • Home
  • Ageggwanga
  • King Saha asimattuse okuyoolebwa mu kikwekweto kya Poliisi e Katwe

King Saha asimattuse okuyoolebwa mu kikwekweto kya Poliisi e Katwe

By Ponsiano Nsimbi

Added 19th January 2017

OMUYIMBI King Saha ng’ono amannya ge amatuufu ye Mansoor Ssemanda yasimattuse okuyoolebwa mu kikwekweto poliisi y'e Katwe mwe yakwatidde abavubuka abateeberezebwa okubeera abamenyi b'amateeka mu bitundu by'e Makindye.

Wattu 703x422

King Saha ng'agezaako okulemesa abaserikale. Ku ddyo, Okuru (wakati) nga bamutwala oluvannyuma lw'okumukukunula mu manda.

OMUYIMBI King Saha ng’ono amannya ge amatuufu ye Mansoor Ssemanda yasimattuse okuyoolebwa mu kikwekweto poliisi y'e Katwe mwe yakwatidde abavubuka abateeberezebwa okubeera abamenyi b'amateeka mu bitundu by'e Makindye.

Ekikwekweto kino kyatandise ku ssaawa 5:00 ez’oku makya kyabadde kiduumirwa akulira ebikwekweto ku poliisi y'e Katwe, Muhammed Ssemambo ng'ayambibwako abayamba ku poliisi okulwanyisa obumenyi bw'amateeka 'Crime Preventors'.

Kyayindidde mu Zooni ez'enjawulo okuli Mubarrack, Madirisa, Kkanisa, Mayanja, Salaama n'ebitundu ebirala era nga we kiggweeredde ng’abantu abawerako bakwatiddwa.

Muno mwe mwabadde ne mukwano gw’omuyimbi King Saha Godfrey Okuru ng’ono yakukunuddwa mu kibanda ky'amanda mu Kkanisa Zooni.

Wabula Saha eyabadde asimbye mmotoka ye okumpi n'ekibanda kino ng'awummuddemu ne mikwano gye, olwalabye poliisi ng'ezinzeeko Okuru kwe kugezaako okugiggulako olutalo okutaasa Okuru embeera n'etabuka.

Kino kyawalirizza eyabadde akuliddemu ekikwekweto kino Ssemmambo okumukambuwalira n'amulagira okudda mu mmotoka ye aleke poliisi ekole emirimu gyayo.

Bwe yakitegedde nti, ebintu biyinza okumutabukira emikono ne gidda gye gitawemera ntungo, n'atolotoma bo abaserikale ne beeyongerayo ku poliisi y'e Makindye n'abavubuka abaabadde bakwatiddwa ne babaggalira.

Okurut yeewoozezzako nga bw'ali omuyimbi ateenyigirangako mu bumenyi bw'amateeka kyokka poliisi teyamuwulirizza n'emuggalira.

Abalala abaakwatiddwa mu kikwekweto kino kwabaddeko Jr. Amanya, Brian Jjemba, James Ssekamwa n'abalala.

Wabula mu kiro ekyakeesezza Olwokusatu poliisi yakoze ekikwekweto okuliraana Calender Guest House n'eyoola abavubuka abasoba mu 60 oluvannyum a lw’okunyakula essimu y’omu ku bakulu ku poliisi y'e Katwe mu bitundu by'e Makindye bwe yabadde mu kifo ekimu ekisanyukirwamu.

Akulira poliisi y'e Katwe, Philemon Ameru yakakasizza okukwatibwa kw'abantu bano n'ategeeza nga bwe bagenda okusunsulamu abamenyi b'amateeka batwalibwe mu kkooti bavunaanibwe kyokka eby'okubba ssimu ya mukama we yagaanyi okubyogerako.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kit1 220x290

Batutte omulambo ku disitulikiti...

Batutte omulambo ku disitulikiti lwa kubamma bbaluwa

Kit1 220x290

Omuzungu eyasobya ku atanneetuuka...

Omuzungu eyasobya ku atanneetuuka akwasizza abazadde

Tr1 220x290

Poliisi ekunyizza abaatomedde owattulafiki...

Poliisi ekunyizza abaatomedde owattulafiki

Lip1 220x290

Beekalakaasizza ku bya poliisi...

Beekalakaasizza ku bya poliisi okutta Omuddugavu

Kat1 220x290

Embeera ya Kasirye Ggwange eyongedde...

Embeera ya Kasirye Ggwange eyongedde okubijja