TOP
  • Home
  • Ageggwanga
  • 'Bwe muba mwagala okweddiza obuyinza mweggyeeko Besigye'

'Bwe muba mwagala okweddiza obuyinza mweggyeeko Besigye'

By Muwanga Kakooza

Added 26th January 2017

OMUBAKA wa Uganda e China, Henry Mayega awadde ab’oludda oluvuganya amagezi beegobeko Col. Kiiza Besigye bwe baba baagala okuvuganya obulungi okutwala obuyinza.

Mayega1 703x422

Mayega ng'ali mu ofiisi za Bukedde

OMUBAKA wa Uganda e China, Henry Mayega awadde ab’oludda oluvuganya amagezi beegobeko Col. Kiiza Besigye bwe baba baagala okuvuganya obulungi okutwala obuyinza.

Mayega eyali ekikonge kya UPC nga tannasala ddiiro kudda mu NRM  yagambye nti ne we yabeerera ku ludda oluvuganya yali takkaanya na nkola ya Besigye eyokuleeta obwegungo mu Kampala kuba abantu baakoowa entalo ng’eno y’emu ku nsonga lwaki tasobola kufuna buwanguzi.

Mayega yabadde ayogera n’omusasi waffe mu Kampala n’agamba nti eby’obufuzi bya Besigye eby’okukola obuvuyo tebirina gye bitwala ggwanga mu maaso era y’emu ku nsonga lwaki tafuna buwagizi bumala kutwala buyinza. N’awa ab’oludda oluvuganya amagezi okweggyako Besigye.

Yagambye nti olw’obunafu buno Besigye tafuna buwagizi mu byalo n’adda mu kwekwasa bululu babubbye.

Yannyonnyodde nti n'ebyalo ab’oludda oluvuganya tebatuukayo nga banoonya akalulu babeera mu bibuga olwo obululu obungi ne babuleka eyo.

Yannyonnyodde nti Besigye bannabyabufuzi b’oludda oluvuganya gavumenti abagezaako okuvaayo abassa mu nkwawa ze n’agamba nti kijja kuba kizibu ab’oludda oluvuganya okufuna omuntu ow’amaanyi.

Ku kyamuggya mu UPC , Mayega yagambye nti  yalaba ekibiina tekikyalina lugendo n’asalawo okusala eddiiro.

Yagambye nti ekyamusaza eddiiro ssi bya nfuna kuba ne we yabeerera mu ludda oluvuganya yalina byalina ng’amataka n’amayumba agaweza.

Yagambye UPC yagiyingira mu myaka gy’ekinaana ng’asoma n’aguvaamu mu 2010.

Yakubirizza gavumenti okukopa tekinologiya w’e China agiyambe mu kwongera ku bungi bw’emmere n’okulwanyisa enjala.                   

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kib11 220x290

Ba Kansala ku district e Kiboga...

Ba Kansala ku district e Kiboga bakubye ebituli mu budget ya District

Capture 220x290

Emitimbagano gya Vision Group gyakuvaako...

Emitimbagano gya Vision Group okuli ogwa bukedde.co.ug ne newvision.co.ug gyakuggalawo ku wiikendi eno okutandika...

Br3 220x290

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya...

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya abaali abakozi be zisajjuse

Kit1 220x290

Engeri akasaawe k'e Mulago gye...

Engeri akasaawe k'e Mulago gye kaalera Jimmy Kirunda

Jit1 220x290

Afiiridde mu kibanda kya firimu...

Afiiridde mu kibanda kya firimu e Mukono