TOP

Museveni awadde Kyabazinga wa Busoga obwa Ambasada

By Musasi wa Bukedde

Added 28th January 2017

PULEZIDENTI Museveni alonze ababaka abakiikirira eggwanga mu mawanga amalala (Ambassadors) n’okusuula abamu ababadde mu bifo bino.

Saba1 703x422

Museveni ku mukolo gw’okutuuza Kyabazinga Gabula

PULEZIDENTI Museveni alonze ababaka abakiikirira eggwanga mu mawanga amalala (Ambassadors) n’okusuula abamu ababadde mu bifo bino.

Mu lukalala olufulumiziddwa, Museveni alonze ne Kyabazinga wa Busoga, William Gabula nga Ambassada ow’enjawulo mu ofiisi ye.

Mu baalondeddwa mulimu abadde akulira ekitongole ekikessi munda mu ggwanga ISO eyakasuulibwa, Brig Ronnie Barya n’asindikibwa e Juba mu South Sudan.

Abatunuulizi abamu kino bakirabye ng’ekyongera okunafuya Barya kyokka abalala ne bagamba nti South Sudan y’emu ku nsi ez’enkizo eri Uganda naddala mu byokwerinda n’okusuubulagana n’olwekyo, Museveni abadde yeetaaga omuntu omukugu mu bwa mbega okubeerayo okumanya ebigenda mu maaso mu South Sudan noolwekyo nga Barya ekifo kibadde kimusaanira ddala olw’obukugu bwe.

Mu balala Pulezidenti b’akyusizza mulimu James Kinobe gw’aggye e Kinsasha mu DRC n’amuzza e Khartoum mu Sudan, ate e Kinsasha n’asindikayo James Mbahimba.

E New York bataddeyo Adonia Ayebare, Dr. Chrispus Kiyonga eyagwa mu kalulu akawedde nga yaliko minisita w’ebyokwerinda asindikiddwa Beijing mu China ebadde Henry Mayiga eyali owa UPC abadde yaakalondebwa.

Mu Washington DC ewa Trump mu USA asindiseeyo Katende Mull Sebujja, Kibedi Zaake Wannume n’amutwala e Denmark mu Copenhagen, Stephen Mubiru agenze Ankara mu Turkey, Nelson Ocheger eyaleeta ekibiina mu biseera by’akalulu k’ekikungo ng’ebibiina ebirala bikazize agenze Abuja mu Nigeria.

Dorothy Samali Hyuha amusindise Malayisia mu Kuala Lumpur, Olivier Woneka ali Kigali e Rwanda, Brig. Matayo Kyaligonza agenze Bujumbura mu Burundi, Sam Male amutadde Cairo mu Misiri ebadde Moses Kalule Kasujja, Richard Nduhura eyali minisita agenze Paris mu Bufalansa olwo Alintuma Nsambu n’agenda mu Algiers ekya Algeria.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Laga 220x290

Aba NRM ababeera mu mawanga g'ebweru...

SSABAWANDIISI wa NRM Kasule Lumumba asabye Bannayuganda abali mu mawanga g’ebweru okukomya okusiiga ensi yabwe...

Pata 220x290

Babakutte balimira mu kibira ky’e...

OMULAMUZI akulira kkooti ento e Masaka, Deogratious Ssejjemba yeesitudde n’agenda e Kasanje mu ggombolola y’e Kyesiiga...

Mate 220x290

Babakutte balimira mu kibira ky’e...

POLIISI y’e Mpigi ngeri wamu n’abakulira ekitongole ky’eby’ebibira mu ggwanga ekya National Forest Authority (NFA)...

Gano 220x290

Omugagga asenze ebintu bya Klezia...

KLEZIA n’abatuuze abalina ebibanja ku kyalo Nkakwa mu ggombolola y’e Ssi - Bukunja mu disitulikiti y’e Buikwe,...

Wanga 220x290

Obwaddereeva buliko emyaka gy’otolina...

OLUVANNYUMA lw’Omulangira Phillip bba wa Kwiini wa Bungereza, Elizabeth okufuna akabenje ng’avuga mmotoka ku myaka...