TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Kanyamunyu ne banne basindikiddwa mu kkooti Enkulu

Kanyamunyu ne banne basindikiddwa mu kkooti Enkulu

By Joseph Makumbi

Added 31st January 2017

OMULAMUZI wa kkooti ento e Nakawa, Noah Ssajjabbi asindise Matthew Kanyamunyu, Cynthia Munwangari ne Joseph Kanyamunyu abagambibwa okutta Kenneth Watmon Akena mu kkooti Enkulu omusango gwabwe gutandike okuwulirwa.

Unity 703x422

Abawawaabirwa okuva ku ddyo; Joseph Kanyamunyu, Matthew Kanyamunyu ne Cynthia Munwagari. EKIF: JOSEPH MAKUMBI

Ssajjabbi okusindika Kanyamunyu ne banne mu kkooti Enkulu kiddiridde omuwaabi wa Gavumenti mu musango guno, Rachael Nabwiire okutegeeza kkooti nti okunoonyereza ku musango guno kwawedde era Ssaabawaabi wa Gavumenti, Mike Chibita yalagidde abawawaabirwa okusindikibwa mu kkooti Enkulu.

Okwogera bino nga n’empapula ezibasindika mu kkooti zimuli mu ngalo era olwamaze okutegeeza omulamuzi n’amuweereza empapula naye n’aziwereza abasibe buli omu n’afunako kkopi bw'atyo omulamuzi n’abategeeza nti kkooti ye bakimanyi bulungi nti terina buyinza bwonna kuwulira musango gwabwe.

Omulamuzi yazzeemu okubasomera omusango n’ategeeza nti, nga November 12, okuliraana ekibanda kya Malik ekitunda mmotoka mu maaso g’omulyango oguyingira mu kibangirizi kya bannamakolero e Lugogo, batta Kenneth Akena eyali omukozi w’ekitongole ky’obwannakyewa eyali ezze mu Kampala okukyala.

Ye Joseph Kanyamunyu omulamuzi yamugguddeko omusango omulala ogw’okugenda mu mmotoka ya muto we, Matthew Kanyamunyu n’aggyamu emmundu eyakozesebwa mu kutemula n’ekigendererwa eky’okugibuzaawo basobole okubuzaabuza obujulizi.

Oluvannyuma ababuuzizza oba emisango egibavunaanibwa bagitegedde nabo ne bamuddamu nti bagitegedde era ne munnamateeka waabwe, Ivan Kyateka n'ategeeza omulamuzi nti talina kwemulugunya kwonna.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kab18 220x290

Kabaka ayimirizza abakozi b’e Mmengo...

Kabaka ayimirizza abakozi b’e Mmengo

Sam13 220x290

Minisita Sam Kuteesa awadde ab'e...

Minisita Sam Kuteesa awadde ab'e Mawogola Ambulance n'ebimotoka by'amazzi mu kaweefube w'okutangira COVID-19

Rob12 220x290

Abavubi ku mwalo gw'e Kawunge bataddewo...

Abavubi ku mwalo gw'e Kawunge bataddewo embeera y'okulwanyisa COVID-19

Dav1 220x290

Mukyala w'omuyimbi Davido akwatiddwa...

Mukyala w'omuyimbi Davido akwatiddwa ekirwadde kya Coronavirus

Thequeeneliabethiienglandcrowntodaynewslatestroyalfamily1180775 220x290

Kkwiini akkakkanyizza emitima gy'abantu...

Kkwiini akkakkanyizza emitima gy'abantu