TOP

Minisita asabye Bannayuganda ku by'obulambuzi

By FORTUNATE NAGAWA

Added 4th February 2017

Minisita w'eggwanga ow'Ebyobulambuzi, Kiwanda Godfrey Suubi akulembeddemu kaweefube okumanyisa Bannayuganda n'abantu mu nsi endala nga Uganda bw'eri Ekkula lya Afrika.

Mburo6 703x422

Minisita Kiwanda: EBIF: FORTUNATE NAGAWA

Minisita w'eggwanga ow'Ebyobulambuzi, Kiwanda Godfrey Suubi asabye Bannayuganda okwettanira ebyobulambuzi by'eggwanga.

Bino abyogeredde mu kaweefube gw'akulembeddemu okumanyisa n'okwagazisa Bannayuganda n'abantu mu nsi endala nga Uganda bw'eri Ekkula lya Afrika.

Kaweefube ono atuumiddwa 'Tulambule Wild Campaign' bamutandikidde mu kulambula makuumiro ga bisolo n'ebifo by'obulambuzi ebifuula Uganda ekkukla lya Afrika omuli; Murchison Falls, Lake Mburo, Queen Elizabeth, Kibale,Mgahinga Gorilla National park, Bwindi impenetrable, Mount Elgon, Pain Ube Wildlife reserve, ne Kidepo.

Kampeyini eno yaakumala omwezi gumu n'ennaku 15 nga balambula ebifo ebyenjawulo okwetooloola Uganda. Yatandika January nga 11 okutuuka nga 26 Febuary.

Mu bifaananyi, Kiwanda ng'ali wamu n'abakungu ba Uganda World Life Authority (UWA) baalambudde ekkuumiro ly'ebisolo erya Lake Mburo National Park, erisangimbwa mu disitulikiti y'e Kiruhura.

 

 

 

 

 

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kab2 220x290

Nnamwandu w'abaana ababiri ali...

Nnamwandu w'abaana ababiri ali mu kattu e Lwengo

Lab2 220x290

Abadde mu ADF aloj ja obukambwe...

Abadde mu ADF aloj ja obukambwe obuliyo

Hot2 220x290

Aba LDU balaze okusoomoozebwa kwe...

Aba LDU balaze okusoomoozebwa kwe bafuna

Buk2 220x290

Ab’e Lugazi bajaganya lwa buwumbi...

Ab’e Lugazi bajaganya lwa buwumbi 40 ez’okwekulaakulanya

Jip2 220x290

Embeera y’enguudo e Mukono yeeraliikiriza...

Embeera y’enguudo e Mukono yeeraliikiriza