TOP

Chalemeon alwanaganye ne maneja we lwa ssente

By Josephat Sseguya

Added 8th February 2017

JOSE Chameleone azzeemu okutabuka ne maneja we n'amukuba ng'amulanga kubulankanya ssente ze baamusasudde okuyimba mu kivvulu.

Howwe51494b66b20eaec11fe501f5bdf797f41468939313 703x422

Jose Chameleon ne maneja we Nkuke

JOSE Chameleone azzeemu okutabuka ne maneja we n'amukuba ng'amulanga kubulankanya ssente ze baamusasudde okuyimba mu kivvulu.

Ekiddiridde kwe kumugoba mu mmotoka n'amuleka mu kibira e Masindi ng'amuwadde 100,000/- n'amugamba asale amagezi agamutuusa e Kampala.

Robert Jackson Nkuke eyeeyita 'Mutima' yakiguddeko bwe yafunye obutakkaanya ne Chameleone ng’entabwe eva ku ssente ze baamusasudde omuntu we ayimbe mu kivvulu. Bino byabaddewo ku Lwokusatu lwa wiiki ewedde nga February 1.

Kigambibwa nti, Nkuke yatwalidde Chameleone ddiiru okuyimba e Igayaza mu kabuga k'e Kagadi mu disitulikiti y'e Masindi era ne bamusasulako ekitundu kye yawadde Chameleone bbalansi nga wa kumufuna ku lunaku lwe yayimbye.

Olunaku lw’ekivvulu bwe lwatuuse beesitudde bombi okuva e Kampala ne boolekera e Kagadi era Chameleone n'akuba emiziki abantu ne basiima n'asigala kulinda bbalansi we.

Ekivvulu bwe kyawedde, nnannyini kukitegeka n'atuukirira Chameleone okumwebaza okukola obulungi omulimi n'amutegeeza nti, akoze n'amagoba bw'ogeraageranya ne ssente ze yakitaddemu.

Wano Chameleone we yategeeredde nti, maneja we Nkuke yabadde amwawudde ssente nnyingi okusinziira ku bbalansi eyabadde asigaddeyo era n'ava mu mbeera kyokka ng'ate atya okulaga omugagga (nnannyini) kivvulu nti waliwo obuzibu.

Omu ku bayimbira mu kibiina kya Chameleone ekya Leone Island ataayagadde kumwatuukiriza mannya, yategeezezza nti Chameleone yagenze okubatuuka mu mmotoka mwe baabadde bamulindidde ng'asuukiira.

Amangu ago yasikambudde maneja Nkuke amubuulire omuwendo gwa ssente ze yalamudde ekivvulu, ze baamuwadde ne bbalansi omutuufu awatali kutamattama.

Nkuke yasoose n'abiyita eby'okusaaga naye nga Chameleone tasalikako musale era amngu ago n'amuyisaamu empi nga bw'amuwalaawala okumutwala ku poliisi aleete ssente.

Eno Nkuke gye yagondedde n'akwata 2,500,000/- ze yabadde asirikidde n'aziwa Chameleone ne bavaayo era kuno Chameleone yatoddeko 100,000/- n'azimukuba n'amugamba afulume mmotoka ye anoonye bw'akomawo e Kampala era nga yamulese mu kibira ky'e Kagadi.

CHAMELEONE AKAKASIZZA BAAWUKANYE

Yeeganyi eby’okukuba Nkuke kyokka n'ategeeze nga bwe yamugobye mu mmotoka ne ne ku bwamaneja kubanga alemeddwa okukola emirimu gye obulungi enfunda eziwera.

“Obuzibu obw'abaddewo yalemedde ssente zange ate nga nze mmaze okuyimba ekyampalirizza okubiyingizaamu poliisi eyamuggyeeko 2,500,000/- ate ekirungi kino ky'ekivvulu kye twabadde tukkiriziganyizzaako nti kye kisembayo nga maneja wange olw’enkola y’emirimu gye embi.

Yagambye nti, olw'okuba yabadde amaze okufuna ssente ze ate ng'akyeyongerayo mu kivvulu ekirala e Mubende, yawadde Nkuke 100,000/- zimuyambe okudda e Kampala.

CHAMELEONE ALAZE OBUNAFU BWA NKUKE

Okukakasa nti Nkuke akooye, Chameleone yawadde ebyokulabirako bwe yagambye nti mu December 2014, ng'ategese ekivvulu kye ekya 'One Million', aba kkampuni ya Club baawa Nkuke obukadde 20 n'amuwa mu bitundutundu ekyamulemesa okutegeka obulungi ekivvulu kino.

Mu January 1, 2015 abasajja baava e Kenya ne basasula doola 25,000 nga za Chameleone yekka n'endala doola 10,000 nga za bandi kyokka Nkuke yamuwaako zize zokka ate eza bandi n'azeezibika era bwe baatuuka e Kenya abategesi ne bamutabukira kubanga bandi yali tagenze nayo.

Nga December 31, 2015 mu kivvulu ky’Enkuuka, Chameleone alumiriza Abtex ne Nkuke okwekobaana ne bamulyako ssente z’ekivvulu kino era n’okutuusa kati akyabanja.

NKUKE AGAMBA BAKYAKOLAGANA

Nkuke agamba nti talina buzibu na Chameleone akyali maneja we lwa kuba nti alina abantu abamulwanyisa.

“Ebyo ebyogerwa sibimanyi ky’olina okumanya nze ne Chameleone tukyali bumu lwa kuba waliwo abatanjagaliza naye kyonna kye kiri kigenda kuggwa."

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mathiaskatamba 220x290

Katamba alondeddwa ku bwassentebe...

Katamba alondeddwa ku bwassentebe bwa Uganda Bankers Association

Multi10 220x290

Aba Multiplex bazzeemu okukola...

Aba Multiplex bazzeemu okukola lisiiti ne zinyooka

Ken1 220x290

Sipiika alagidde ministry ya Foreign...

Sipiika alagidde ministry ya Foreign affairs okuyamba Kenzo akomewo eka

Jud1 220x290

Jude Color Solution ekakasiddwa...

Jude Color Solution ekakasiddwa okufulumya masks

Images 220x290

Biibino ebibuuzo ebikyebuuzibwa...

Abantu abakwatibwa bajjanjabibwa kumala bbanga ki okuwona? Kisinziira engeri obulwadde buno gye bubeera bukukosezzaamu....