TOP
  • Home
  • Ag’eggwanga
  • Kato Lubwama akuba bulatti: Kkooti eyimirizza okuwulira omusango gw'obuyigirize bwe

Kato Lubwama akuba bulatti: Kkooti eyimirizza okuwulira omusango gw'obuyigirize bwe

By Alice Namutebi

Added 8th February 2017

OMUBAKA wa Lubaga South, Kato Lubwama akuba bulatti. Kkooti ejulirwamu eyimirizza okuwulira omusango gwonna ogukwata ku buyigirize bwe.

Katocase11703422 703x422

Kato Lubwama ng'ajaganya gye buvuddeko

Omulamuzi wa kkooti eno, Cheborion Barishaki era ayimirizza n'ekiragiro ekyaweebwa Kato okuliyirira omulonzi we, Habib Buwembo awakanya obuyigirize bwe.

Ekiragiro kino kitegeeza nti wadde Buwembo yali yaggulawo dda omusango ogukuba ebituli mu buyigirize bwe era ng’omulamuzi Margaret Oguli abadde mwetegefu okuguwulira nga March 3, omusango tegukyawuliddwa era tewali kiragiro kigaana Kato kuba mu palamenti.

Ekiragiro kino ekyannyogozza Buwembo kigenda kukola okutuusa nga kkooti ejulirwamu etudde ye yekkaanya oba omulamuzi Oguli yali mutuufu okukkiriza Buwembo okuggula omusango ku Kato ng’ennaku 90 mwe yalina okukikolera zaggwaako dda.

Ssinga kizuulwa nti omulamuzi Oguli yakola nsobi, kiba kitegeeza nti tewali muntu yenna yeemulugunya ku buyigirize bwa Kato ate ssinga bakkiriziganya naye nti yali mutuufu, kiba kiwa omwagaanya Kkooti Enkulu etandike okwekebejja obuyigirize bwe.

Kato eyakiikiriddwa balooya basatu abaakulembeddwa Caleb Alaka ne Luyimbazi Nalukoola, okumegga Buwembo yawadde omulamuzi Cheborion ensonga nnya ze yakkiriziganyizza nazo.

Yagambye nti mu mateeka, omulonzi okutwala okusaba mu kkooti asobole okukkirizibwa okuvunaana omubaka ateekwa okuba n'emikono gy'abalonzi 500 naye gino Buwembo teyagirina kyokka omulamuzi Oguli n’atafaayo kwetegereza nsonga eno n’agenda mu maaso n'okuwulira n'okukkiriza okusaba kwe.

Alaka yalaze omulamuzi Cheborion ensala z'abalamuzi basatu aba kkooti enkulu ez’enjawulo nga bonna bakontana ku nsonga y'okukkiriza omuntu okuvunaana omubaka ng’ennaku 90 mwe yalina okukikolera ziweddeko.

Yagambye nti kkooti ejulirwamu erina okuyamba abalamuzi ba kkooti enkulu okubalaga engeri omusango bwe guti gye gulina okukwatibwamu ng’etandikira ku gwa Kato Lubwama nga kino erina kukikola ng’ewulira okujulira kwe n'okuyimiriza ebiragiro by'omulamuzi Oguli.

Buwembo ayagala Kato agobwe mu Palamenti ng’agamba nti talina buyigirize bumusobozesa kubeera mubaka.

Agamba nti talina bbaluwa ya S6 ate nga ne dipulooma mu byakatemba gye yafuna e Makerere yamuweebwa mu bukyamu.

Kyokka ye Kato agamba nti yasoma n’ayita ebibuuzo byonna ebyali byetaagisa n’aweebwa ekifo e Makerere okusoma ebyakatemba nga ne bwe yatwala empapula ze mu kakiiko k'ebyokulonda okusunsulwa baazikebera nga ntuufu era ne bamukkiriza okwesimbawo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Drssempangieyasingaanidwamumakagenanyonyolawebuse 220x290

Abaana Abakaramoja basomesebwe...

Ssempangi awabudde gavumenti ku baana b’e Karamoja abasibira ku nguudo n’ategeeza nga bwe batundibwa abazadde okujja...

Chozenbeckyclearwebuse 220x290

Abayimbi beesunga kusanyusa badigize...

Abayimbi ab'amannya bali mu kuwawula maloboozi olw'okwesunga okuyimba mu Kyepukulu ekiwagiddwa Vision Group ne...

Lukiikombalirira7 220x290

Buganda eyisizza embalirira yaayo...

OBWAKABAKA bwa Buganda buyisizza embalirira y’Omwaka 2019/2020 ng’eno ya nsimbi 121,079,490,880/- nga kweyongera...

Samba 220x290

Omusika atunze ebiggya ku 1500/=!...

PULOFEESA Kiwanuka Ssemakula amaziga gaamuyunguse bwe yatuuse ku butaka gy’asibuka ng’amalaalo ga kitaawe gaatundibwa...

Kub2 220x290

Gavt. esiimye ebitongole ebisikiriza...

Gavt. esiimye ebitongole ebisikiriza abavubuka okuyingira obulimi n’obulunzi