TOP

Bakutte loole y’ebizigo ebirwaza kookolo

By Samuel Balagadde

Added 9th February 2017

EKITONGOLE ky'omusolo mu ggwanga ekya URA kikutte loole ekubyeko ebizigo by'abakyala omuli ebirungo eby'obulabe nga biyingizibwa mu Uganda.

Sam 703x422

Ebimu ku bizigo aba URA bye baakutte.

Ebizigo bino bye byeyambisibwa ku kwerusa ensusu z'abakyala nga birimu ebirungo eby'obulabe ebirwaza kookolo w'ensusu n'endwadde endala byabadde biva mu ggwanga lya DR Congo.

Maneja mu kitongole kya URA avunaanyizibwa ku bikwekweto ebifuuza abakukusa ebyamaguzi, Abby Kagumire yategeezezza nti baakutte abantu babiri nga bano basuubuzi era be bagenda okubayambako mu musango guno.

Yagambye nti loole eno yabaddeko bbookisi z'ebizigo ezisukka mu 400.

Yasangiddwa mu bitundu by'e Kannungu nga byabadde bikukusibwa bireetebwe mu Kampala.

Abaakwatiddwa bagenda kutwalibwa mu kkooti bavunaanibwe omusango gw'okutambuza ebyamaguzi ebyawerebwa mu mateeka n'okugezaako okubikukusa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sit114 220x290

Gavumenti etandikidde Bwaise okugaba...

Gavumenti etandikidde Bwaise okugaba emmere

Fud1 220x290

Omugagga Ham awaddeyo obukadde...

Omugagga Ham awaddeyo obukadde 100 okudduukirira abali obubi olw'embeera ya Corona Virus

Denisonyango1703422 220x290

Coronavirus atta - Onyango

KAPITEENI wa Cranes, Denis Onyango, akubirizza Bannayuganda okwongera okwegendereza ssennyiga omukambwe 'COVID-19',...

Nakanwagigwebaalumyekoomumwa1 220x290

Emmere etabudde omukozi wa KCCA...

OMUKOZI wa KCCA alumyeko muliraanwa we omumwa ng’amulanga okutuma omwana okubba emmere ye, naye abatuuze bamukkakkanyeko...

Hell 220x290

Gav't etaddewo kampeyini ya ‘TONSEMBERERA’...

Gavumenti etaddewo kampeyini etuumiddwa “TONSEMBERERA” mw’eneeyita okutangira okusaasaana kwa ssennyiga wa coronavirus....