TOP

Ssente obukadde 2 zitwazizza Chameleon mu kkooti

Added 9th February 2017

EBBAALA ya Moto Moto Lougue LTD esangibwa e Gaba etutte mu kkooti omuyimbi Joseph Mayanja 'Jose Chameleone' ng'emuvunaana okukola naye endagaano okubayimbira nga bagiggulawo eno mu 2014 kyokka n'alemwa okugendayo.

 Chameleon

Chameleon

Nga bayita mu balooya baabwe aba Muhumuza, Kyamazima & Co. Advocates bavunaana Chameleone n'ekibiina kye ekya Leone Island okukola naye endagaano agende abayimbire ku mukolo ogwaliwo nga November 29, 2014 nga baggulawo ebbaala yaabwe.

Bwe yalemwa okugendayo n'ekibiina kye, abantu abaali bazze ku mukolo baasalawo okwonoona ebintu by'ebbaala.

Omusango guno guli mu maaso ga kkooti y'omulamuzi Margaret Annyu e Nakawa.

Mu mpaaba yaabwe aba Moto Moto Lougue bagamba nti, November 6, 2014 baasisinkana Chameleone ne bakkiriziganya ne bamuwa 2,000,000/- nga yalina okuyimba n'ekibiina kye ekya Leone Island nga baggulawo ebbaala yaabwe nga November 29 - 30, 2014 ku ssaawa 6:00 ogw'ekiro kyokka kyabeewuunyisa Chameleone ne banne obutalabikako nga tebawadde nsonga.

Bagamba nti, ebintu ebyayonoonebwa kwaliko eggiraasi, emmeeza n'amacupa ebibalirirwamu 1,000,000/- era baafiirizibwa ebintu ebirala bingi ku lunaku olwo.

Aba Moto Moto bagamba nti baafiirizibwa ebintu ebyakozesebwa mu kulanga omukolo guno nga mwalimu ebipande bye baakubisa bya 750,000/-, ebigoye bina nabyo nga biranga omukolo guno bya 400,000/-, obupapula obutono bwa 200,000/-, okukuba tiketi 800,000/- obulango ku leediyo bwa 1,000,000/-, endala 500,000/- ezaakozesebwa ku mmotoka nga ziranga n'endala 700,000/- ze baakozesa okumulanga ku yintaneti.

Bagamba nti baafiirizibwa ne ssente ze baasasula mu KCCA okubakkiriza okukola omukolo guno ku 200,000/-, eza NEMA 100,000/- ne poliisi 150,000/- ate abaserikale abaakuuma baafuna 420,000/-.

Bagamba ssente ze baakozesa mu ntambula n'empuliziganya ziri 350,000/-, ezaaweebwa ab'ebyuma, ba DJ ne ba MC 1, 800,000/- n'ebintu ebirala eby'abantu abaakozesebwa byamalawo 2,600,000/- . Ssente zonna omugatte ziri 14,070,000 nga zonna Moto Moto Lougue bazeetaaga.

Moto Moto bazze basaba Chameleone okubaddiza ssente zaabwe kyokka n'agaana kye baavudde bagenda mu kkooti eragire Chameleone abawe ssente zino 14,070,000/-.

Omulamuzi Annyu awadde Chameleone ennaku 15 okuteekamu okwewozaako bwe kimulema kkooti yaakugenda mu maaso n'okuwulira omusango guno.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ezimu ku Akeedi z’omu Kampala. Mu katono ye Minisita Amelia Kyambadde

Minisita Amelia alambise ku...

EKIRAGIRO ky'okukkiriza abasuubuzi abakolera ku nguudo za Nasser ne Nkurumah kyawuddemu abasuubuzi abakolera mu...

Omulambo gwa Lubanga nga kukomezebwawo awaka. Ku ddyo, ye Ssendi eyasse kitaawe

Akubye kitaawe akakumbi ku ...

OMUVUBUKA akkakkanye ku kitaawe n’amutema enkumbi bbiri ku mutwe n’amutta ng’amulanga okumulyako emmere buli lunaku...

Abaana nga bagumbye ku

Bakubye ssengaabwe mu mbuga...

ABAANA batutte ssengabwe mu kakiiko k'eggombolola y'e Kyazanga nga bamulumiriza okubawuddiisa ne yezibika obukadde...

Komakech n'ebizibiti bye ku poliisi y'e Kawanda.

Abadde yakayimbulwa e Luzir...

Komakech ategeezezza nga bwabadde agenda okufa enjala nga yali asiiga njala z’abakazi wabula okuva bwe bayimiriza...

Testing video to see if it ...

aojdjadjdadojajdndn