TOP
  • Home
  • Ageggwanga
  • Malaaya bamusse ne bamuleka mu kitaba ky'omusaayi ne bbebi we!

Malaaya bamusse ne bamuleka mu kitaba ky'omusaayi ne bbebi we!

By Musasi wa Bukedde

Added 9th February 2017

Malaaya attiddwa mu bukambwe e Kabalagala mu kiro ekyakeesezza Olwokusatu, bwe yafumitiddwa ekiso mu bulago.

Mwana1 703x422

Omukyala ng’asitudde bbebi w’omugenzi.

BYA JOSEPH SSENFUMA

Zaabadde ssaawa nga 6:00, poliisi okuva e Kabalagala n'efuna amawulire nga bwe waliwo omuntu asaliddwaako obulago.

Yasitukiddemu bunnambiro era okutuukawo, nga mu loogi emu mu Kataba we wagaηηalamye omulambo gw’agambibwa okuba malaaya.

Omulambo gwasangiddwa mu kitaba ky'omusaayi nga ku bbali waliwo omwana w’omugenzi ow'emyezi 9.

Poliisi yakutte abantu babiri bagiyambeko mu kunoonyereza ku butemu buno.

Omugenzi yasangiddwa talina kintu kyonna kimwogerako. Abatuuze baategeezezza nti tebamanyi mannya ge kuba ne mu kitundu babadde tebamulabangako.

Bo bamalaaya b'omu Kataba baavumiridde eyakoze ekikolwa kino ku munnaabwe wadde tebamumanyi mannya. Baasabye abeebyokwerinda okunyweza obukuumi mu loogi.

Baasabye abasajja okukomya okutta bamalaaya kubanga baba bayiiya kikumi.

 ugwanya ne antana baakwatiddwa Mugwanya ne Bantana baakwatiddwa.

 

Omutuuze, Teopista Nagujja omusango yagutadde ku bannannyini loogi okuteekanga essira ku nsimbi ne batafaayo ku basula mu loogi zaabwe.

Yagasseeko nti loogi zandifuddengayo okumanya ebikwata ku bakasitoma ne babiyingiza mu bitabo nga bakasitoma tebannayingira busenge.

BASATU BAKWATIDDWA

Abasajja babiri bakwatiddwa okuli; Abudu Mugwanya omukozi mu bbaala eno, Bosco Bantana n'omuwala asangiddwa mu kifo kino, Glorius Kabalungi.

Bano baatwaliddwa ku poliisi e Kabalagala bagiyambeko mu kunoonyereza.

Omulambo poliisi yagututte mu ddwaaliro e Mulago ate omwana w'omugenzi n’atwalibwa ku poliisi e Kabalagala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Nnasale 220x290

Omusomesa wa King Fahad asobezza...

POLIISI ekutte omusomesa w’essomero lya King Fahad Islamic Primary School e Nateete nga kigambibwa nti yasobezza...

Kwiini 220x290

Nnabe agudde mu Bwakabaka bwa Bungereza:...

NNABE agudde mu bwakabaka obusinga amaanyi mu nsi yonna, Kkwiini wa Bungereza bw’awummuzza mutabani we ow’ekyejo...

Kola 220x290

Museveni awabudde ku bakukusa ebyamaguzi...

PULEZIDENTI Museveni awabudde ebitongole by’omusolo ku lukalu lwa Africa ku byamaguzi ebikukusibwa. Abiwadde amagezi...

Genda 220x290

King Micheal ne Big Eye bagudde...

King Micheal ne Big Eye bagudde mu bintu. Pulezidenti Museveni abawadde buli omu ente 30.

Visionagmndijjo2 220x290

Abalina emigabo mu kkampuni ya...

Abalina emigabo mu kkampuni ya Vision Group basiimye enkulaakulana etuukiddwaako omwaka guno.