TOP
  • Home
  • Ageggwanga
  • Dr. Livingstone Nkoyoyo aweerezza obubaka okusaabulula ebyasoose okwogerwa nti afudde

Dr. Livingstone Nkoyoyo aweerezza obubaka okusaabulula ebyasoose okwogerwa nti afudde

By Henry Nsubuga

Added 13th February 2017

Nkyagenda mu maaso okufuna obujjanjabi. Kyokka simanyi lwe buliggwaayo. Obubaka buddiridde abantu abaatadde amawulire ku mikutu gya yintaneti ku Lwomukaaga nga babika Nkoyoyo.

Koyoyo1 703x422

Dr. Mpalanyi Nkoyoyo

Ssaabalabirizi eyawummula, ali e Bungereza gy’ajjanjabirwa yagambye:

Nkyagenda mu maaso okufuna obujjanjabi. Kyokka simanyi lwe buliggwaayo. Obubaka buddiridde abantu abaatadde amawulire ku mikutu gya yintaneti ku Lwomukaaga nga babika Nkoyoyo.

Famire yasazeewo Nkoyoyo okuwa obubaka eri Bannayuganda.

Yagambye:

Abantu ba Katonda mwenna bannange mbaanirizza mu linnya lya Mukama waffe Yesu Kristo. Njagala okubeebaza emirimu gyonna gye mukola n’okweyimirizaawo.

Bannange ndeeta okwebaza kwange nti mwebale nnyo mwebalire ddala omulimu gwe mukoze okuwaayo ensimbi ez’okutujjanjaba. Katonda akoze bulungi.

Obujjanjabi twabutandika bugenda mu maaso. Simanyi bbanga ki lye bunaamala. Naye mu byonna Katonda akoze bulungi.

Njagala okwebaza Gavumenti ya Uganda, yeebale nnyo yeebalire ddala. Ate njagala okwebaza n’Obwakabaka bwa Buganda, bannange mbeebaza nnyo mwebale, Obwakabaka bugende mu maaso.

Nneebaza n’abantu ba Katonda mwenna, Abalabirizi, Abasumba, Abakulisitaayo n’abantu ba Katonda okuva mu ddiini endala, bannange mutukoze bulungi.

Nsaba Katonda we muggye abaddizeewo. Munnange Ruth antumye okubalaba era naye nga yeebaza omulimu gwonna gwe mukoze.

Ate njagala n’okwebaza abantu abali eno e Bungereza gye tuli kati n’amawanga amalala ag’ebweru okuwaayo kwe bawaddeyo n’okwagala, mukoze bulungi nnyo.

Nsaba Katonda ayongere okubawa omukisa, Mukama abeere nammwe.” Ekkanisa ya Uganda nayo yatangaazizza nga Nkoyoyo bw’ajjanjabibwa.

Gy’ali e Bungereza. Munnamawulire era omukungu wa Kabaka Enock Kiyaga abeera e Manchester mu Bungereza yategeezezza Bukedde nti yagenze mu maka ga Isaac Nkoyoyo mu London.

Ono ye mutabani wa Dr. Nkoyoyo era gy’ajjanjabirwa. “Twategeezeddwa nti afuna obujjanjabi kyokka abasawo baawabudde awummuleko aleme kulaba bantu”, bwe yagambye.

Omwogezi w’obulabirizi bw’e Mukono, Rev. Daniel Nsubuga Lubuto yagambye nti oluvannyuma lw’okuwulira eηηambo ezo twayogedde ne Ssaabalabirizi n’atubuulira embeera gy’alimu ng’agenda mu maaso n’okufuna obujjanjabi.

Tumusabire Katonda amussuuse. Omumyuka wa Ssentebe w’akakiiko akazimba ‘museum’ y’abajulizi e Namugongo, Ezekiel B. Luggya Lwasi yagambye nti yayogedde ne maama Ruth Nkoyoyo eyamutegeezezza nti yabadde yaakamala okumuwa ekyenkya.

“Twayogedde naye okumala ebbanga lya ddakiika nga 30, n’antegeeza nti n’abasawo abamujjanjaaba baategeezezza nti yabadde ali mu mbeera etakyatiisa nnyo era nga mwetegefu n’okuddamu okufuna obujjanjabi obulala mu ddwaaliro ku Lwokusatu,” Lwasi bwe yagambye.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

59148f0c79e3455bb2de95a2f1b5a89d 220x290

Ogwa Bajjo okunyiiza Museveni gugobeddwa...

Omulamuzi wa kkooti ya Buganda Road Stella Amabirisi agobye omusango ogubadde guvunaanwa omutegesi w'ebivvulu Andrew...

Top33 220x290

Aba FMU batongozza ez'oku ssande...

Aba FMU batongozza ez'oku ssande

Babe 220x290

Eyannimba okuba omuserikale anneefuulidde....

Nsobeddwa oluvannyuma lw’omusajja eyannimba nti muserikale wa tulafiki ku poliisi y’e Kanyanya okunfunyisa olubuto...

Funa 220x290

Mayinja ayogedde ku by'okufuna...

Mayinja bwe yatuukiriddwa yasoose kusambajja bimwogerwako nti yafuna ssente okulwanyisa People Power era n’ategeeza...

Dav11 220x290

Minisita w'ebyemizannyo asanyukidde...

Minisita w'ebyemizannyo asanyukidde abazadde abatatuulira bitone by'abaana