TOP

Abantu 2 bafudde basima nnayikonto e Mpigi

By Paddy Bukenya

Added 16th February 2017

ABATUUZE b’e Nama mu muluka gwe Luvumbula e Kiringente mu Mpigi baguddemu ekikangabwa abasajja babiri ababadde basima nnayikonto ekiziyiro bwe kibatidde mu kinnya ekya fuuti 120.

Wata1 703x422

Abapoliisi nga beetegereza ekinnya omwafiiridde abantu. Mu katono, ye Richard Byansi

ABATUUZE b’e Nama mu muluka gwe Luvumbula e Kiringente mu Mpigi baguddemu ekikangabwa abasajja babiri ababadde basima nnayikonto ekiziyiro bwe kibatidde mu kinnya ekya fuuti 120.

Abaafudde ye, Moses Lukasi 25 ne Richard Byansi 48 ab’e Bukeeju mu Ntenjeru e Kayunga abaaleeteddwa Musa Nviiri okusima ekinnya kya nnayikonto mu maka ge e Nama nga kkiteeberezebwa okuba nga baafudde kiziyiro.

Lukasi ye yasoose okukka mu kinnya okuggyaayo ebisiriiza bye baabadde bookedde mu kinnya kyokka munne yagenze okuwulira ng’atandise okufuluuta nga bw’amuyita tanyega.

Byansi yasazeewo okukka mu kinnya aggyeyo munne nga baakanze ku mulinda nga tadda era baagenze okweteegereza nga naye aweddemu amaanyi.

Musa Nviiri nnannyini kinnya kye baabadde basima yategeezezza nti ebugumu eryabadde mu kinnya lirabika lye lyabasse.

Yagambye nti eyasoose okukka mu kinnya munne bwe yamuyise nga tamuddaamu kwe kusalawo okukkayo amutaase naye olw’ebbugumu bombi ne bafiiramu.

Abaserikale okuva ku poliisi y’e Nakirebe ne Mpigi nga bakulembeddwa omuduumizi wa poliisi e Katonga, Victor Saasi Kule n’akulira poliisi y’e Mpigi , Ahmed Kimera Sseguya baatuuse mu kifo ne bagezaako okugyayo emirambo kyokka ne balemererwa.

Kimera yannenyeza Nviiri okuva abantu omulimu ogw’obulabe kyokka nga tebalina bukugu bwakugukola.

Yalagidde ekinnya kino okuziikibwa ng’emirambo gimaze okuvaamu okwewala obubenje obulala obuyinza okuggwaawo.

Kule yagambye nti bagenda kunoonyereza okuzuulira ddala ekituufu newankubadde nga bagamba nti baafudde kiziyiro.

Emirambo gigenda kutwalibwa e Kayunga nga gisooka mu ddwaaliro okukeberebwa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

59148f0c79e3455bb2de95a2f1b5a89d 220x290

Ogwa Bajjo okunyiiza Museveni gugobeddwa...

Omulamuzi wa kkooti ya Buganda Road Stella Amabirisi agobye omusango ogubadde guvunaanwa omutegesi w'ebivvulu Andrew...

Top33 220x290

Aba FMU batongozza ez'oku ssande...

Aba FMU batongozza ez'oku ssande

Babe 220x290

Eyannimba okuba omuserikale anneefuulidde....

Nsobeddwa oluvannyuma lw’omusajja eyannimba nti muserikale wa tulafiki ku poliisi y’e Kanyanya okunfunyisa olubuto...

Funa 220x290

Mayinja ayogedde ku by'okufuna...

Mayinja bwe yatuukiriddwa yasoose kusambajja bimwogerwako nti yafuna ssente okulwanyisa People Power era n’ategeeza...

Dav11 220x290

Minisita w'ebyemizannyo asanyukidde...

Minisita w'ebyemizannyo asanyukidde abazadde abatatuulira bitone by'abaana