TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Aba FDC bawakanyizza ebya Besigye okuteesa ne Museveni

Aba FDC bawakanyizza ebya Besigye okuteesa ne Museveni

By Scovia Babirye

Added 20th February 2017

ABA FDC bawakanyizza ebigambibwa nti Besigye ne Museveni batuuse ku nkiriziriganya ne batuula ku meeza emu.

Besi7034221 703x422

Besigye

Bino byogeddwa Harold Kaija amyuka omuwandiisi w'ekibiina mu lukung'aana lwa bannamawulire ku kitebe ky'ekibiina e Najjanankumbi  ku Mmande.

Kaija ategeezazza nti ebyo byonna ebigenda byogerwa bigambo by'abantu era tewali kukkiriziganya kwonna kuli wakati waabwe wadde n'okufuna ebbaluwa ebasaba nti batuule bakkaanye.

Ayongeddeko nti Museveni bw'abeera ayagala bateese bamuwa obukwakkulizo buna (4) era bwabugoberera basobola okutuula nga kuno kuliko; okubeera n'omuntu abakubiriza nga talina ludda, ebiteeso ebinaateesebwako nga bikkiriziganyiziddwaako enjuyi zombi, ekifo ekikkiriziganyiziddwaako ate nga kya lukale wamu n'omuntu anaasemba ebiteeso ebyo okuteekebwa mu nkola.

Kaija ayongeddeko nti baatuukiriddwa abantu bamirundi ebiri nga babasaba batuule bakkaanye nga muno mulimu omukago ogugatta bannaddiini wamu n'ekibiina ky'abakyala ekya Situational Room naye nga tebabawandiikirangako bbaluwa mu butongole zibasaba kutuula bakkaanye era n'awa buli oyo yenna amagezi ayagala bakkaanye okusooka okutuukiriza obukwakkulizo obwo waggulu balyoke batuule ku meeza emu.

Mu ngeri y'emu Kaija era ategeezezza nti n'ebyo byonna ebigenda byogerwa nti ssemateeka w'ekibiina yakyusiddwa nti Besigye agenda kuddamu yeesimbewo ku bwapulezidenti w'ekibiina si bituufu.

Agambye nti mu FDC buli muntu akkirizibwa okufuga ebisanja bibiri era bwe biggwako ssemateeka tamukkiriza kuddamu kwesimbawo era okulonda omukulembeze w'ekibiina kujja kubaawo nga 02/11/2017.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kab1 220x290

Gavumenti efulumizza ebiragiro...

Gavumenti efulumizza ebiragiro ebipya ng'emizannyo gizzeemu

Kat1 220x290

‘Teri kukyusa’

‘Teri kukyusa’

Tip1 220x290

Admin FC eyagala Big League

Admin FC eyagala Big League

Byekwaso 220x290

Byekwaso w'emifumbi ateekateeka...

KAFULU wa Uganda mu muzannyo gw’okusiba emifumbi ali mu keetalo nga yeetegekera okugattibwa mu bufumbo obutukuvu...

Tip1 220x290

Omusajja anzigyako abaana

Omusajja anzigyako abaana