TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abasajja 3 basisinkanye mu kuziika omuyimbi wa Golden Band e Lyantonde

Abasajja 3 basisinkanye mu kuziika omuyimbi wa Golden Band e Lyantonde

By Musasi wa Bukedde

Added 24th February 2017

ABASAJJA basatu omuyimbi Diana Namusoke eyafudde b’abadde alinako enkolagana baasisinkanye mu kuziika nga gwe mulundi gwabwe ogwabadde gusoose okulabagana.

Jejemba1 703x422

Abooluganda n'emikwano nga baziika Namusoke (mu katono0 e Lyantonde

BYA PASCAL LUTABI

Bba Enock Luyiira gw’abadde naye w’afiiridde yatabuse nga yeewuunya olw’omusajja eyavudde e Lyantonde ng’akaayanira omwana.

Yagambye nti abaana abalala agenda kubatwala babakebere omusaayi akakase oba babe.

Namusoke owa Golden Band baamuziise e Nakagongo Mateeke mu Sembabule ku Lwokuna.

 nock uyima abadde omwami wa amusoke ngono abeera outh frika ngali mu lumbe ne mutabani we ku kkono Enock Luyima, abadde omwami wa Namusoke ng'ono abeera South Afrika ng'ali mu lumbe ne mutabani we ku kkono

Abasajja abaasisikanyeeyo kuliko; Enock Luyima, Edward Mayanja ne Thomas Kiweewa (Big Daddy) ow’e Lyantonde.

Omuyimbi ono w’afiiridde nga Luyima ye bba gw’abeera naye era yasabye ne bamulindako okuva e South Afrika gy’abeera balyoke baziike.

Mayanja eyazaala abaana babiri mu Namusoke yategeezezza nti newankubadde babadde baayawukana, babadde bawuliziganya nga tamulinaako mutawaana.

 bayimbi esach semakula ku kkono ne athy usaasira mu kuziika Abayimbi Mesach Ssemakula (ku kkono) ne Cathy Kusaasira mu kuziika.

 

Yagasseeko nti bwe baafuna obutakkaanya yasalawo okumwesonyiwa n’agenda atandika okukolera e Mbale kyokka nga bawuliziganya era yafudde waali kubanga baamutegeeza ng’ali bubi.

Kiweewa, yagambye nti yagenze mu kuziika kyokka ng’ayagala kwetegereza baana alabe oba kuliko owuwe kubanga omutima gumugamba nti Namusoke yagenda n’olubuto lwe.

 dward ayanja omugenzi gwe yasooka okuzaalamu abaana abakulu babiri Edward Mayanja, omugenzi gwe yasooka okuzaalamu abaana abakulu babiri

 

Justine Nantume ayimbira mu Matendo Band, Namusoke gye yasookera nga tannagenda mu Eagles yakukkulumidde abayimbi abalala obutalabikako wadde okuyambako mu kufa kwa Namusoke.

Mesach Ssemakula bwe yabadde ayogera mu kuziika yalabudde bayimbi banne okwegendereza ku ngeri gye beeyisaamu kubanga omuntu yenna buli kiseera Katonda asobola okumutwala.

Ssemakula yagambye nti kkansa alumye Namusoke okumala emyaka ebiri ekyamuviirako n’obutayambala ngatto.

 baana bomugenzi amusoke okuva ku kkono wen ayanja 14 ne dward ayanja 190 be yazaala mu bba eyasooka dward ayanja Abaana b'omugenzi Namusoke okuva ku kkono; Owen Mayanja (14) ne Edward Mayanja (190 be yazaala mu bba eyasooka; Edward Mayanja

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Tembeya 220x290

Walukagga atadde akaka mu luyimba...

Nga yaakamala okugaanibwa okuyimba ku mukolo ogumu e Mpigi gyebuvuddeko, omuyimbi Mathias Walukagga embeera agiyimbyemu...

Tin1 220x290

Pressure esse abafamire babiri...

Pressure esse abafamire babiri omulundi gumu

Harvest 220x290

Amagye lwe gassa ku Mubarak akazito...

Amagye lwe gassa ku Mubarak akazito n'alekulira

Abetz 220x290

Abtex totya abasajja tubalina -...

POLIISI yagaana Bobi Wine okuddamu okulinnya ku siteegi. Bino byagenda okubaawo ng’abategesi b’ebivvulu, Abbey...

Kenzo 220x290

Aziz wangoba kati oyagala nkusiime...

OMUYIMBI Eddy Kenzo addizza Aziz Azion omuliro olw’okumulangira nga bwe yamuyamba n’atamusiima n’agamba nti Aziz...