TOP
  • Home
  • Ageggwanga
  • Engeri ettalo gye lyatwala Samona mu ssabo n'ewa Nabbi Kakande: Akubye ennyimba eziwaana Yesu okumuwonya

Engeri ettalo gye lyatwala Samona mu ssabo n'ewa Nabbi Kakande: Akubye ennyimba eziwaana Yesu okumuwonya

Added 27th February 2017

MU February w’omwaka oguwedde, Ssaalongo Kasawuli Samona yalumbibwa obulwadde obwamuzimbya ekigere nga tasobola na kutambula, abantu abaamuli okumpi ne bamutegeeza nti yali alogeddwa ettalo.

Kasawuli (wakati) mu kutendereza ewa Nabbi Kakande.

Kasawuli (wakati) mu kutendereza ewa Nabbi Kakande.

Mu kiseera kino Samona we yalwalira, yalina obutakkaanya obw’amaanyi ne mukyala we Nnaalongo Lillian Nafuna era gye byakkira, Samona yalumiriza mukyala we ono nti ye yali amusindikidde ettalo.

Samona yatambula mu bifo bingi mu malwaliro ne mu baganga ab’enjawulo era n’awalirizibwa n’okuva mu maka ge n’agenda ewa nnyina basalire wamu amagezi okulaba ng’awona ekimbe kino ekyali kimusuza ng’akekejjana.

Bukedde yatuukiridde Samona n’annyonnyola bye yayitamu ne waali kati n’okutuuka okugenda ewa Nabbi Kakande n’alokoka n’ayiiyizaayo n’oluyimba lw’eddiini era agamba bwati:

“Mu Feruary wa 2016, nnali nva mu mwoleso e Lugogo mukwano gwange ayitibwa Kakembo n’ankubira essimu ng’ategeeza nti mukyala wange Lillian yali amutumye andabule nti, mu nnaku ntono nnali nja kufuna ekizibu.

Ssaalongo Kasawuli (Samona) ng’alaga ekigere ky’agamba nti yalwala ttalo. Wakati ye mukazi we Nnaalongo Lillian Nafunya bwe bagugulana ne Samona

 

Mukazi wange ono twali tumaze ekiseera nga tulina obutakkaanya era alina ebintu bingi bye yajja ankola omuli n’okunjooga okuganza abasajja abalala ekyannyiiza ne mmulagira ampe abaana bange twawukane kyokka ne yeerema.

Oluvannyuma lw’okufuna essimu eyandabula okufuna ekizibu, enkeera okantu akaatandika nga akatulututtu ku kugulu ka nkwata era olumbe olw’amaanyi lwatandikira awo okunnuma okugulu ne kuzimba nga sikyasobola kutambula.

Bino byonna byakolebwa mukyala wange Lillian nga yeegasse n’abasajja be yali aganzizza abaalina ekigendererwa eky’okunzigyawo beeyagale bulungi era kino bwe nakimanya, amaka gaffe ag’e Najjanankumbi ne ngamulekera yeegazaanye.

Nnaalongo Lillian Nafuna lwe yakwatibwa n’aggalirwa ku poliisi.

Okumanya Lillian yankolako effujjo, yatuuka n’okugenda ku wooteeri yange eyitibwa Pacify n’agenda mu kimu ku bisenge kye nnali nkozesa n’asalaasala engoye zange zonna oluvannyuma n’azookya era ensonga zino zaggweera ku poliisi.

Oluvannyuma lw’okuyita mu bino byonna, nasalawo ne hhenda ewa musajja wa Katonda Nabbi Kakande ne ndokoka era obulamu bwange bwonna ne mbukwasa Yesu.

Kakande yannyaniriza era n’ansabira ne nfuna eky’amagero eky’okuwonyezebwa. Mu kiseera kitono nnali mmaze okuwona ebintu byonna.

Nagenda nga bwe ndi kubanga ne bayibuli yennyini kino ekyogerako era nange kye nakola. Olw’ebirungi Mukama by’ankoledde, nasalawo njiiye oluyimba lwe natuuma ‘Njagala My Jesus’ era oluyimba luno sigenderera kulufunamu ssente wabula nnayimbira Katonda wange kumwebaza birungi by’ankoledde.

Nnaalongo Lillian Nafuna bw’afaanana mu kiseera kino.

 

Twalagirwa okuyiiya oluyimba olutendereza Katonda mu kkanisa era nze omu ku beewaayo okuyiiya oluyimba n’abantu abalala mwenda baayiiya ennyimba zaabwe okwali n’omuyimbi omututumufu Fred Ssebatta naye asabira ewa Nabbi Kakande.

Kya kwenyumirizaamu nti oluyimba lwange lwali lumu kw’ezo ezaasunsulwamu nga lwali lwa munaana ate olwa Ssebatta ne luba lwa mwenda. Ewa Nabbi Kakande ndudde nga nsabirayo era kati nafuuka waayo ng’abantu abalala bwe bali mu kkanisa ez’enjawulo.”

EBIMU KU BIRI MU LUYIMBA;

Jesus Sure deal, East Africa..nze Ssaalongo Samona ayaa..yaa.yaa Synagogue Church nga nkunoonyezza ssebo nga nkunoonyezza Savior.

Njagala my Jesus omulungi eyamponya omutima oguntujja omulungi eyamponya emizimu eginkanga omulungi eyampita bwe yampita nze ne mpona….."

Omugagga Samona alwadde ekigere n’aliyita ettalo: 'Banzita lwa mukazi'

 

Muka Samona awakanyizza eby’eddogo: 'Ave ku bya bandoga afune obujjanjabi obutuufu'

 

 

 

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omugagga Ham eyakulembeddemu bannanyini bizimbe mu lukiiko ne Amelia Kyambadde

Bannanyini bizimbe balemedd...

AKAKIIKO kebassaawo okubaga ebinaagobererwa kisobozese okuggulawo akeedi z’omu Kampala kamalirizza lipooti eno...

Jackson Musisi kitunzi w'essaza lya Gomba ku kkono ng'akwasa Mansoor Kamoga obuvunaanyizibwa bw'essaza

Aba ttiimu y'essaza lya Gom...

OLUVANNYUMA lw’ Essaza lya Gomba okusaasaanya ssente empitirivu mu kugula abazannyi, abakungu baalyo bafunyemu...

Omutendesi Bamweyana ng'assa ku ndagaano omukono

Omutendesi Bamweyana olwega...

OMUTENDESI omuggya owa Wakiso Giants FC mu Star times Uganda Premier League, Douglas Bamweyana asuubizza omupiira...

Bryan White kati asizza ku ku byuma

Bryan White mulwadde muyi: ...

Bryan White mu kiseera kino asizza ku byuma amaze wiiki biri mu ddwaaliro ly'e Nakasero kyokka embeera ye ekyagaanye...

Kato Lubwama nga tebannamulongoosa

Omubaka Kato Lubwama bamulo...

OMUBAKA Kato Lubwama ( Lubaga South) amaze essaawa ssatu mu sweeta ng'abasawo bamulongoosa n'okumwekebegya omulundi...