TOP
  • Home
  • Ageggwanga
  • Museveni asiimye Ethiopia okufufuggaza abafuzi b'amatwale

Museveni asiimye Ethiopia okufufuggaza abafuzi b'amatwale

By Muwanga Kakooza

Added 2nd March 2017

PULEZIDENTI Museveni alabudde Abafirika okukomya okuneneηηana n’okukola ebintu ebibaggya ku mulamwa n’agamba nti kino kye kimu ku bizibu ebibagaanyi okukulaakulana.

C56nbnnwaaajo6g 703x422

Pulezidenti Museveni ng'awayaamu ne munne owa Ethiopia, Hailemariam Desalegn, ali ku bugenyi obutongole obw’ennaku esatu mu Uganda

Museveni abadde mu lukuηηaana lwa bannamawulire e Ntebe ng’ali ne  mukulu munne owa Ethiopia, Hailemariam Desalegn, ali ku bugenyi obutongole obw’ennaku esatu obutandise olwa leero ku Lwokuna nga 02 / March.

Hailmariam ne munne baabadde bateesa ku nsonga ezitali zimu ezeekuusa ku by’okwerinda naddala obugulumbo bw'e  Somalia ne South Sudan.

E Somalia amawanga gombi galinayo amagye agalwanyisa abatujju ba Al - Shabab abaakuba Uganda bbomu bbiri ne batirimbula abadigize e Lugogo ne Kabalagala mu Kampala nga balaba omupiira mu 2010.

 

alt=''

‘’Aba Al shabab balina okusanyizibwawo era twetaaga obuyambi bw’abantu baayo okukola kino’’ bwatyo Museveni bwe yategeezezza.

Olwo munne kwe kusiima Uganda olw’amaanyi g’etaddemu okuyamba Ethiopia okulwanyisa abatujju ba Al -Shabab ng’eyita mu kusindika aba UPDF e Somalia okulwanirira emirembe.

Asiimye Ethiopia okulwanyisa abafuzi b'amatwale

Museveni era asiimye Ethiopia olw’obuvumu bwe yalaga bwe yeerwanako n’ekuba Abazungu abafuzi b’amatwale (Abayitale) n’ebalemesa okugifuga mu lutalo olwali  mu kitundu ky'e Adoa nga March 2, 1896  n’effuuka ensi yokka bwannamunigina mu Africa etaafugibwa Bakyeruppe!.

 

 

Museveni agambye nti amawanga gombi gajja kwongera okuteesa ku nsonga z’omugga Kiyira (River Nile), okutumbula ebyensuubulagana , n’eby’obulimi.

Boogedde ku mugga Kiyira

Ku mugga Kiyira, Museveni agambye nti obuzibu,  buli ku bantu mu mawanga gye gusibuka ne gye guyita okuba nga tebakulanye ekibaletera okulima entobazzi n’okutema emiti okufuna enku n’amanda g’okufumba.

Yagambye nti ensonga za Kiyira zeetaaga obudde okuziteesaako n’ayongerako nti obuzibu bwa Afrika ssi mazzi  ga Kiyira wabula kuneneηηana n’obutakwatagana okuliwo mu mawanga ag'enjawulo.

Bateesezza ku nkolagana y'amawanga gombi mu by'ensuubulagana

Mu kiwandiiko ky’enkolagana ya wamu ekyasomeddwa Minisita w’ensonga z’ebweru, Sam Kuteesa , ategeezezza nti amawanga gombi gakkiriziganyizza ku nkolagana mu nsonga z’ebyokwerinda, amasannyalaze, eby’obulimi, ebyenjigiriza, eby’obulambuzi n’ebirala.

Era bakkaanyizza ne ku ky'okunyweza enkwatagana y’amwanga gombi okuteereeza Somalia ne South Sudan.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

A84388d55eaa4efa9fcc00052969dc53 220x290

Omuyimbi Grace Ssekamatte alwanaganye...

Omuyimbi Grace Ssekamatte omu ku ba dayirekita ba Golden band asiibuddwa okuva mu ddwaaliro gy’amaze wiiki nnamba...

Cor 220x290

Beerumirizza okusaddaaka owabbooda...

OMUTUUZE eyasaddaakiddwa ne bamusuula mu kinnya okumpi n’ekyuma ky’omugagga Ephraim Bbosa, akwasizza abantu bana...

Tra 220x290

Eddagala lya ARV’S lisobola okulwanyisa...

OLWALEERO tewali ddagala ttuufu lyazuuliddwa okuba nga lijjanjaba obulwadde bwa COVID 19 .

Tabu 220x290

Ziizino endwadde endala ezirina...

ABANTU 44 baakakasiddwa mu Uganda nga balina ssennyiga omukambwe (coronavirus) era bajjanjabwa nga n’abalala bateekeddwa...

Ugandakampalaext19441 220x290

CORONAVIRUS: Ekitebe kya America...

GAVUMENTI ya Amerika ewadde Uganda ebyetaagisa okulwanyisa ssennyiga omukambwe.