TOP
  • Home
  • Ag’eggwanga
  • Batabukidde nkubakyeyo eyalagajjalidde ekinnya omwana n'akigwamu n'afiiramu

Batabukidde nkubakyeyo eyalagajjalidde ekinnya omwana n'akigwamu n'afiiramu

By Musasi wa Bukedde

Added 3rd March 2017

Abatuuze e Katooke bakkakkanye ku bintu bya nkubakyeyo by’abadde azimbisa ennyumba ye ne babyonoona nga bamulanga kulagajjalira kinnya ekiviiriddeko omwana wa mulirwana we okugwamu n’afiiramu.

Kyeyo1 703x422

Abatuuze nga bayambibwako Poliisi okunnyulula omulambo g'omwana eyagudde mu kinnya n'afiiramu. EBIFAANANYI BYA SOPHIA NALULE

BYA SOPHIA NALULE

Eyafudde ye Emmanuel Oryekot (2) mutabani wa Denis Emyu ne Stella Nabukwaasi abatuuze b’e Katooke zooni A.

Ebimu ku bintu abatuuze bya nkubakyeyo Bosco Matovu  ebyayonooneddwa kwabaddeko; bbulooka, omusenyu, amayinja n’ebirala nga baagala ekinnya ekyaviiriddeko omwana okufa kizibibwe bunnambiro.

Bazadde ba Oryekot bagamba nti omwana waabwe olwamaze okulya eky’emisana ne bamunaaza yeebakeko kyokka mukulu we Brian Emyu n’amukwata ku mukono bagende bazannye. Bino byabaddewo ku ssaawa 8:00 ez'omu ttuntu.

Obwedda bazannya bwe badda okulambula ku bazadde baabwe nga kino baakikoze enfunda ssatu kyokka ku mulundi ogw'okuna, Brian yakomyewo yekka.

Namukwasi yategeezezza nti ku mulundi ogw'okuna bwe yalabye Brian ng’ali yekka ne yeekengeramu n’amubuuza mutoowe (Oryekot) gye yabadde amulese n’amutegeeza nga bwe yeebase mu kinnya.

Olwatuuse ku kinnya, Brian gye yamututte, amaaso yagakubye ku mutabani we nga mufu wa jjo ng’omulambo gwe gulengejjera mu kinnya ky’amazzi.

Joseph Mayanja omu ku batuuze yategezezza nti "ekinnya Oryekot mweyafiiridde kyasimibwa dda era baagezaako okulabula nnannyini nnyumba akizibe kyokka ne yeerema.

Bosco Matovu nnannyini kinnya omwafiiridde omwana abatuuze bategezezza nti nkubakyeyo mu ggwanga lya America kyokka ng’alina abooluganda be yakwasa obuvunaanyizibwa bw’okuzimba ennyumba wadde nga bagaanye okubaako kye bannyonnyola ku kulemwa okuziba ekinnya ekyasse omuto.

Ssentebe wa LC1 e Katooke A, Juma Zaidi omusango yagutadde ku bulagajjavu bw’abazadde  n’agamba nti baalemeddwa okukuuma abaana baabwe abakyali abato.

Akulira Polisi y’e Katooke, Henry Mulengani yagambye nti waakukola ekikwekweto mu batuuze abazimba amayumba abasomese ku kabi k’okuleka ebinnya ebisimibwa ne birekebwa awo ttayo.

Polisi omulambo yagututte mu ggwanika e Mulago okwongera okwebejjebwa.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abataka1webuse 220x290

Tetugenda kusirika ng'ebika bisereba...

Bakatikkiro b'ebika balayidde obutaleka bika kusereba ne basalawo okwegatta bakolere wamu okubitumbula

Muzaata 220x290

Ebyabadde mu nsisinkano ya Museveni...

Pulezidenti Museveni asisinkanye akakiiko ka poliisi akafuzi n’alagira abaserikale essira balisse ku kulwanyisa...

Lim21webuse 220x290

Engeri gy'olimira mu kkutiya okufuna...

Omusomesa akulaga bw'akozesa ebikutiya okukola ssente mu kulima enva endiirwa

Bebi 220x290

Aba Ghetto Kids bafunye ku kamwenyumwenyu...

Aba Ghetto Kids bafunye ku kamwenyumwenyu

Pawa4 220x290

Gav't etongozza enteekateeka ya...

MINISITA w'eby’amasanyalaze n’obugagga bw’omuttaka Eng. Irene Muloni atongoza entekateeka empya gavumenti mwegenda...