TOP
  • Home
  • Ageggwanga
  • Engeri munnakatemba Benon Kibuuka gye yasimattuse akabenje

Engeri munnakatemba Benon Kibuuka gye yasimattuse akabenje

By Josephat Sseguya

Added 6th March 2017

MUNNAKATEMBA Andrew Benon Kibuuka bamutomedde ng’ava mu kivvulu kya Mesach Ssemakula ekya Totya bigambo.

Sima 703x422

Kibuuka ng’ali mu ddwaaliro lya Kadic.

MUNNAKATEMBA Andrew Benon Kibuuka bamutomedde ng’ava mu kivvulu kya Mesach Ssemakula ekya Totya bigambo.

Kibuuka amanyiddwa ennyo nga Dube atasasula boda, yabadde ava ku wooteeri ya Africana ku ssaawa 6:30 ez’ekiro ku Lwokutaano ng’ekivvulu kino kiwedde n’atuuka e Bwebajja kyokka aba tannamalako kasozi ako, emmotoka eyabadde ezungira mu kkubo n’emufubutuka mu maaso n’akuba ehhombe n’okugezaako okugyetaasaako wabula n’emulumba ku ludda lwe n’emutomera bwenyi ku bwenyi.

Kibuuka eyabadde ayogerera mu ddoboozi erikankana nga bw’ayambibwako mukyala we Mary Kibuuka yategeezezza nti, eyabadde avuga mmotoka eyamutomedde yabadde atamidde.

Kyokka eyiye ey’ekika kya Harrier nnamba UAZ 712H yamulemeredde n’etandika okudda emabega kyokka ng’ebisawo ebiziyiza akabenje bumukubye nnyo ekifuba n’okuyiwa omukka mu mmotoka nagwo ne gumuwunza ssaako olukoba okumumyumyula.

Mukyala we yategeezezza nti, bba yamugambye nti emmotoka yayagadde agibuukemu wabula olukoba lwabadde lumunywezezza nnyo ng’emukulula ye bw’alebeetera ebweru waayo n’okukuba enduulu okumala akabanga kyokka nga tewali bantu nga n’emmotoka endala ziyitawo buyisi.

Oluvannyuma emmotoka yeesolosezza n’egwa mu luwonko n’eggwamu amaanyi n’akubira abantu be essimu abaamututte mu ddwaaliro era ali ku Kadic hospital e Bukoto.

Alumizibwa ekifuba n’ensingo by’agamba nti ebisawo by’omukka ebya ‘air bag’ bye byasinze okumukosa ate teyavuddemu musaayi ekyamuleetedde ekifuba okuzimba.

Ebifaananyi ebyamukubiddwa byabadde tebirina kye biraga era we bwawungeeredde nga bamutwala kumukuba ebirala ebya CT scan ebisinga ku maanyi banoonyereza ekiri mu nsingo. Gye buvuddeko, Meddie Nsereko yagudde ku kabenje e Kibuli.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Wano 220x290

Centenary bank etadde ssente mu...

Aba Centenary bank beegasse ku Bukedde famire mu nteekateeka yaabwe ey’okuddiza ku basomi ba Bukedde, abalabi ba...

Ye 220x290

Omusajja ow'ebbuba asazeesaze mukazi...

OMUSAJJA alumbye mukyala we ku bugenyi gw’alinamu abaana bana, n’amusala obulago n’amutta ng’amulumiriza obwenzi....

Funsa 220x290

Eyali Bishop. w'e Moroto afudde...

EYALIKO Omusumba w’e Moroto Bp. Henry Apaloryamam Ssentongo 83, afudde.

Fdc21a700517 220x290

Kkooti egobye omusango gwa Besigye...

KKOOTI etaputa Ssemateeka ewadde Dr. Kiiza Besigye amagezi okugenda mu kkooti ezize oba eri omulamuzi eyamulayiza...

Gavana w’e Nairobi ayiwaayiwa ssente...

GAVANA w’ekibuga Nairobi e Kenya, Mike Sonko 44, ayiwaayiwa ssente n’okukozesa ebintu ebiriko zaabu gamumyukidde...