TOP
  • Home
  • Agawano
  • Loole etomedde 2 ne bafiirawo ku lw'e Kayunga

Loole etomedde 2 ne bafiirawo ku lw'e Kayunga

By Saul Wokulira

Added 8th March 2017

ABANTU babiri bafiiridde mu kabenje loole bw'etomedde bodaboda kwe babadde batambulira.

Vuga 703x422

Loole eyakoze akabenje. Mu katono, pikipiki ya bodaboda eyatomeddwa abaagibaddeko bombi ne bafiirawo mbulaga. EKIF: SAUL WOKULIRA

ABANTU babiri bafiiridde mu kabenje loole bw'etomedde bodaboda kwe babadde batambulira.

Akabenje kano kaagudde Kayonza ku luguudo oluva e Kayunga okudda e Bbaale.

Abagenzi kuliko; Joel Wooli omutuuze w’e Kitimbwa ng'ono ye yabadde avuga pikipiki ne Aminal Nakavule gwe yabadde aweese.

Loole y’ebikajjo nnamba UAV 977X yatomedde pipiki nnamba UAE 460C abagenzi kwe baabadde batambulira.

Akulira poliisi y’ebidduka e Kayunga, Celina Anyago yagambye nti loole bwe yatomedde abantu omugoba yagiddusizza n’agikweka mu maka g’omutuuze omu wabula poliisi yagirondodde n’egiggyayo n’egisika oyogaayoga ku kitebe kyayo.

Yalabudde abavuga emmotoka okuwa abantu abalala abakozesa oluguudo ekitiibwa n’agamba nti loole yabadde eddukira ku misinde egya yiriyiri.

Emirambo gyatwaliddwa mu ggwanika ly’eddwaliro e Kayunga okwongera okwekebejjebwa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Masese11 220x290

Abagoba b'amato e Ssese nabo batadde...

Abagoba b'amato e Ssese nabo batadde wansi ebikola

Mabikengaanyonyolaabakampuniyacceccabakolaoluguudolwabusegampigi 220x290

Kkampuni y'Abachina esenze ebirime...

ABAKOLA oluguudo lwa Busega – Mpigi basenze ebirime by'omutuuze n'alaajanira UNRA okumuliyirira.

China1 220x290

Abachina abaakwatiddwa babagguddeko...

POLIISI yakwongera emisango emirala ku Bachina abaatwaliddwa mu kkooti ku Lwokutaano ne basindikibwa e Luzira....

Kangaliyapoliisingaesazeekoekigokyempigiewabaddemmisa 220x290

Poliisi eggalidde Faaza lwa kujeemera...

POLIISI esazeeko Faaza Kiibi ng'akulembeddemu mmisa mu Klezia y'ekigo ky'e Mpigi n'emukwata n'atwalibwa ku poliisi...

Kab18 220x290

Kabaka ayimirizza abakozi b’e Mmengo...

Kabaka ayimirizza abakozi b’e Mmengo