TOP

Lwaki Mayanja Nkangi anaalwawo ng'ajjukirwa

Added 9th March 2017

MU kukuza Amatikkira ga Kabaka ag’omulundi ogwa 22 mu 2015, nafuna omukisa okwogerako n’eyali Katikkiro, Jehoash Mayanja Nkangi, era bino bye yantegeeza ku bikwata ku bulamu bwe n’Obwakabaka:

Engeri gye nasisinkana Kabaka Nasooka okusisinkana Kabaka nga nkyasoma ku pulayimale ku ssomero e Kabungo- Masaka mu Buddu eyo mu myaka gya 1937 oba 1938 bwe yali akyadde ku ssomero lyaffe.

Bwe yali ayita mu bayizi, nawanika omukono nga mmanyi nti ajja kugukwatamu nange mbale nti nakutteko Kabaka mu ngalo, kyokka teyagulaba.

Nakitegeera luvannyuma nga mmaze kufuuka Katikkiro nti Kabaka y’aleeta omukono n’asiima okukukwata mu ngalo naye sso si ggwe kuleeta gugwo!” Eno y’entandikwa y’emboozi Mayanja Nkangi gy’atandikira okulaba ku Kabaka Muteesa .

Agamba: Wabula olwo saalubala nga lwa maanyi okutuusa Abazungu lwe baawahhangusa Kabaka mu 1953, mu kiseera ekyo nali nsoma ku Oxford University.

Muteesa yajja ku Oxford gye nali nsomera okulaba Ernest Sempeebwa eyaliko omuwandiisi mu Lubiri lwe, kyokka bwe yajja nange Sempeebwa yansaba mbeerewo.

Naliwo naye saayogera bingi okuggyako okumubuuzaako kubanga olwo Omutanda nali mmugamba ki? Twatuulako naye mu mmotoka eyali evugibwa Sempeebwa, sso nno ate yaliko omusomesa wange ow’okuyimba nga nkyali ku King’s College Budo.

Nfuuka Katikkiro Mu kiseera ekyo, nali sirabawo mukisa gwonna gufuuka Katikkiro newankubadde nga nali nfunye omukisa ogusisinkana Kabaka, okutuuka nga August 17, 1964 lwe nafuuka Katikkiro.

Mu kiseera ekyo eyali Katikkiro, Michael Kintu yafuna obuzibu n’olukiiko lwa Buganda oluvannyuma lw’okulemererwa okutaasa Amasaza ga Buganda okuli Buyaga ne Bugangazzi nga kino kye kyaleeta embeteza okumugoba ku Bwakatikkiro.

Ssemateeka yali alagira Olukiiko lwa Buganda okulonda amannya asatu ne bagaweereza ewa Kabaka alondeko Katikkiro omuggya. Mu ge baasindikayo nze nali nfunye obululu obungi (76).

Naye wadde nalina obululu bungi, waaliwo abaali bakisimbira ekkuuli okwali ne Katikkiro Kintu nga bagamba nti sisaana Bwakatikkiro kubanga ndi muto ate sirina na mukazi olwo obuvunaanyizibwa buli ludda wa bwe nnina?

Mu kiseera ekyo nalina emyaka 33, ekyo ate ne kitandika okukubaganyizibwako ebirowoozo, wabula bwe twatuuka mu maaso ga Kabaka, yabuuza omutawaana oguliwo ne bamugamba nga bwe siri mufumbo kwe kubabuuza, ‘Nze we natikkirirwa Obwakabaka nali mufumbo?’ tewali yaddamu n’ayongerako nti ‘Nkangi ye Katikkiro’ Era nze navaayo nseka.

Wadde Kabaka yali tammanyi nnyo, kirabika yali amaze okunoonyereza ku binkwatako.” Awo w’atandikira okukolagana ne Muteesa gw’ayogerako ng’omusajja eyali omwangu, ayogera ekimuli ku mutima ate ng’awuliriza n’asengejja.

Mu buwahhanguse Zaali ssaawa nga 9:00 ez’akawungeezi, ne balumba Olubiri. Nali mu ofiisi yange nga nnyimiridde mu Lubiri, ekikomplola ne kikuba eddirisa lyange.

Naseka naye nga simanyi ngeri gye hhenda kufuluma ofiisi yange. Nabeera mu Lubiri okutuusa ssaawa 1:30 ey’akawungeezi lwe bansalira amagezi ne nneesuulako ekikooti ne nfuluma ng’omuntu waabulijjo.

Nga mpita mu bunyomero okuliraana Olubiri, nawuliranga abantu nga babuuza nti ‘Katikkiro aliwa’ nga nze bwe nneeyongerayo. Obote yayisa ekiragiro okunnoonya banzite, yalagira nti ‘Ssinga bansanga ekifo we ndi bakyokye wasigale vvu!’ Wano mikwano gyange bampa amagezi okudduka mu ggwanga, era nasalinkiriza ne mpitira e Kenya.

Eno owooluganda lwang,e Grace Lumala ye yangobereza paasipooti yange olwo Bannayuganda be nasangayo okwali Peter Mpagi n’abalala ne bannyamba okweyongerayo e Bungereza.

Nalina ebirowoozo bingi, ekyali kisinga okunnuma ye Obote okutandika okujoonyesa Buganda ate nga Buganda ye yamuleeta n’afuuka ne Katikkiro wa Uganda, kuba tebuba kuba bululu bwa Buganda, Ben Kiwanuka ye yandifuuse Katikkiro.

Awo we najjuukirira enjogera ya ‘Akabwa ke weeyolera...’ Anajjukirwa okukuuma Ddamula n’okubikka Akabugo Nkangi yakuuma Ddamula okumala emyaka 27 Buganda gye yamala nga terina Kabaka okutuusa Museveni lwe yazzaawo Obwakabaka mu 1993.

Bwe yali ayogerako ne Sunday Vision mu April wa 2014, Nkangi yagamba nti essanyu ly’akyasinze okufuna mu bulamu, lwe lunaku lwe yalangirira Omulangira Mutebi okulya Obwakabaka ng’amaze okumuyambako okubikka akabugo e Bungereza mu 1969.

Ekirala ky’abadde yeenyumirizaamu, kwe kulaba ng’Obwakabaka bukomyewo mu 1993, nti kubanga bandibadde bamujjuukirirako kubeera Katikkiro ng’Obwakabaka buvaawo!

Kalombolombo mu Buganda aka Nnamulondo obutasula nga tekuli Kabaka, Kano kabaddewo okumala emyaka egisoba mu 800.

Ssekabaka Muteesa II bwe yakisa omukono mu 1969 e Bungereza, Nkangi ye yalina Ddamula era ye Katikkiro eyaliko, ng’ali wamu n’omukuumi wa Kabaka Maj. Katende be baaliwo okuyamba Omulangira Ronald Muwenda Mutebi okubikka akabugo.

Mu bulombolombo bw’Abaganda, Omulangira abikka akabugo y’afuuka Kabaka, noolwekyo wadde emikolo gy’Amatikkira ga Ssaabasajja gyaliwo mu 1993 e Naggalabi, naye yali yafuuka dda Kabaka bwe yabikka akabugo mu 1969!

Emboozi ya Buganda ne Nkangi teggwa malojjo kubanga akoze bingi okusitula Buganda n’Obwakabaka.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Agugulana ne KCCA atiisizza...

HAJJI Rashid Ssenyonjo Musisi atiisizza okukung'anya famire ye batuule mu luguudo ompi n'amayumba ge e Lweza...

Trump anywezezza ebyokwerin...

Abaserikale abamukuuma beebulungudde White House okuva mu ggye erimanyiddwa nga The Washington, DC National Guard,...

 Mwamula Juma, the UPTU General Secretary speaking the press in Kampala. Looking on is a member of UPTU. Courtesy photo

Uganda Private Teachers Uni...

Mwamula Juma, the UPTU General Secretary said the government directive is more of a populist voice than a realistic...

 Kayiwa

Munnamakolera asabye Gav't ...

MUNNAMAKKOLERO Steven Kayiwa nga y'akiikirira Bannamakkolero mu lukiiko lwa Buganda olukulu asabye gavumenti eyawakati...

Bagabidde abakozi b'Abachin...

MINISITULE y'ebyobulamu egabidde abakozi mu b'omu nnimiro z'abachina abalimira omuceere mu Lwera n'abavubi b'oku...