TOP

Abakozi ba Gav't e Buvuma beediimye lwa nsako

By Henry Nsubuga

Added 9th March 2017

Emirimu gisannyaladde mu bizinga by’e Buvuma oluvannyuma lw’abakozi ba Gavumenti okuteeka wansi ebikola lwa kuggyibwako ensako ey’okukolera mu bifo ebizibu okutuukamu.

Mknservant3 703x422

Abakozi ba gavumenti e Buvuma nga batudde wansi wabweru wa woofiisi mwe bakolera mu ngeri y'okwediima. EBIFAANANYI BYA HENRY NSUBUGA

Emirimu gisannyaladde mu bizinga by’e Buvuma oluvannyuma lw’abakozi ba Gavumenti okuteeka wansi ebikola lwa kuggyibwako ensako ey’okukolera mu bifo ebizibu okutuukamu.

Bano bagamba nti ensako eno yabasalibwako okuva mu mwaka gwa 2010 gavumenti bwe yayisa ekiragiro ekikomya ensako eno ku bakozi baayo abakolera mu ttawuni kanso.

Kino abakozi ba gavumenti abakolera mu tawuni kanso y’e Buvuma nga bano batwalirwamu n’abakolera ku kitebe kya disitulikiti bakiwakanya nti olw’okuba mu bizinga, tebandisaanye kubasalako nsako eno olw’ensonga ez’enjawulo bbo ze bawa.

Amina Ssekyema omu ku bakozi yannyonnyodde nti embeera ze bayitamu okutuuka mu bizinga by’e Buvuma nzibu nnyo ssaako engeri y’okubeerayo etali nnyangu.

“E Buvuma tetulina masannyalaze, teri mazzi mayonjo, kaabuyonjo nazo teri, abantu pupu bamumansa nga bwe baagala ekireetera endwadde eziva ku bukyafu okuba ennyingi. Enguudo teziri mu mbeera nnungi, teri wadde bbanka ng’abakolerayo okufuna ssente ate basooka kusala ne bagenda e Mukono okufuna ssente okuva mu bbanka olwo ate ne balyoka baddayo okukola nga basasaanya ssente nnyingi,” abakozi bwe batyo bwe bannyonnyola.

 bakozi ba gavumenti e uvuma nga batudde wansi wabweru wa woofiisi mwe bakolera mu ngeri yokwediima Abakozi ba gavumenti e Buvuma nga batudde wansi wabweru wa woofiisi mwe bakolera mu ngeri y'okwediima

Tonny Sseruwujjo, akuba pulaani ku disitulikiti y'e Buvuma agamba nti gavumenti okutwala ebizinga by’e  Buvuma nga tawuni kanso endala si kya bwenkanya olw’ensonga nti olw’embeera zaayo, n’abamu ku bakozi basindikibwayo ne bagaana okugenda okukolerayo ng’ate bbo abakkiriza okukola embeera gye bayisibwamu ebaleetedde okwekyawa.

Sseruwujjo agamba nti bazze bawandiika eri omuwandiisi ow’enkalakkalira mu minisitule y'ensonga z'abakozi okuva mu mwaka gwa 2015 nga beemulugunya ku nsonga eno naye n’okutuuka olwaleero tebayambibwanga.

Bano era bagamba nti ne kaweefube gwe bayiseemu okuyita mu bakulembeze e Buvuma omuli n’ababaka ba Palamenti naye abadde tannavaamu muganyulo wadde.

Josephine Namubiri, nnansi ng’akolera ku ddwaaliro lya Buvuma Health Centre IV erikola ng’eddwaliro lya disitulikiti nga lye ddwaaliro lyokka eddene lye balina agamba nti bakola nnyo nga bakola emisana n’ekiro ng’okubaggyako akasente kano kiba kikyamu.

 bakozi ba gavumenti e uvuma nga beekandagga okuva mu woofiisi zaabwe e uvuma olwokubasalako ensako Abakozi ba gavumenti e Buvuma nga beekandagga okuva mu woofiisi zaabwe e Buvuma olw'okubasalako ensako.

“Ffe eno teri kukola mu mpalo nga bwe guli mu malwaliro amalala agali ku mutendera gwe gumu n’eryaffe. Mu kiseera kino ng’ebintu biri ku buseere, twesanze ng’obulamu bukalubo nnyo, tusaba tulowoozebweko ensako eno bagituddize,” Namubiru bwe yannyonnyodde.

Mu kwogerako n’akulira abakozi ba gavumenti mu disitulikiti y’e Buvuma Aggrey Muramira ku ssimu yategeezezza nti enkola eno yasalibwawo okuva ku Minisitule ng’eby’embi abakozi baagala amenye etteeka erimugaana okubasasula ensako eno abasasule mu bukyamu ky’atayinza kukola.

Muramira yagambye nti wabula abakozi kye baagambye nti ng’abakulembeze tebabafudddeeko kikyamu olw’ensonga nga ne ku Lwokubiri ssentebe wa disitulikiti, Alex Mabiriizi yatutte ekiwandiiko ku Minisitule ng’ayagala ensonga y’abakozi eno etunulwemu.

Mu kiseera kino, okutuuka e Buvuma omuntu alina kupangisa lyato olw’okuba ekidyeri kyafudde nga teri amanyi ddi lwe kinaddamu kukola.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Det23 220x290

Ennyonja y’emmotoka etangira Coronavirus...

Ennyonja y’emmotoka etangira Coronavirus

Tap22 220x290

Abasomesa abatali ba Pulofeesa...

Abasomesa abatali ba Pulofeesa ku yunivasite bawadde obukwakkulizo

Lab15 220x290

Okukuza olunaku lw’abajulizi, June...

Okukuza olunaku lw’abajulizi, June 3

Kit1 220x290

Batutte omulambo ku disitulikiti...

Batutte omulambo ku disitulikiti lwa kubamma bbaluwa

Kit1 220x290

Omuzungu eyasobya ku atanneetuuka...

Omuzungu eyasobya ku atanneetuuka akwasizza abazadde